Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Muli ba muwendo nnyo.”—MATAYO 10:31

Katonda Alaba Embeera gy’Olimu?

Katonda Alaba Embeera gy’Olimu?

BYE TUYIGIRA KU BITONDE

Essaawa esooka omwana gy’amala nga yaakazaalibwa eba nkulu nnyo mu bulamu bwe. Lwaki? Kubanga maama bw’abeera okumpi n’omwana we eyaakazaalibwa, kiyamba omwana okukula obulungi. *

Kiki ekisobozesa maama okufaayo ennyo ku mwana we eyaakazaalibwa? Mu kitabo ekiyitibwa The Journal of Perinatal Education, Profesa Jeannette Crenshaw annyonnyola nti nga maama yaakazaala, omubiri gwe gufulumya obusimu obuyitibwa hormone oxytocin “obwongera ku mukwano maama gw’aba nagwo eri omwana we buli lw’amukwatako, n’amutunuulira, era n’amuyonsa.” Mu kiseera ekyo omubiri gufulumya obusimu obulala “obuyamba maama okufaayo ennyo ku mwana we.” Lwaki ekyo kikulu nnyo?

Yakuwa, * Omutonzi waffe alina okwagala, ye yatonda maama ng’alina obusobozi bw’okulaga omwana we omukwano. Kabaka Dawudi yeebaza Katonda olw’okumuggya “mu lubuto” lwa nnyina, n’atabaako kye yeeraliikirira ng’ali mu kifuba kya nnyina. Bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Okuva lwe nnazaalibwa, ggwe gwe nnakwasibwa okundabirira; okuviira ddala mu lubuto lwa mmange, ggwe Katonda wange.”​—Zabbuli 22:9, 10.

LOWOOZA KU KINO: Bwe kiba nti Katonda yatonda maama ng’asobola okufaayo ennyo ku mwana we, tetwandisuubidde nti Katonda atufaako nnyo, ffe ‘abaana be’?​—Ebikolwa 17:29.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA ALABA EMBEERA GYE TUYITAMU

Yesu Kristo, amanyi obulungi Omutonzi waffe okusinga omuntu omulala yenna, yagamba nti: “Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo? Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi. Naye mmwe n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa. N’olwekyo temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.”​—Matayo 10:29-31.

Batono nnyo ku ffe abafaayo okwetegereza buli kanyonyi ke tulaba, era akanyonyi ne bwe ‘kagwa wansi,’ tetufaayo nnyo. Naye Kitaffe ow’omu ggulu afaayo ku buli kanyonyi. Kyokka mu maaso ga Katonda, omuntu omu aba wa muwendo nnyo okusinga ebinyonyi ebingi. N’olwekyo, beera mukakafu nti Katonda akufaako nnyo era alaba by’oyitamu.

Katonda atufaako nnyo era ayagala okutuyamba

Bayibuli egamba nti

  • “Amaaso ga Yakuwa gaba buli wamu, nga gatunuulira ababi n’abalungi.”​—ENGERO 15:3.

  • “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.”​—ZABBULI 34:15.

  • “Nja kusanyuka nnyo olw’okwagala kwo okutajjulukuka, kubanga olabye obuyinike bwange; omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.”​—ZABBULI 31:7.

“NNALI NDOWOOZA NTI YAKUWA TANJAGALA”

Okukimanya nti Katonda atufaako era nti alaba bye tuyitamu, kiyinza kutuganyula kitya? Hannah, * abeera mu Bungereza agamba nti:

“Oluusi nnalowoozanga nti Yakuwa tanjagala era nti n’essaala zange taziwuliriza, olw’okuba okukkiriza kwange kwali kutono. Nnali ndowooza nti Katonda tanjagala, tanfaako, era nti siri wa mugaso gy’ali.”

Naye kati Hannah mukakafu nti Yakuwa amufaako era amwagala. Kiki ekyakyusa endowooza ye? Agamba nti: “Nzijukira okwogera kwe nnawulira emyaka mingi emabega okwali kukwata ku kufa kwa Yesu. Bye nnawulira mu kwogera okwo byankakasa nti Yakuwa anjagala nnyo. Ate era, bwe ndaba engeri essaala zange gye ziddibwamu, oluusi ntulika ne nkaaba nga ndabira ddala nti Yakuwa anjagala nnyo. Okusoma Bayibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, binnyambye okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda. Kati nkiraba bulungi nti Katonda atwagala nnyo, atufaako, era atulabirira.”

Ebigambo bya Hannah ebyo bizzaamu nnyo amaanyi. Naye oyinza otya okuba omukakafu nti Katonda ategeera by’oyitamu era nti afaayo ku ngeri gye weewuliramu? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 3 Abakyala abamu bwe baba baakazaala, bafuna ekizibu eky’okwennyamira, era bayinza obutayagala kubeera kumpi n’abaana baabwe abaakazaalibwa. Kyokka, tebasaanidde kulowooza nti be bavunaanyizibwa ku mbeera eyo. Okusinziira ku kitongole ky’Amerika ekiyitibwa National Institute of Mental Health, okwennyamira okwo “kuyinza kuba nga kuva ku mbeera omubiri gw’omuntu gye gubaamu oba enneewulira ye . . . so si ku ekyo maama ky’akoze oba ky’atakoze.” Okumanya ebisingawo ku nsonga eyo, laba ekitundu ekirina omutwe, “Understanding Postpartum Depression” (Okutegeera Okwennyamira Okubaawo ng’Omwama Yaakazaalibwa), ekiri mu magazini ya Awake! eya Jjuuni 8, 2003.

^ lup. 5 Bayibuli eraga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa.​—Zabbuli 83:18.

^ lup. 15 Amannya agamu gakyusiddwa.