Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekinunulo Katonda kye yawaayo ku lwaffe, ekijja okutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo, kye kirabo ekisinga byonna

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KIRABO KI EKISINGA BYONNA?

Kirabo Ki Ekisinga Ebirabo Byonna?

Kirabo Ki Ekisinga Ebirabo Byonna?

“Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka.” (Yakobo 1:17) Ekyawandiikibwa ekyo kyogera ku ngeri Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, gy’ali omugabi. Naye mu birabo byonna Katonda by’awadde abantu, mulimu ekirabo kimu ekisinga byonna. Ekirabo ekyo kye kiruwa? Ebigambo Yesu bye yayogera ebiri mu Yokaana 3:16, bituyamba okumanya ekirabo ekyo. Yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”

Tewali kirabo muntu ky’ayinza kufuna kisinga ekyo Katonda kye yatuwa, kubanga kitusobozesa okusumululwa okuva mu kibi n’okufa. (Zabbuli 51:5; Yokaana 8:34) Ku lwaffe, tetusobola kweggya mu mbeera eyo. Naye olw’okuba Katonda atwagala nnyo, yawaayo ekyali kyetaagisa okusobola okutununula. Katonda okuwaayo Omwana we Yesu Kristo ng’ekinunulo, kyasobozesa abantu abawulize okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Naye ekinunulo kye ki? Lwaki kyetaagisa? Era tuyinza tutya okukiganyulwamu?

Ekinunulo gwe muwendo oguweebwayo okusasulira ekintu ekiba kyonooneddwa, oba okununula omuntu mu busibe. Bayibuli eraga nti bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baatondebwa nga tebalina kibi era baali ba kubeera mu nsi erabika obulungi ennyo emirembe gyonna, nga bali wamu n’abaana baabwe era ne bazzukulu baabwe. (Olubereberye 1:26-28) Eky’ennaku, ebyo byonna baabifiirwa olw’okuba baasalawo okujeemera Katonda. Kiki ekyavaamu? Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Adamu yaleetera ezzadde lye okusikira ekibi n’okufa.

Ekinunulo kirina kuba nga kyenkanankana n’omuwendo gw’ekyo ekiba kyonooneddwa. Adamu bwe yajeemera Katonda, yafiirwa obulamu obutuukiridde ne kiviirako ezzadde lye okusikira ekibi n’okufa. N’olwekyo, okusobola okununula ezzadde lya Adamu, kyali kyetaagisa okuwaayo obulamu bw’omuntu omulala atuukiridde, era omuntu oyo yali Yesu. (Abaruumi 5:19; Abeefeso 1:7) Olw’okuba Katonda yatwagala nnyo n’awaayo Omwana we Yesu ng’ekinunulo ku lwaffe, kati tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo wano ku nsi.​—Okubikkulirwa 21:3-5.

Awatali kubuusabuusa, ekinunulo Katonda kye yawaayo ku lwaffe, ekijja okutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo, kye kirabo ekisinga byonna. Okusobola okwongera okusiima ekirabo ekyo, ka tulabe engeri gye kituganyulamu, era n’engeri gye kikwataganamu n’ensonga ze tulabye mu kitundu ekivuddeko.

Kituviiramu okufuna ekintu kye twagala ennyo. Twagala nnyo okubeerawo nga tetufa. (Omubuulizi 3:11) Ku lwaffe, ekyo tekyandisobose. Naye okuyitira mu kinunulo, tusobola okubeerawo emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.”​—Abaruumi 6:23.

Twali tukyetaaga. Abantu tebandisobodde kuwaayo kinunulo. Bayibuli egamba nti: “Omuwendo ogusobola okununula obulamu bwabwe munene nnyo ne kiba nti tebasobola kugwesasulira.” (Zabbuli 49:8) N’olwekyo, twali mu mbeera mbi nnyo nga twetaaga obuyambi okusobola okununulibwa. Naye ‘okuyitira mu kinunulo Kristo Yesu kye yasasula,’ Katonda yawaayo ekyo kyennyini kye twali twetaaga.​—Abaruumi 3:23, 24.

Kyatuweebwa mu kiseera ekituufu. Bayibuli egamba nti: “Bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.” (Abaruumi 5:8) Olw’okuba ekinunulo kyaweebwayo ‘nga tukyali boonoonyi,’ ekyo kiraga nti Katonda ayagala nnyo abantu. Ate era kituleetera okwesunga ebintu ebirungi bingi, wadde nga mu kiseera kino tulina okugumira ebizibu ebiva mu kibi.

Eyakituwa yalina ekigendererwa ekirungi. Bayibuli etubuulira ekyaleetera Katonda okuwaayo Omwana we okutufiirira. Egamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye. Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala.”​—1 Yokaana 4:9, 10.

Oyinza otya okulaga nti osiima ekirabo ekisinga ebirabo byonna? Jjukira nti mu Yokaana 3:16, Yesu yagamba nti abo bokka ‘abamukkiririzaamu’ be bajja okulokolebwa. Okusinziira ku Bayibuli, “okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira.” (Abebbulaniya 11:1) Okusobola okuba n’obukakafu obwo, kikwetaagisa okufuna okumanya okutuufu. N’olwekyo, tukukubiriza okuwaayo ebiseera oyige ebikwata ku Yakuwa Katonda, eyatuwa ‘ekirabo ekituukiridde’ eky’Omwana we Yesu, era ne by’osaanidde okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.

Osobola okuyiga ebyo byonna singa weekeneenya obubaka obwesigamiziddwa ku Bayibuli obuli ku mukutu www.mt1130.com/lg. Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba. Tuli bakakafu nti bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku kirabo kino ekisinga byonna, kijja kukuleetera okugamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!”​—Abaruumi 7:25.