Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eri Abasomi

Eri Abasomi

Omusomi Waffe Omwagalwa

Mu Omunaala gw’Omukuumi guno tugenda kulaba ebitundu bitaano ebiddamu ebibuuzo bino wammanga:

  • Ekisooka, nteekateeka ki Yakuwa gy’akoze okuyamba abantu okulwanyisa ekibi n’okukiwangula?

  • Eky’okubiri, Yakuwa atuyigirizza atya kye kitegeeza okwenenya mu bwesimbu, era ayamba atya aboonoonyi okwenenya?

  • Eky’okusatu, ekibiina ky’e Kkolinso kyalagirwa kukwata kitya omuntu eyali akoze ekibi mu bugenderevu ate n’agaana okwenenya?

  • Eky’okuna, abakadde bayamba batya omuntu akoze ekibi eky’amaanyi?

  • Eky’okutaano, omuntu akoze ekibi eky’amaanyi n’ateenenya bw’aggibwa mu kibiina, ekibiina kiyinza kitya okweyongera okulaga omuntu oyo okwagala era n’obusaasizi?