Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkonamasonko

Bye Tuyigira ku Binyonyi

Bye Tuyigira ku Binyonyi

“Buuza . . . ebinyonyi eby’omu bbanga, bijja kukubuulira. Kiruwa ku ebyo byonna ekitamanyi nti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino?”​—Yobu 12:7, 9.

YOBU ye yayogera ebigambo ebyo emyaka egisukka mu 3,000 emabega. Yakiraba nti ebinyonyi bituyamba okutegeera ebintu Katonda bye yatonda. Bayibuli by’eyogera ku binyonyi tubiyigirako ebintu ebikulu ebikwata ku bulamu bwaffe era ne ku nkolagana yaffe ne Katonda. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebitonotono.

OBUTAAYI GYE BUZIMBA EBISU BYABWO

Akataayi

Abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi baali bamanyi bulungi obutaayi, kubanga bwazimbanga ebisu byabwo mu bisasi by’ebizimbe. Obutaayi obumu bwazimbanga ebisu byabwo mu yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Kirabika yeekaalu kyali kifo kirungi we bwali busobola okubiika amagi n’okukuliza obwana bwabo nga tewali kibutaataaganya.

Omuwandiisi wa zabbuli 84 yali omu ku batabani ba Koola abaaweerezanga mu yeekaalu. Bwe yagendanga okuweereza yalabanga ebisu by’obutaayi mu yeekaalu. Okufaananako obutaayi obwo, naye yali ayagala abeere mu nnyumba ya Yakuwa ekiseera kyonna. Yagamba nti: “Weema yo ey’ekitiibwa nga njaagala nnyo, Ai Yakuwa ow’eggye! Nzenna njaayaana; nyenjebuse olw’okwegomba empya za Yakuwa. N’ekinyonyi kifunayo aw’okubeera, era n’akataayi kazimbayo ekisu mwe kalabiririra obwana bwako, okumpi n’ekyoto kyo eky’ekitalo, Ai Yakuwa ow’eggye, Kabaka wange era Katonda wange!” (Zabbuli 84:1-3) Ffe n’abaana baffe naffe twagala nnyo okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Katonda?​—Zabbuli 26:8, 12.

ENKONAMASONKO EMANYI EBISEERA BYAYO

Nnabbi Yeremiya yagamba nti: “Enkonamasonko emanyi ebiseera byayo.” Awatali kubuusabuusa, yali amanyi ebiseera ebinyonyi ebyo we byaviiranga mu kifo ekimu ne bigenda mu kirala. Awo nga mu mwezi gwa Maaki ne Apuli, enkonamasonko enjeru ezisukka mu 300,000 ziva mu Afirika ne ziyita okumpi n’Omugga Yoludaani ne zigenda mu mambuka ga Bulaaya. Bwe wayitawo ekiseera, enkonamasonko ezo zikomawo mu bifo we zibiika amagi. Okufaananako ebinyonyi ebirala, enkonamasonko ‘zinywerera ku biseera we zirina okukomerawo.’​—Yeremiya 8:7.

Ekitabo ekiyitibwa Collins Atlas of Bird Migration kigamba nti: “Ekyewuunyisa kiri nti ebinyonyi ebyo bikolera ku magezi agaabitonderwamu.” Yakuwa yabitonderamu amagezi agabiyamba okumanya ebiseera eby’okugenderako mu bifo eby’enjawulo, naye ate ffe abantu yatuwa obusobozi bw’okumanya ebiro n’ebiseera. (Lukka 12:54-56) Kyokka obutafaananako nkonamasonko ezikozesa amagezi agaazitonderwamu, ffe abantu tulina okuyiga ebikwata ku Katonda okusobola okutegeera amakulu g’ebintu ebiriwo leero. Mu kiseera kya nnabbi Yeremiya, Abayisirayiri baali tebafaayo ku makulu g’ebintu ebyali bigenda mu maaso, era Katonda yalaga ekyali kibaviiriddeko okuba bwe batyo. Yagamba nti: “Beesambye ekigambo kya Yakuwa, kale magezi ki ge balina?”​—Yeremiya 8:9.

Leero waliwo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti tuli mu kiseera Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Onooba ng’enkonamasonko n’okiraga nti otegeera “ebiseera” bye tulimu?

EMPUNGU ERABA WALA

Empungu

Empungu eyogerwako mu Bayibuli emirundi mingi, era mu Nsi Ensuubize mwalimu empungu nnyingi. Bayibuli egamba nti empungu ziyima waggulu ku njazi engulumivu ‘ne zinoonya emmere, era nti amaaso gaazo galaba wala.’ (Yobu 39:27-29) Empungu esobola okulaba akamyu nga kali kitundu kya mayiro okuva w’eri.

Ng’empungu bw’esobola ‘okulaba ewala,’ ne Yakuwa asobola okutegeera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Okuva ku lubereberye nnangirira ebintu ebiribaawo, okuva edda n’edda nnangirira ebintu ebitannaba kukolebwa.” (Isaaya 46:10) Bwe tugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa, tuganyulwa mu magezi ge agatenkanika.​—Isaaya 48:17, 18.

Abantu abeesiga Katonda Bayibuli ebageraageranya ku mpungu. Egamba nti: “Abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi. Bajja kutumbiira waggulu nga balinga abalina ebiwaawaatiro by’empungu.” (Isaaya 40:31) Amaanyi g’empungu si ge gagisobozesa okutumbiira mu bbanga, wabula empewo y’egisobozesa. Empungu bw’efuna awali empewo ebuguma, eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ne yeetooloolera mu kifo ekyo nga bwe yeeyongera okutumbiira mu bbanga. Mu ngeri y’emu, abo abeesiga Yakuwa essuubi lyabwe libeera mu ye, kubanga asuubiza okubawa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”​—2 Abakkolinso 4:7, 8.

“NG’ENKOKO BW’EKUŊŊAANYA OBWANA BWAYO”

Enkoko n’obwana bwayo

Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yatunuulira Yerusaalemi, ekyali ekibuga ekikulu eky’Abayudaaya, n’agamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi era akuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’ali,​—mirundi emeka gye nnayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala.”​—Matayo 23:37.

Ebinyonyi bikola kyonna ekisoboka okulaba nti obwana bwabyo tebutuukibwako kabi konna. Ebinyonyi ebitabeera ku miti, gamba ng’enkoko, biba bulindaala buli kiseera. Enkoko bw’erengera kamumye mu bbanga, erabula obwana bwayo ne budduka ne bwekukuma mu biwaawaatiro byayo. Ate era obukoko bwekukuma mu biwaawaatiro bya maama waabwo bwe wabaayo omusana omungi oba enkuba. Yesu naye yayagala okuyamba abantu b’omu Yerusaalemi okwewala okutuukibwako akabi mu by’omwoyo. Leero Yesu atuyita tujje gy’ali atuwummuze tuleme kweraliikirira.​—Matayo 11:28, 29.

Mazima ddala waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku binyonyi. Bw’olaba engeri gye byeyisaamu, lowooza ku byokulabirako ebibikwatako ebiri mu Byawandiikibwa. Bye tuyize ku kataayi ka bikuleetere okwagala ennyo okugenda mu kizimbe mwe tusinziza Yakuwa. Weesige Katonda ofune essuubi erinaakuyamba okutumbiira waggulu ng’empungu. Jjangu eri Yesu ofune amazima aganaakukuuma ng’enkoko bw’ekozesa ebiwaawaatiro byayo okukuuma obwana bwayo buleme kutuukibwako kabi. Ate era okufaananako enkonamasonko, weetegereze ebiriwo mu nsi otegeere amakulu gaabyo.