EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33
Yigira ku Danyeri
“Oli wa muwendo nnyo.”—DAN. 9:23.
OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu
OMULAMWA a
1. Lwaki Abababulooni beewuunya nnyo nga balabye Danyeri?
NNABBI Danyeri yali akyali muvubuka Abababulooni we baamuwambira ewaabwe mu Yerusaalemi ne bamutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Abo abaawamba Danyeri baamwewuunya nnyo bwe baamutunuulira. Baakiraba nti ‘teyaliiko kamogo era yali alabika bulungi,’ era baakitegeera nti yali ava mu maka ag’ekitiibwa. (1 Sam. 16:7) Eyo ye nsonga lwaki Abababulooni baamutendeka okuweereza mu lubiri lwabwe.—Dan. 1:3, 4, 6.
2. Yakuwa yali atwala atya Danyeri? (Ezeekyeri 14:14)
2 Yakuwa yali ayagala nnyo Danyeri, naye ekyamuleetera okumwagala si ye ndabika ya Danyeri ennungi, oba enkizo ze yaweebwa mu lubiri lw’e Babulooni, wabula ekyo kye yasalawo okubeera okuviira ddala ng’akyali muto. Mu butuufu Yakuwa we yagambira nti Danyeri yali nga Nuuwa ne Yobu, Danyeri ayinza okuba nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagiweza. Bwe kityo, Yakuwa yali atwala Danyeri eyali akyali omuvubuka okuba omutuukirivu nga Nuuwa ne Yobu, abaali baamala emyaka mingi nga bamuweereza n’obwesigwa. (Lub. 5:32; 6:9, 10; Yob. 42:16, 17; soma Ezeekyeri 14:14.) Danyeri yaweereza Yakuwa obulamu bwe bwonna era Yakuwa yeeyongera okumwagala.—Dan. 10:11, 19.
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu kino tugenda kulabayo engeri bbiri Danyeri ze yayoleka, ezaaviirako Yakuwa okumwagala ennyo. Tugenda kusooka tulabe buli emu ku ngeri ezo, era tulabe ddi lwe yagyoleka. Ate era tugenda kulaba ekyayamba Danyeri okukulaakulanya engeri ezo. Oluvannyuma tujja kulaba engeri gye tuyinza okumukoppa. Wadde ng’ekitundu kino okusingira ddala kikwata ku bavubuka, ffenna tusobola okubaako kye tuyigira ku Danyeri.
KOPPA OBUVUMU BWA DANYERI
4. Danyeri yayoleka atya obuvumu? Waayo ekyokulabirako.
4 Abantu abavumu nabo oluusi batya, naye tebakkiriza kutya kubalemesa kukola kituufu. Danyeri yali muvubuka muvumu nnyo. Lowooza ku mbeera bbiri mwe yayolekera obuvumu. Embeera esooka kirabika yaliwo nga waakayita emyaka ng’ebiri bukya Bababulooni bazikiriza Yerusaalemi. Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yafuna ekirooto ekyamutiisa ennyo ekyali kikwata ku kibumbe ekinene. Yalagira nti abasajja be abagezi bonna battibwe nga mw’otwalidde ne Danyeri, singa balemererwa okumubuulira ekirooto kye yali aloose n’amakulu g’akyo. (Dan. 2:3-5) Danyeri yalina okubaako ky’akolawo mu bwangu kubanga abantu bangi baali bagenda kuttibwa. Yagenda “eri kabaka n’amusaba amuweemu ekiseera asobole okumubuulira amakulu g’ekirooto.” (Dan. 2:16) Ekyo kyali kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu. Lwaki? Tewaaliwo kiraga nti ng’embeera eyo tennabaawo Danyeri yali annyonnyoddeko amakulu g’ebirooto. Yagamba banne abaalina amannya gano ag’Ekibabulooni, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, “basabe Katonda w’eggulu abakwatirwe ekisa ababikkulire ekyama ekyo.” (Dan. 2:18) Yakuwa yaddamu essaala zaabwe. Yasobozesa Danyeri okubuulira Nebukadduneeza amakulu g’ekirooto kye yaloota. Bwe kityo, Danyeri ne banne baawona okuttibwa.
5. Mbeera ki endala eyajjawo eyali yeetaagisa Danyeri okwoleka obuvumu?
5 Nga wayise ekiseera nga Danyeri amaze okubuulira Nebukadduneeza amakulu g’ekirooto ekikwata ku kibumbe, waliwo embeera endala eyajjawo eyali emwetaagisa okuba omuvumu. Nebukadduneeza yafuna ekirooto ekirala ekyamutiisa. Ekirooto kino kyali kikwata ku muti omunene ennyo. Danyeri yayoleka obuvumu n’ategeeza kabaka amakulu g’ekirooto ekyo, ate era n’amugamba nti yali agenda kugwa eddalu era amale ekiseera nga tafuga. (Dan. 4:25) Kyandibadde kyangu kabaka okulowooza nti Danyeri yayogera ebigambo ebyo olw’okuba yali ayagala kulya mu gavumenti ye lukwe, era ng’ekyo kyandiviiriddeko Danyeri okuttibwa. Wadde kyali kityo, Danyeri yategeeza kabaka obubaka obwo.
6. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyayamba Danyeri okuba omuvumu?
6 Kiki ekiyinza okuba nga kye kyayamba Danyeri okwoleka obuvumu obulamu bwe bwonna? Kya lwatu nti bwe yali akyali muto, yayigira ku kyokulabirako ekirungi maama we ne taata we kye baamuteerawo. Maama wa Danyeri ne taata we bateekwa okuba nga baagondera ekiragiro Yakuwa kye yawa abazadde Abayisirayiri, ne bayigiriza omwana waabwe Amateeka ga Katonda. (Ma. 6:6-9) Ng’oggyeeko okuba nti Danyeri yali amanyi Amateeka ekkumi, era yali amanyi ne kalonda yenna akwata ku mateeka gonna Yakuwa ge yawa Abayisirayiri. Ng’ekyokulabirako, yali amanyi biki Abayisirayiri bye baalina okulya ne bye bataalina kulya. b (Leev. 11:4-8; Dan. 1:8, 11-13) Danyeri era yali yayiga ebikwata ku byafaayo by’abantu ba Katonda era ng’amanyi ebyabatuukako bwe baalemererwa okutambulira ku mitindo gya Yakuwa. (Dan. 9:10, 11) Ate era ebintu bye yayitamu mu bulamu byamuleetera okuba omukakafu nti ka kibe ki ekyandimutuuseeko, Yakuwa ne bamalayika be bandimuyambye.—Dan. 2:19-24; 10:12, 18, 19.
7. Kiki ekirala ekyayamba Danyeri okuba omuvumu? (Laba n’ekifaananyi.)
7 Danyeri yeesomesanga ebyo ebyawandiikibwa bannabbi, nga mw’otwalidde n’obunnabbi bwa Yeremiya. Olw’ebyo bye yali asomye mu bunnabbi obwo, Danyeri oluvannyuma yakitegeera nti ekiseera ky’Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni kyali kinaatera okuggwaako. (Dan. 9:2) Kya lwatu nti okulaba obunnabbi bwa Bayibuli nga butuukirira, kyamuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa, era abo abeesigira ddala Yakuwa baba bavumu nnyo. (Geraageranya Abaruumi 8:31, 32, 37-39.) N’ekisinga obukulu, Danyeri yasabanga nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. (Dan. 6:10) Yategeeza Yakuwa ensobi ze era yamutegeeza engeri gye yali awuliramu. Ate era yasaba Yakuwa amuyambe. (Dan. 9:4, 5, 19) Olw’okuba Danyeri yali muntu nga ffe, teyazaalibwa nga muvumu. Engeri eyo yagikulaakulanya okuyitira mu kwesomesa, mu kusaba, n’okwesiga Yakuwa.
8. Tuyinza tutya okuyiga okuba abavumu?
8 Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuba abavumu? Bazadde baffe bayinza okutukubiriza okuba abavumu, naye okuba nti bo bavumu, ekyo ku bwakyo tekitufuula bavumu. Okuyiga okuba abavumu kifaananako okufuna obukugu mu kintu ekimu. Engeri emu gy’oyinza okufuna obukugu mu kintu, kwe kwetegereza oyo aba akuyigiriza era n’ofuba okumukoppa. Mu ngeri y’emu, engeri emu gye tusobola okuyiga okuba abavumu, kwe kwekenneenya engeri abalala gye baayolekamu obuvumu era ne tufuba okubakoppa. Kiki kye tuyigidde ku Danyeri? Naffe tusaanidde okuba nga tumanyi bulungi Ekigambo kya Katonda. Tulina okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa nga tumusaba enfunda n’enfunda ne tumubuulira ebituli ku mutima. Ate era tusaanidde okumwesiga nga tuli bakakafu nti atuyamba. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okuba abavumu nga twolekaganye n’embeera ezigezesa okukkiriza kwaffe.
9. Tuganyulwa tutya mu kwoleka obuvumu?
9 Okwoleka obuvumu kituganyula nnyo. Lowooza ku Ben. Mu ssomero lye yalimu mu Bugirimaani, buli omu yali akkiriza nti ebintu tebyatondebwa era nga bagamba nti enjigiriza ya Bayibuli egamba nti ebintu byatondebwa si ntuufu. Lumu Ben yaweebwa akakisa okunnyonnyola bayizi banne n’omusomesa we ensonga lwaki yali akkiriza nti ebintu byatondebwa. Yayoleka obuvumu era n’abannyonnyola bulungi ensonga kwe yali asinziira okukkiriza bw’atyo. Biki ebyavaamu? Ben agamba nti: “Omusomesa yawuliriza bulungi nga nnyinyonnyola, era n’ayokesaamu ebyo bye nnakozesa okubannyonnyola n’awaako buli muyizi kopi.” Ate bayizi banne baakwatibwako batya? Ben agamba nti: “Bangi ku bo baali beetegefu okuwuliriza, era baŋŋamba nti baali bannesiimisa.” Ng’ekyokulabirako kya Ben bwe kiraga, emirundi mingi abantu abooleka obuvumu, abalala babassaamu ekitiibwa. Ate era basobola okuyamba abalala okwagala okumanya ebisingawo ku Yakuwa. Mazima ddala tulina ensonga ennungi kwe tusinziira okukulaakulanya obuvumu.
KOPPA OBWESIGWA BWA DANYERI
10. Obwesigwa kye ki?
10 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “obwesigwa” oba “okwagala okutajjulukuka,” kirina amakulu ag’okunywerera ku muntu ng’omulaga okwagala. Bayibuli emirundi mingi eyogera ku bwesigwa oba ku kwagala okutajjulukuka Yakuwa kw’alaga abaweereza be. Ate era eyogera ku bwesigwa abaweereza ba Yakuwa bwe booleka eri bannaabwe. (2 Sam. 9:6, 7) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo tweyongera okuba abeesigwa eri Yakuwa n’eri bannaffe. Kati ka tulabe engeri Danyeri gye yeeyongera okwoleka obwesigwa.
11. Kintu ki ekyaliwo nga Danyeri akaddiye ekyagezesa obwesigwa bwe? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
11 Waliwo ebintu bingi mu bulamu bwa Danyeri ebyagezesa obwesigwa bwe eri Yakuwa. Naye ekimu ku bintu ebyasingira ddala okugezesa obwesigwa bwe kyaliwo ng’asussa emyaka 90. Mu kiseera ekyo Babulooni yali yawambibwa Abameedi n’Abaperusi era yali efugibwa kabaka eyali ayitibwa Daliyo. Abakungu b’omu lubiri baali tebaagala Danyeri era baali tebassa kitiibwa mu Katonda we. Bwe kityo, baakola olukwe okutta Danyeri. Baaleetera kabaka okuyisa etteeka eryandibadde lyetaagisa Danyeri okukyoleka obanga yali mwesigwa eri Katonda we, oba eri kabaka. Ekintu kyokka Danyeri kye yalina okukola okukyoleka nti yali mwesigwa eri kabaka era nti yalinga abalala bonna, bwe butasaba Yakuwa okumala ennaku 30. Danyeri yasalawo okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. N’ekyavaamu, yasuulibwa mu kinnya omwali empologoma. Naye Yakuwa yasiima nnyo Danyeri olw’okusigala nga mwesigwa gy’ali era n’amuwonya obutaliibwa mpologoma. (Dan. 6:12-15, 20-22) Tusobola tutya okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga Danyeri bwe yakola?
12. Kiki ekyayamba Danyeri okuba omwesigwa eri Yakuwa?
12 Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okuba nga tumwagala nnyo. Danyeri yali mwesigwa eri Yakuwa olw’okuba yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. Kya lwatu nti okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa ne ku ngeri Yakuwa gy’azoolekamu, kye kyayamba Danyeri okwagala ennyo Yakuwa. (Dan. 9:4) Ate era yafumiitiriza ku birungi byonna Yakuwa bye yali amukoledde, ne bye yali akoledde abantu be.—Dan. 2:20-23; 9:15, 16.
13. (a) Bintu ki abaana baffe bye boolekagana nabyo ebigezesa obwesigwa bwabwe? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.) (b) Okusinziira ku vidiyo, singa abalala bakubuuza obanga Abajulirwa ba Yakuwa bawagira abo abalya ebisiyaga, oyinza kubaddamu otya?
13 Okufaananako Danyeri, abaana baffe beetooloddwa abantu abatassa kitiibwa mu Yakuwa era abatagoberera mitindo gye. Abantu ng’abo bayinza okukyawa omuntu yenna agamba nti ayagala Katonda. Abamu bayinza n’okugezaako okuleetera abaana baffe okulekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muvubuka ayitibwa Graeme abeera mu Australia. Waliwo embeera enzibu gye yayolekagana nayo bwe yali ng’asoma siniya. Lumu omusomesa yabuuza abaana kye bandikoze singa mukwano gwabwe ababuulira nti mulyi wa bisiyaga. Omusomesa yagamba nti abaana abaali bagamba nti ekyo tekyalimu buzibu bwonna bayimirire ku ludda olumu olw’ekibiina, ate abo abaali batakiwagira bayimirire ku ludda olulala. Graeme agamba nti: “Ng’oggyeeko nze n’omwana omulala eyali Omujulirwa wa Yakuwa, abaana bonna mu kibiina baayimirira ku ludda lw’abo abaali bawagira eky’okulya ebisiyaga.” Naye ekyaddirira kyagezesa nnyo obwesigwa bwa Graeme. Agamba nti, “Essaawa nnamba eyaddako abayizi n’omusomesa baagimala batuvuma era nga batujerega. Nnagezaako nnyo okubannyonnyola enzikiriza zange mu ngeri ey’obukkakkamu era mu ngeri ey’amagezi, naye baagaana okumpuliriza.” Graeme yawulira atya olw’ebyo ebyaliwo? Agamba nti, “Saasanyukira kya kuvumibwa, naye nnawulira essanyu lingi olw’okuba nnasobola okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa era n’okunnyonnyola enzikiriza zange.” c
14. Ekimu ku biyinza okutuyamba okubeera abeesigwa eri Yakuwa kye kiruwa?
14 Okufaananako Danyeri, gye tukoma okwagala Yakuwa, gye tukoma okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Tusobola okukulaakulanya okwagala okwo nga twekenneenya engeri za Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tukukulaakulanya nga twekenneenya ebintu bye yatonda. (Bar. 1:20) Okugeza, bw’oba ng’oyagala okweyongera okwagala Yakuwa n’okumussaamu ekitiibwa osobola okusoma ebitundu ebirina omutwe, “Kyajjawo Kyokka?” oba okulaba vidiyo ezirina omutwe ogwo. Osobola n’okusoma brocuwa Was Life Created? ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking. Weetegereze mwannyinaffe omuvubuka omu ow’omu Denmark ayitibwa Esther kye yayogera ku brocuwa ezo. Yagamba nti: “Zinnyonnyola ebintu mu ngeri ennungi ennyo. Mu brocuwa ezo tebakulagira ekyo ky’olina kukkiriza, wabula bakutegeeza ebintu ebikwata ku bitonde, gwe nneewesalirawo.” Ben, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Ebyo ebiri mu brocuwa ezo byanyweza nnyo okukkiriza kwange. Byandeetera okuba omukakafu nti Katonda ye yatonda ebintu ebiramu.” Okusoma brocuwa ezo kiyinza okukuleetera okukkiriziganya n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Katonda nti: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”—Kub. 4:11. d
15. Kiki ekirala ekiyinza okutuyamba okweyongera okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?
15 Ekintu ekirala ekisobola okukuyamba okweyongera okwagala Yakuwa, kwe kusoma n’okufumiitiriza ku ebyo ebikwata ku Mwana we, Yesu. Ekyo mwannyinaffe omuvubuka ayitibwa Samira abeera mu Bugirimaani kye yakola. Agamba nti: “Okwekenneenya ebikwata ku Yesu kyannyamba okweyongera okutegeera Yakuwa.” Samira bwe yali ng’akyali muto, yali azibuwalirwa nnyo okukitegeera nti Yakuwa alina enneewulira. Naye yali ategeera engeri Yesu gye yeewulirangamu. Agamba nti: “Nnali njagala nnyo Yesu kubanga yali muntu wa bantu era ng’ayagala nnyo abaana.” Samira gye yakoma okuyiga ebikwata ku Yesu, gye yakoma okumanya Yakuwa n’okumwagala. Lwaki? Agamba nti: “Mpolampola nnagenda nkitegeera nti Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe. Mu butuufu engeri zaabwe ze zimu. Nnakitegeera nti eyo y’emu ku nsonga lwaki Yakuwa yatuma Yesu ku nsi, kwe kugamba, okuyamba abantu okweyongera okumanya obulungi Yakuwa.” (Yok. 14:9) Bw’oba ng’oyagala okweyongera okunyweza enkolaganayo ne Yakuwa, fuba okuyiga ebikwata ku Yesu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Yakuwa era ojja kweyongera okuba omwesigwa gy’ali.
16. Tuganyulwa tutya bwe tuba abeesigwa? (Zabbuli 18:25; Mikka 6:8)
16 Bwe tuba abeesigwa eri abalala, emirundi mingi tufuna omukwano ogw’oku lusegere nabo era nabo baba beesigwa gye tuli. (Luus. 1:14-17) Ate bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa, tuba n’emirembe era tuba bamativu. Lwaki? Kubanga Yakuwa asuubiza okuba omwesigwa eri abo abeesigwa gy’ali. (Soma Zabbuli 18:25; Mikka 6:8.) Kirowoozeeko, wadde nga tuli ba wansi nnyo ku Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, asuubiza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naffe emirembe n’emirembe! Bwe tuba n’enkolagana eyo, tewali muntu yenna oba kintu kyonna, ka kube kufa, kiyinza kutwawukanya ne Katonda. (Dan. 12:13; Luk. 20:37, 38; Bar. 8:38, 39) N’olwekyo, kikulu nnyo okukoppa Danyeri naffe tusigale nga tuli beesigwa eri Yakuwa!
WEEYONGERE OKUYIGIRA KU DANYERI
17-18. Kiki ekirala kye tuyigira ku Danyeri?
17 Mu kitundu kino tulabyeko engeri bbiri Danyeri ze yayoleka. Naye waliwo ebirala bingi bye tuyinza okumuyigirako. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalaga Danyeri ebintu ebitali bimu okuyitira mu kwolesebwa ne mu birooto, era n’amusobozesa okunnyonnyola amakulu g’abyo ag’obunnabbi. Bungi ku bunnabbi obwo bwamala okutuukirizibwa. Obulala bwogera ku bintu ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso ebinaakwata ku bantu bonna ku nsi.
18 Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenyayo obunnabbi bwa mirundi ebiri ku obwo Danyeri bwe yawandiika. Okutegeera obulungi obunnabbi obwo kituyamba ffenna, abakulu n’abato, okusalawo mu ngeri ey’amagezi kati. Obunnabbi obwo era butusobozesa okweyongera okuba abavumu n’okuba abeesigwa eri Yakuwa, era ekyo kijja kutusobozesa okweteekerateekera ebigezo ebijja mu maaso.
OLUYIMBA 119 Tulina Okuba n’Okukkiriza
a Abaweereza ba Yakuwa leero abakyali abato boolekagana n’embeera ezibeetaagisa okufuba ennyo okuba abavumu n’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Bayizi bannaabwe bayinza okubajerega olw’okuba bakkiriza nti ebintu byatondebwa. Oba bayinza okubaleetera okuwulira nti si kya magezi okuweereza Yakuwa n’okutambulira ku mitindo gye. Naye ng’ekitundu kino bwe kiraga, abo abakoppa nnabbi Danyeri ne baweereza Yakuwa n’obuvumu era ne basigala nga beesigwa gy’ali, baba b’amagezi.
b Waliwo ensonga ssatu ezaaleetera Danyeri okugaana okulya emmere y’Abababulooni: (1) Ennyama yaabwe eyinza okuba nga yali ya nsolo ezaagaanibwa mu Mateeka okuliibwa. (Ma. 14:7, 8) (2) Ennyama eyinza okuba nga teyaggibwangamu bulungi musaayi. (Leev. 17:10-12) (3) Okulya emmere eyo kiyinza okuba nga kyali kitwalibwa okuba nga kye kimu ku bintu ebyali bizingirwa mu kusinza katonda ow’obulimba.—Geraageranya Eby’Abaleevi 7:15 ne 1 Abakkolinso 10:18, 21, 22.
c Laba vidiyo “Obutuukirivu Obwa Nnamaddala Bulivaamu Emirembe,” ku jw.org/lg.
d Okusobola okweyongera okwagala Yakuwa, osobola n’okusoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akasobola okukuyamba okumanya ebisingawo ku ngeri za Yakuwa.