Yesu Yali Afaanana Atya?
Tewali n’omu alina ekifaananyi kya Yesu kyennyini, kubanga Yesu teyeekubyako kifaananyi. Kyokka okumala ebyasa bingi, bangi bakubye ebifaananyi bye n’engalo era ne babisiiga.
Ekituufu kiri nti abakuba ebifaananyi bya Yesu tebamanyi Yesu bwe yali afaanana. Ababikuba batera kusinziira ku nkola y’omukitundu, enzikiriza z’amadiini gaabwe, era n’ebyo ababawa omulimu ogwo bye baagala. Kyokka engeri gye baakubamu ebifaananyi bya Yesu erina kinene ky’ekola ku ndowooza abantu gye balina ku Yesu ne ku ebyo bye yayigiriza.
Abakubi b’ebifaananyi bya Yesu abamu bamulaga ng’omuntu atalina maanyi, ng’alina enviiri empanvu n’ebirevu bitonotono, era ng’alabika nga munakuwavu. Ate mu bifaananyi ebirala, Yesu alabika ng’atali muntu wa ddala, ng’amasamasa, era ng’ekitangaala kimwetoolodde ku mutwe, oba ng’ali wala n’abo abamwetoolodde. Ddala Yesu bw’atyo bwe yali afaanana? Tuyinza tutya okumanya bwe yali afaanana? Engeri emu kwe kwetegereza ebyawandiikibwa ebimwogerako ebisobola okutuyamba okukuba akafaananyi ku ngeri gye yali afaananamu. Ate era ebyawandiikibwa ebyo bisobola okutuyamba okuba n’endowooza entuufu ku Yesu.
“WANTEEKERATEEKERA OMUBIRI”
Ebigambo ebyo Yesu yabyogera ng’asaba, oboolyawo ng’anaatera okubatizibwa. (Abebbulaniya 10:5; Matayo 3:13-17) Omubiri ogwo gwali gufaanana gutya? Emyaka 30 emabega, malayika Gabulyeri yali yagamba Maliyamu nti: “Oliba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi . . . Mwana wa Katonda.” (Lukka 1:31, 35) N’olwekyo, Yesu yali muntu atuukiridde nga Adamu bwe yali nga yaakatondebwa. (Lukka 3:38; 1 Abakkolinso 15:45) Yesu ateekwa okuba nga yali musajja alabika obulungi ennyo.
Yesu yalina ebirevu, ng’empisa y’Abayudaaya bwe yali, okwawukana ku Baruumi. Okuba n’ebirevu ebyo kaabanga kabonero akaalaganga nti basaanidde okussibwamu ekitiibwa; tebaabirekanga kukula nnyo era baabirabiriranga bulungi. Yesu alina okuba nga yasalanga bulungi ebirevu bye n’enviiri ze. Abo bokka Katonda be yalondanga okuba Abanaziri, gamba nga Samusooni, be bataasalangako nviiri zaabwe.—Okubala 6:5; Ekyabalamuzi 13:5.
Emyaka egisinga Yesu gye yamala ku nsi yali mubazzi, ate nga takozesa byuma ng’ebikozesebwa ennaku zino. (Makko 6:3) N’olwekyo, ateekwa okuba nga yalina amaanyi. Bwe yali nga yaakatandika obuweereza bwe, yagoba mu yeekaalu abo “bonna abaalina endiga n’ente, n’ayiwa ne ssente z’abo abaali bavungisa ssente era n’avuunika emmeeza zaabwe.” (Yokaana 2:14-17) Omuntu omunafu tasobola kukola kintu ng’ekyo. Yesu bwe yali ku nsi, yakozesa obulamu bwe okukola omulimu omukulu Katonda gwe yamutuma okukola. Yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.” (Lukka 4:43) Kyali kimwetaagisa okuba n’amaanyi okusobola okutambula Palesitayini yonna ku bigere ng’abuulira.
“MUJJE GYE NDI, . . . NANGE NNAABAWUMMUZA”
Olw’okuba Yesu yali muntu wa kisa era ng’afaayo ku balala, ekyo kiteekwa okuba nga kyasikirizanga abantu ‘abaali bategana era nga bazitoowereddwa.’ Matayo 11:28-30) Olw’okuba yali muntu wa kisa era ng’atuukirikika, abantu bangi abaagendanga gy’ali baafunanga obuweerero, era yabayigirizanga ebintu bingi. Abaana abato nabo baayagalanga nnyo okubeera okumpi ne Yesu, era Bayibuli egamba nti ‘yabawambaatira.’—Makko 10:13-16.
(Wadde nga Yesu yayita mu bulumi bungi ng’anaatera okufa, teyali muntu munakuwavu buli kiseera. Ng’ekyokulabirako, yagenda ku mbaga eyali e Kaana, era n’akyusa amazzi n’agafuula omwenge. (Yokaana 2:1-11) Ate ku mirundi emirala, yayigiriza abantu ebintu ebirungi bingi.—Matayo 9:9-13; Yokaana 12:1-8.
N’ekisinga byonna, ebyo Yesu bye yayigiriza abantu byabayamba okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 11:25, 26; 17:3) Abayigirizwa be 70 bwe baakomawo okuva mu kubuulira ne bamutegeeza bye baali bakoze, ‘yasanyuka nnyo’ era n’abagamba nti: “Musanyuke olw’okuba amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”—Lukka 10:20, 21.
“TEKIRINA KUBA BWE KITYO MU MMWE”
Abakulembeze b’amadiini abaaliwo mu kiseera kya Yesu baayagalanga nnyo abantu okubagulumiza n’okubawa ebitiibwa. (Okubala 15:38-40; Matayo 23:5-7) Naye Yesu yagamba abatume be nti tebaalina “kukajjala” ku balala. (Lukka 22:25, 26) Yesu yabalabula nti: “Mwegendereze abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde amaganduula, era abaagala okulamusibwa mu butale.”—Makko 12:38.
Yesu ye teyayambalanga mu ngeri ey’enjawulo ku balala, era oluusi yabeeranga mu bantu ne batamanya nti waali. (Yokaana 7:10, 11) Ne bwe yabeeranga mu bayigirizwa be 11, teyabeeranga wa njawulo ku bo. Yuda eyamulyamu olukwe yalina ‘okumunywegera’ ng’akabonero akandiyambye abo be yali nabo okumutegeera.—Makko 14:44, 45.
Wadde nga tetumanyidde ddala ngeri Yesu gye yali afaananamu, bye tulabye biraga nti yali tafaanana nga bw’atera okukubibwa mu bifaananyi. Naye ekisinga obukulu si y’engeri gye yali afaananamu, wabula y’engeri gye tumutwalamu kati.
“MU KASEERA KATONO ENSI EJJA KUBA TEKYANDABA”
Yesu yafiira ku lunaku lwennyini lwe yayogererako ebigambo ebyo era n’aziikibwa. (Yokaana 14:19) Yawaayo obulamu bwe “ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Matayo 20:28) Ku lunaku olw’okusatu, Katonda yamuzuukiza “mu mwoyo” era “n’akkiriza alabibwe” abamu ku bayigirizwa be. (1 Peetero 3:18; Ebikolwa 10:40) Yesu bwe yalabikira abayigirizwa be, yali afaanana atya? Yali tafaanana nga bwe yali afaanana mu kusooka, kubanga n’abo be yabeeranga nabo tebaamutegeererawo. Maliyamu Magudaleena bwe yamulaba, yalowooza nti ye yali alabirira ennimiro. N’abayigirizwa ababiri be yalabikira nga bagenda ku kyalo ekyitibwa Emawo tebaamutegeererawo.—Lukka 24:13-18; Yokaana 20:1, 14, 15.
Yesu tusaanidde kumutwala tutya kati? Nga wayiseewo emyaka egisukka mu 60 nga Yesu amaze okufa, omutume Yokaana yalaba Yesu mu kwolesebwa. Naye teyamulaba ng’ali ku musaalaba. Yalaba “Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama,” anaatera okuwangula abalabe ba Katonda, era aleetere abantu abalungi emikisa egy’olubeerera.—Okubikkulirwa 19:16; 21:3, 4.