EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKWOLESEBWA OKULAGA EBIRI MU GGULU
Ebibuuzo Ebikwata ku Abo Abali mu Ggulu
Wali weebuuzizzaako ebifa mu ggulu ne baani ababeerayo? Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka akyebuuza. Abantu bangi beebuuza ku nsonga eyo. Abamu balowooza nti mu ggulu eriyo bamalayika n’abantu abalungi abaafa.
Abantu bangi bagamba nti tewali ayinza kumanya bifa mu ggulu kubanga tewali muntu n’omu eyali abaddeyo n’ajja n’atubuulira ebifaayo. Naye ekyo si kituufu. Yesu Kristo yali abeera mu ggulu nga tannajja ku nsi. Yagamba nti: “Tewali muntu yali alinnye mu ggulu wabula oyo eyava mu ggulu, Omwana w’omuntu.” Ate era lumu yagamba abatume be nti: “Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi.”—Yokaana 1:13; 14:2.
Kitaawe wa Yesu ye Katonda, era erinnya lye ye Yakuwa. Ate “ennyumba” Yesu gye yali ayogerako lye ggulu. (Zabbuli 83:18) N’olwekyo, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo be basobola okutunnyonnyola obulungi ebifa mu ggulu. Abaweereza ba Katonda baafuna okwolesebwa, era mu kwolesebwa okwo batutegeeza ebifa mu ggulu.
Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba okwolesebwa abaweereza ba Katonda abo kwe baafuna. Bw’oba osoma ku kwolesebwa okwo, kijjukire nti ebiri mu ggulu tetusobola kubiraba na maaso gaffe oba okubikwatako, naye Katonda abinnyonnyola mu ngeri etuyamba okubitegeera. Okwolesebwa okwo kujja kukuyamba okutegeera ababeera mu ‘bifo ebingi’ ebiri mu ggulu.