Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KIRABO KI EKISINGA BYONNA?

“Kye Kirabo Ekisinga Ebirabo Byonna Bye Nnali Nfunye”

“Kye Kirabo Ekisinga Ebirabo Byonna Bye Nnali Nfunye”

Bw’atyo omuwala ow’emyaka 13 bwe yagamba ng’afunye embwa ng’ekirabo. Ate omukyala omusuubuzi yagamba nti kompyuta taata we gye yamuwa ng’akyali ku ssomero kye kirabo ekyakyusa obulamu bwe. N’omwami eyali yaakawasa yagamba nti kaadi mukyala we gye yamuwa ku lunaku lwe baasooka okujjukirirako embaga yaabwe, kye kirabo ekisinga ebirabo byonna bye yali afunye.

Buli mwaka, abantu bangi bafuba okunoonya ekirabo “ekisinga obulungi” kye banaawa mukwano gwabwe oba ow’oluganda lwabwe ku mukolo gwe. Era buli muntu agaba ekirabo yandyagadde okusiimibwa. Ate ggwe? Wandyagadde okuwa omuntu ekirabo n’akisiima, oba omuntu okukulowoozaako n’akuwa ekirabo ekirungi?

Ekirabo tekisanyusa oyo yekka aba akifunye, wabula n’oyo akigabye. Bayibuli egamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Essanyu eriva mu kugaba lyeyongera singa ky’ogabye kisiimibwa.

Kati olwo, kiki ky’oyinza okukola okulaba nti okugaba kukuviiramu essanyu, awamu n’oyo gw’oba ogabidde? Bw’oba nga tosobola kugaba kirabo “ekisingayo obulungi,” oyinza kukola ki okulaba nga kyonna ky’ogabye kisiimibwa?