Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Osaanidde Okutunuuliramu Ensobi

Engeri gy’Osaanidde Okutunuuliramu Ensobi

Don ne Margaret * baakyaza muwala waabwe n’ab’omu maka ge. Margaret, eyali omufumbi omutendeke, naye nga mu kiseera ekyo yali yawummula, yabafumbira amakulooni ne cheese, emmere bazzukulu be ababiri gye baali baagala ennyo.

Buli omu yatuula nga yeesunga okulya, era Margaret n’aleeta emmere n’agiteeka ku mmeeza. Bwe yasaanukula ebbakuli, yeekanga nnyo kubanga mu bbakuli mwalimu ssupu wa cheese yekka. Yali yeerabidde okuteekamu amakulooni, ate nga ye yali emmere enkulu! *

Ka tube nga tulina myaka emeka oba nga tulina bumanyirivu bwenkana wa, ffenna tukola ensobi. Tuyinza okwogera ekigambo nga tetusoose kulowooza oba okukola ekintu mu kiseera ekikyamu, oba okwerabira ekintu ekikulu. Lwaki tukola ensobi? Kiki kye tusaanidde okukola nga tukoze ensobi? Tusobola okwewala okukola ensobi ezimu? Okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nsobi ze tukola kijja kutuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo.

ENDOWOOZA YAFFE N’ENDOWOOZA YA KATONDA KU NSOBI ZE TUKOLA

Bwe tukola ekintu obulungi tuba twagala abalala batusiime era tuwulira bulungi bwe batusiima. N’olwekyo, bwe tukola ensobi ne bw’eba nga ntono oba ng’abalala tebatulabye, kyandibadde kirungi ne tukkiriza nti tukoze ensobi. Okukola ekyo kyetaagisa obuwombeefu.

Bwe tutaba bawombeefu, tuyinza okunenya abalala olw’ensobi gye tukoze, okugitwala ng’entono, oba n’okwegaana. Endowooza ng’eyo tetera kuvaamu birungi. Ekizibu kiyinza obutaggwaawo, era abalala bayinza okunenyezebwa olw’ensobi gye bataakoze. Ne bwe kiba nti ensobi yaffe tusobodde okugikweka mu kiseera kino, tusaanidde okukijjukira nti, “buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.”​—Abaruumi 14:12.

Katonda takuliriza nsobi zaffe. Mu kitabo kya Zabbuli Katonda ayogerwako nti ‘musaasizi era wa kisa”; “taatunoonyengamu nsobi, era taasibenga kiruyi mirembe na mirembe.” Akimanyi nti tetutuukiridde era amanyi obusobozi bwaffe we bukoma, kubanga “ajjukira nti tuli nfuufu.”​—Zabbuli 103:8, 9, 14.

Katonda ayagala tutunuulire ensobi zaffe nga naye bw’azitunuulira. (Zabbuli 130:3) Bayibuli erimu amagezi agasobola okutuyamba nga tukoze ensobi oba ng’abalala bakoze ensobi.

KYE TUSAANIDDE OKUKOLA NGA TUKOZE ENSOBI

Oluusi omuntu bw’akola ensobi, ebiseera abimalira ku kunenya balala olw’ensobi ye oba ku kwewolereza. Naye mu kifo ky’okukola ekyo, kyandibadde kirungi bw’onyiiza omuntu omulala n’omwetondera, era n’ofuba okuzzaawo enkolagana n’omuntu oyo. Waliwo ensobi gye wakola n’ekuviirako ebizibu oba n’eviirako omuntu omulala ebizibu? Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi oba okunenya abalala olw’ensobi yo, kola kyonna ekisoboka okutereeza ensonga. Okunenya abalala olw’ensobi yo kyongera kuleetawo bizibu. Mu kifo ky’okunenya abalala, baako ky’oyigira ku nsobi yo.

Kyokka omuntu omulala bw’akola ensobi, oluusi tumusalira mangu omusango. Naye kiba kirungi okukolera ku magezi gano Yesu Kristo ge yatuwa: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.” (Matayo 7:12) Bw’okola ensobi, ne bw’eba ntono etya, oba oyagala abalala bakusonyiwe oba ensobi eyo bagibuuse amaaso. Naawe lwaki abalala tobakolera kye kimu?​—Abeefeso 4:32.

EBINAAKUYAMBA OKWEWALA OKUKOLA ENSOBI EZIMU

Ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo kigamba nti ensobi ziva ku “kusalawo bubi, obutamanya bulungi kintu, oba obutafaayo.” Ekituufu kiri nti buli omu ku ffe yali akozeeko ensobi. Naye bwe tukolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa, tusobola okwewala okukola ensobi ezimu.

Agamu ku magezi ago gali mu Engero 18:13, awagamba nti: “Omuntu yenna bw’addamu nga tannawuliriza nsonga, aba akoze kya busirusiru era kimuswaza.” Bw’osirika n’owuliriza bulungi nga tonnayanukula, kikuyamba obutanguyiriza kuddamu n’obutakola kintu kikyamu. Amagezi g’ofuna ng’owulirizza bulungi gakuyamba okwewala okukola ensobi.

Ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: “Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Abaruumi 12:18) Kola kyonna ekisoboka okuba mu mirembe n’abalala era n’okukolagana obulungi nabo. B’okola nabo ku mulimu balage nti obafaako era nti obawa ekitiibwa. Fuba okubasiima n’okubazzaamu amaanyi. Abantu abakolera mu mbeera ng’eyo kibanguyira okubuusa amaaso ensobi z’abalala, era ebizibu eby’amaanyi bisobola okugonjoolwa oba okwewalibwa.

Fuba okulaba obanga ensobi gy’okoze osobola okubaako ky’ogiyigirako. Mu kifo ky’okwewolereza, katwale ng’akakisa akanaakuyamba okweyongera okuba omuntu omulungi. Kyandiba nti weetaaga okweyongera okuba omugumiikiriza, okwefuga, n’okuba omuntu ow’ekisa? Oba, kyandiba nti weetaaga okuyiga obuwombeefu, okuba omuntu omukkakkamu, n’okulaga abalala okwagala? (Abaggalatiya 5:22, 23) N’ekirala, gezaako okulaba engeri gy’oyinza okwewala okuddamu okukola ensobi y’emu. Ensobi yo togitwala ng’ekintu eky’olusaago, naye ate togimalirako nnyo birowoozo. Okusaagako n’abalala kiyinza okukuyamba obutawulira buswavu.

EMIGASO EGIRI MU KUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

Bwe tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nsobi ze tukola, kijja kutuyamba obutaggwaamu maanyi. Omutima tegujja kutulumiriza nnyo, era tujja kukolagana bulungi n’abalala. Bwe tufuba okubaako bye tuyigira ku nsobi zaffe, tujja kuba bantu ba magezi era abalala bajja kutwagala. Tetujja kuggwaamu maanyi oba okulowooza nti tetulina mugaso. Okukijjukira nti n’abalala bakola ensobi kijja kutuyamba okukolagana obulungi nabo. N’ekisinga obukulu, tuganyulwa bwe tukoppa Katonda ne tusonyiwa abalala.​—Abakkolosaayi 3:13.

Ensobi Margaret gwe twogeddeko ku ntandikwa gye yakola yabalemesa okunyumirwa olunaku lwabwe? Nedda. Buli omu yaseka busesi nga mw’otwalidde ne Margaret, era ne bawoomerwa emmere eyo wadde nga teyaliiko makulooni. Nga wayiseewo emyaka egiwera, bazzukulu ba Margaret ababiri baanyumiza abaana baabwe ebyaliwo ku lunaku olwo, era n’ebintu ebirungi bye bajjukira ku bajjajjaabwe. Kituufu yakola ensobi, naye ekyo kibaawo.

^ lup. 2 Amannya gakyusiddwa.

^ lup. 3 Emmere ey’ekika kino gaba makulooni nga kungulu gafukiddwako ssupu akoleddwa mu cheese.