Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ensi ejja kubaza emmere; Katonda, Katonda waffe, ajja kutuwa omukisa.”​—ZABBULI 67:6

Osobola Okufuna Emikisa Gya Katonda Emirembe Gyonna

Osobola Okufuna Emikisa Gya Katonda Emirembe Gyonna

Katonda yasuubiza nnabbi Ibulayimu nti omu ku bazzukulu be yandisobozesezza “amawanga gonna ag’oku nsi” okufuna omukisa. (Olubereberye 22:18) Muzzukulu wa Ibulayimu oyo yandibadde ani?

Emyaka nga 2,000 emabega, Katonda yawa Yesu, muzzukulu wa Ibulayimu, amaanyi okukola ebyamagero. Ebyamagero ebyo byalaga nti Yesu ye muzzukulu wa Ibulayimu amawanga mwe gandiyitidde okufuna omukisa.​—Abaggalatiya 3:14.

Ebyamagero Yesu bye yakola byayamba abantu okulaba nti Katonda gwe yalonda okuwa abantu emikisa, era byalaga engeri Katonda gy’ajja okumukozesaamu okuwa abantu emikisa emirembe gyonna. Weetegereze engeri ebyamagero Yesu bye yakola bwe biraga ezimu ku ngeri ze ennungi.

Wa kisa​—Yesu yawonya abalwadde.

Lumu, omusajja omugenge yeegayirira Yesu amuwonye. Yesu yamukwatako era n’amugamba nti: “Njagala!” Amangu ago, omusajja oyo n’awona ebigenge.​—Makko 1:40-42.

Mugabi​—Yesu yaliisa abantu abaali balumwa enjala.

Yesu yali tayagala bantu kulumwa njala. Emirundi egisukka mu gumu, mu ngeri ey’ekyamagero yaliisa abantu nkumi na nkumi ng’akozesa emigaati mitono n’ebyennyanja bitono. (Matayo 14:17-21; 15:32-38) Bonna baalya ne bakkuta, era eby’okulya ne bifikkanawo.

Musaasizi​—Yesu yazuukiza abafu.

Yesu ‘yasaasira’ nnamwandu eyali afiiriddwa omwana we omu yekka era eyali talina muntu yenna wa kumulabirira. Yesu yazuukiza omwana wa nnamwandu oyo.​—Lukka 7:12-15.