Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola okuyamba abalala, ka babe ba myaka emeka, ba ggwanga ki, oba ba ddiini ki?

Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna

Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna

Abantu bangi mu nsi tebalina mmere emala na wa kusula. Abamu beetaaga kubawa ssuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Mikisa ki gye tufuna bwe tuyamba abantu ng’abo?

EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BIGAMBA

“Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.”​—ENGERO 19:17.

TUYINZA TUTYA OKUYAMBA OMUNTU ALI MU BWETAAVU

Yesu yagera olugero olukwata ku musajja eyagwa mu banyazi ne bamukuba nnyo, ne bamuleka ng’abulako katono okufa. (Lukka 10:29-37) Omuntu eyali ayitawo yayamba omusajja oyo wadde nga teyali wa ggwanga lye.

Omuntu oyo ow’ekisa teyakoma ku kuwa buwi musajja eyagwa mu batemu bujjanjabi obusookerwako n’ebintu eby’okukozesa, naye era yamubudaabuda.

Kiki kye tuyigira ku lugero olwo? Yesu yali alaga nti tusaanidde okukola kyonna kye tusobola okuyamba omuntu ali mu bwetaavu. (Engero 14:31) Ebyawandiikibwa Ebitukuvu biyigiriza nti Katonda anaatera okuggyawo obwavu n’okubonaabona. Naye oyinza okwebuuza nti, ekyo Katonda anaakikola atya era ddi? Mu kitundu ekiddako, ojja kulaba ebintu ebirungi Omutonzi waffe ow’okwagala by’ateeseteese okutukolera mu biseera eby’omu maaso.