Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bwe Tubonaabona Katonda Aba Atubonereza?

Bwe Tubonaabona Katonda Aba Atubonereza?

OKUGULU KWA LUZIA OKWA KKONO KWALEMALA. Luzia bwe yali akyali muto, yakwatibwa obulwadde bwa poliyo. Bwe yaweza emyaka 16, omukyala gwe yali akolera yamugamba nti, “Katonda yakubonereza olw’okuba wali towuliriza maama wo.” Wadde nga wayiseewo emyaka mingi, Luzia akyajjukira engeri ebigambo ebyo gye byalumya omutima gwe.

DAMARIS BWE YAFUNA OBULWADDE BWA KOOKOLO W’OMU BWONGO, taata we yamubuuza nti: “Kiki kye wakola? Oteekwa okuba ng’olina ekintu ekibi ennyo kye wakola. Eyo ye nsonga lwaki Katonda akubonereza.” Ebigambo ebyo byayisa bubi nnyo Damaris.

Abantu bamaze emyaka mingi nga balowooza nti omuntu bw’alwala Katonda aba amubonereza. Ekitabo ekiyitibwa Manners and Customs of Bible Lands kigamba nti abantu bangi mu kyasa ekyasooka, baalowoozanga nti “omuntu bwe yalwalanga yabanga abonerezebwa olw’ekibi kye yakola oba ab’eŋŋanda ze kye baakola.” Ate ekitabo ekiyitibwa Medieval Medicine and the Plague, kigamba nti emyaka nga 700 egiyise, “abantu abamu baalowoozanga nti Katonda yabaleeteranga endwadde okubabonereza olw’ebibi bye baabanga bakoze.” Obukadde n’obukadde bw’abantu bwe baafa ekirwadde mu nsi za Bulaaya mu kyasa ekya 14, Katonda ye yali ababonereza olw’ebibi bye baakola? Oba ekirwadde ekyo kyaleetebwa buwuka ng’abanoonyereza bwe baazuula oluvannyuma? Ddala Katonda aleetera abantu obulwadde okubabonereza olw’ebibi bye baakola? *

LOWOOZA KU KINO: Bwe kiba nti bwe tulwala Katonda aba atubonereza, lwaki Omwana we Yesu yawonya abalwadde? Ekyo tekyandiraze nti ajeemera Katonda? (Matayo 4:23, 24) Kyokka Yesu tayinza kujeemera Katonda. Yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa” era, “nkola nga Kitange bwe yandagira.”​—Yokaana 8:29; 14:31.

Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda ‘taliimu butali bwenkanya.’ (Ekyamateeka 32:4) Ng’ekyokulabirako, Katonda tayinza kuleeta kabenje abantu bonna abali mu nnyonyi ne bafa olw’okuba ayagala kubonereza muntu omu ali mu nnyonyi eyo. Ibulayimu omusajja eyali omutuukirivu yali akimanyi nti Katonda mwenkanya era yagamba nti Katonda tayinza ‘kuzikiriza batuukirivu awamu n’ababi.’ (Olubereberye 18:23, 25) Ate era Bayibuli egamba nti: “Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi” oba “okukola ekikyamu.”​—Yobu 34:10-12.

BAYIBULI KY’EYOGERA KU KUBONAABONA

Bwe tubonaabona, Katonda aba tatubonereza olw’ekibi kye twakola. Kino Yesu yakiraga bulungi bwe yali n’abayigirizwa be ne basanga omusajja eyazaalibwa nga muzibe. Baamubuuza nti: “Labbi, omusajja ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye kennyini oba bazadde be?” Yesu yabaddamu nti: “Omusajja ono teyayonoona, ne bazadde be tebaayonoona, wabula yazaalibwa bw’atyo Katonda by’akola bisobole okweyolekera mu ye.’”​—Yokaana 9:1-3.

Olw’endowooza abantu abasinga obungi gye baalina mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yesu bateekwa okuba nga beewuunya nnyo bwe yabaddamu bw’atyo. Yesu bwe yazibula amaaso g’omusajja oyo, kyalaga nti endowooza egamba nti omuntu bw’abonaabona Katonda aba amubonereza si ntuufu. (Yokaana 9:6, 7) N’olwekyo bw’oba oli mulwadde, beera mukakafu nti Katonda si y’avunaanyizibwa ku mbeera gy’olimu.

Yesu yandiwonyezza abalwadde singa Katonda ye yali ababonereza olw’ebibi bye baakola?

Bayibuli egamba nti

  • “Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” (YAKOBO 1:13) Mu butuufu, mu kiseera ekitali kya wala, ebintu ebiviiriddeko abantu okubonaabona okumala emyaka mingi, gamba ng’endwadde, n’okufa, bijja kuggwaawo.

  • Yesu Kristo ‘yawonya bonna abaali balumizibwa.’ (MATAYO 8:16) Yesu bwe yawonya abantu bonna abajja gy’ali, yalaga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bunaatera okukolera abantu mu nsi yonna.

  • “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—OKUBIKKULIRWA 21:3-5.

ANI AVUNAANYIZIBWA?

Lwaki abantu babonaabona? Abantu baludde nga beebuuza ekibuuzo ekyo. Bwe kiba nti Katonda si y’avunaanyizibwa ku kubonaabona okuliwo, kati olwo ani avunaanyizibwa? Ebibuuzo ebyo biddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 4 Wadde nga mu biseera eby’edda waliwo abantu Katonda be yabonereza olw’ebintu ebibi bye baakola, Bayibuli eraga nti mu kiseera kino Katonda takyakozesa bintu ng’endwadde oba obutyabaga okubonereza abantu olw’ebibi bye baba bakoze.