EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7
OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye
Oganyulwa Otya Yakuwa bw’Akusonyiwa?
“Kubanga ggwe osonyiyira ddala.”—ZAB. 130:4.
EKIGENDERERWA
Okwekenneenya ebimu ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’atusonyiwamu, kijja kutuyamba okweyongera okusiima ennyo Yakuwa olw’okutusonyiwa.
1. Lwaki kiyinza obutaba kyangu kumanya ekyo omuntu ky’aba ategeeza bw’agamba nti, “Nkusonyiye”?
OMUNTU bw’akugamba nti: “Nkusonyiye,” ofuna obuweerero obw’amaanyi naddala bw’okimanya nti wayogedde oba wakoze ekintu ekyanyiizizza omuntu oyo! Naye ddala omuntu aba ategeeza ki bw’agamba nti “Nkusonyiye”? Aba ategeeza nti omukwano gwammwe guzzeewo mu bujjuvu? Oba aba ategeeza nti ensonga eyo takyayagala kuddamu kugyogerako? Abantu baba bategeeza ebintu eby’enjawulo bwe bagamba nti “Nkusonyiye.”
2. Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu eyogerwako etya mu Byawandiikibwa? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
2 Engeri Yakuwa gy’atusonyiwamu ffe abantu abatatuukiridde ya njawulo nnyo ku ngeri gye tusonyiwaganamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ggwe osonyiyira ddala, bw’otyo olyoke oweebwe ekitiibwa.” a (Zab. 130:4) Mu butuufu, Yakuwa ‘asonyiyira ddala.’ Y’atuyamba okumanya kye kitegeeza okusonyiwa. Mu nnyiriri ezimu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abawandiisi ba Bayibuli baayogera ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu nga bakozesa ekigambo ekitakozesebwa ku ngeri abantu gye basonyiwamu.
3. Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu eyawukana etya ku ngeri gye tusonyiwamu? (Isaaya 55:6, 7)
3 Yakuwa bw’asonyiwa omuntu, ebibi by’omuntu oyo biba biggiddwawo. Enkolagana Katonda gy’alina n’omuntu oyo ebadde eyonoonese eddawo. Yakuwa bw’asonyiwa asonyiyira ddala.—Soma Isaaya 55:6, 7.
4. Yakuwa atuyamba atya okutegeera ekyo ky’aba ategeeza bw’agamba nti asonyiyira ddala?
4 Bwe kiba nti engeri Yakuwa gy’asonyiwamu ya njawulo ku ngeri gye tusonyiwamu, abantu abatatuukiridde tuyinza tutya okutegeera engeri gy’asonyiwamu? Yakuwa alina ebyokulabirako by’akozesa okutuyamba okutegeera engeri gy’asonyiwamu. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebimu ku byo. Bigenda kutuyamba okumanya engeri Yakuwa gy’aggyawo ekibi, ate mu kiseera kye kimu n’azzaawo enkolagana ebadde eyonoonese olw’ekibi ekyo. Okwekenneenya ebyokulabirako ebyo kigenda kutuyamba okweyongera okusiima Kitaffe omusaasizi atusonyiwa mu ngeri nnyingi.
YAKUWA AGGYAWO EKIBI
5. Kiki ekibaawo Yakuwa bw’atusonyiwa?
5 Mu Bayibuli, emirundi mingi ebibi bigeraageranyizibwa ku migugu emizito. Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku bibi bye yakola: “Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange; ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.” (Zab. 38:4) Naye Yakuwa asonyiwa ebibi by’aboonoonyi abeenenya. (Zab. 25:18; 32:5) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okusonyiwa” mu nnyiriri ezo kitegeeza “okusitula.” Yakuwa tuyinza okumutwala ng’omusajja ow’amaanyi mu ngeri ey’akabonero asitula omugugu gw’ebibi byaffe n’abitwala.
6. Yakuwa ebibi byaffe abiteeka wala kwenkana wa?
6 Ekyokulabirako ekirala Bayibuli ky’ekozesa kiraga nti Yakuwa asitula ebibi byaffe n’abitwala wala nnyo okuva we tuli. Zabbuli 103:12 wagamba nti: “Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.” Ebuvanjuba we wasingayo okuba ewala ennyo okuva ebugwanjuba. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ebibi byaffe abitwala wala nnyo okuva we tuli. N’olwekyo, Yakuwa bw’asonyiwa asonyiyira ddala!
7. Kiki Yakuwa ky’akolera ebibi byaffe? (Mikka 7:18, 19)
7 Wadde ng’ebibi byaffe Yakuwa abisitula n’abitwala wala nnyo okuva we tuli, asigala abiraba? Nedda. Kabaka Keezeekiya yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.” Obugambo obuli wansi ku lunyiriri olwo bugamba nti: “Ebibi byange byonna obiggye mu maaso go.” (Is. 38:9, 17; obugambo obuli wansi.) Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa atwala ebibi by’aboonoonyi abeenenya n’abisuula wala nga tebikyasobola kulabika. Ebigambo ebyo era biyinza okuvvuunulwa bwe biti: “Ebibi byange obifudde ng’ebitabangawoko.” Ensonga eyo era eggumizibwa mu kyokulabirako ekirala ekisangibwa mu Mikka 7:18, 19. (Soma.) Mu nnyiriri ezo Yakuwa ayogerwako ng’asuula ebibi mu buziba bw’ennyanja. Mu biseera by’edda ekintu bwe kyasuulibwanga mu buziba bw’ennyanja kyabanga tekisoboka kuggibwayo.
8. Kiki kye twakalaba?
8 Ebyokulabirako ebyo bituyambye okukiraba nti Yakuwa bw’atusonyiwa atutikkula omugugu gw’ebibi byaffe. Mazima ddala, nga Dawudi bwe yagamba, “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako ebibi byabwe; alina essanyu omuntu Yakuwa gw’atalibalira kibi kye.” (Bar. 4:7, 8) Ekyo kye kitegeeza okusonyiyira ddala!
YAKUWA ASANGULA EBIBI
9. Byakulabirako ki Yakuwa by’akozesa okutuyamba okumanya engeri gy’asonyiwamu?
9 Yakuwa akozesa ebyokulabirako ebirala okutuyamba okutegeera engeri gy’asangulamu ebibi by’aboonoonyi abeenenya okuyitira mu kinunulo. Mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa ayogerwako ng’anaazaako abantu ebibi ebyo. Ekyo kiviirako omwonoonyi okulongooka. (Zab. 51:7; Is. 4:4; Yer. 33:8) Yakuwa kennyini ayogera ku ebyo ebiva mu ekyo ky’akola. Agamba nti: “Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira; ne bwe binaaba bitwakaavu ng’olugoye olumyufu, bijja kufuuka byeru ng’ebyoya by’endiga.” (Is. 1:18) Kiba kizibu nnyo okuggya mu lugoye ebbala erimyufu. Kyokka okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa atukakasa nti ebibi byaffe bisobola okutunaazibwako ne biba nga tebikyalabika.
10. Kyakulabirako ki ekirala Yakuwa ky’akozesa okutuyamba okumanya engeri gy’asonyiwamu?
10 Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, ebibi era bigeraageranyizibwa ku ‘mabanja.’ (Mat. 6:12; Luk. 11:4) N’olwekyo, buli lwe twonoona mu maaso ga Yakuwa tuba ng’abongera ku bunene bw’ebbanja lye tulina. Ebbanja lye tulina okusasula ddene nnyo! Naye Yakuwa bw’atusonyiwa aba ng’asazizzaamu ebbanja lye twandibadde tulina okumusasula. Tatulagira kusasulira bibi bye yatusonyiwa. Ekyokulabirako ekyo ekiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu nga kizzaamu nnyo amaanyi!
11. Bayibuli bw’egamba nti ebibi byaffe ‘bisangulibwa’ eba etegeeza ki? (Ebikolwa 3:19)
11 Yakuwa tasazaamu busaza mabanja gaffe oba bibi byaffe, wabula abisangula. (Soma Ebikolwa 3:19.) Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’omuntu akutte ekkalaamu n’asazaamu omuwendo gwa ssente ezikubangibwa eziragibwa ku lisiiti. Wadde ng’aba asazizzaamu ebbanja eryo, omuwendo gwa ssente ezibadde zikubangibwa guba gukyalabika ku lisiiti. Kyokka okusangula ekintu kiba kya njawulo ku kukisazaamu obusaza. Okusobola okutegeera ekyokulabirako ekyo, tusaanidde okukijjukira nti bwino eyakozesebwanga edda omuntu yabanga asobola okumusangula ng’akozesa akagoye akabisi. N’olwekyo, ebbanja bwe ‘lyasangulwanga,’ lyabanga liviiriddewo ddala. Ebyo ebyabanga biwandiikiddwa ebikwata ku bbanja eryo byabanga tebikyasobola kulabibwa. Byabanga tebikyaliwo. Tukwatibwako nnyo okukimanya nti Yakuwa takoma ku kusazaamu bibi byaffe naye era abisangulira ddala!—Zab. 51:9.
12. Ekyokulabirako ekikwata ku kire ekikutte kituyamba kutegeera ki?
12 Yakuwa akozesa ekyokulabirako ekifaananako n’ekyo okulaga engeri gy’asangulamu ebibi. Agamba nti: “Ndisangula ebyonoono byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire, n’ebibi byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire ekikutte.” (Is. 44:22) Yakuwa bw’atusonyiwa abanga akozesezza ekire ekikutte okubikka ku bibi byaffe ne biba nga tebikyalabibwa.
13. Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tuwulira tutya?
13 Ekyokulabirako ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tetusaanidde kweyongera kulumirizibwa mutima olw’ebibi ebyo. Okuyitira mu musaayi gwa Yesu Kristo, amabanja gaffe gasazibwamu ddala. Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tuba ng’abatabikolangako. Bw’atyo Yakuwa bw’asonyiwa abo abeenenya ebibi byabwe.
YAKUWA AZZAAWO ENKOLAGANA ENNUNGI NAFFE
14. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa nti bw’atusonyiwa aba atusonyiyidde ddala? (Laba ebifaananyi.)
14 Olw’okuba Yakuwa atusonyiyira ddala, ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye. Ate era kituyamba obuteeyongera kulumirizibwa mutima. Tekitwetaagisa kweraliikirira nti Yakuwa akyatunyiigidde era nti anoonya engeri y’okutubonerezaamu. Ekyo tasobola kukikola. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa nti bw’atusonyiwa aba atusonyiyidde ddala? Okuyitira mu nnabbi Yeremiya Yakuwa yagamba nti: “Ndibasonyiwa ensobi zaabwe, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.” (Yer. 31:34) Pawulo yali ajuliza ebigambo ebyo bwe yagamba nti: “Siriddamu kujjukira bibi byabwe.” (Beb. 8:12) Naye ebigambo ebyo bitegeeza ki?
15. Yakuwa aba ategeeza ki bw’agamba nti takyajjukira bibi byaffe?
15 Mu Bayibuli, oluusi ekigambo “okujjukira” tekitegeeza nti omuntu aba ajjukira ekintu ekyabaawo, oba nti aba akirowoozaako. Oluusi kiba kitegeeza omuntu okubaako ky’akolawo. Omumenyi w’amateeka eyakomererwa ku muti okumpi ne Yesu yagamba Yesu nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” (Luk. 23:42, 43) Yali tasaba busabi Yesu kumulowoozaako mu kiseera ekyo. Ekyo Yesu kye yaddamu kiraga nti yandibaddeko ne kyakolawo n’azuukiza omumenyi w’amateeka oyo. N’olwekyo, Yakuwa bw’agamba nti takyajjukira bibi byaffe, aba ategeeza nti atusonyiye era nti tajja kubaako ky’akolawo kutubonereza olw’ebibi ebyo.
16. Bayibuli eyogera etya ku ddembe lye tufuna nga tusonyiyiddwa ddala?
16 Waliwo ekyokulabirako ekirala Bayibuli ky’ekozesa okutuyamba okutegeera eddembe lye tufuna Yakuwa bw’atusonyiyira ddala. Bayibuli eraga nti olw’okuba tetutuukiridde tuli “baddu ba kibi.” Naye Yakuwa bw’atusonyiwa tuba ‘ng’abaggiddwa mu buddu bw’ekibi.’ (Bar. 6:17, 18; Kub. 1:5) Bwe tumanya nti Yakuwa atusonyiye, tufuna essanyu lingi nnyo okufaananako omuddu aba asumuluddwa mu buddu.
17. Lwaki tugamba nti Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe tuba tuwonyezeddwa? (Isaaya 53:5)
17 Soma Isaaya 53:5. Ekyokulabirako ekisembayo kye tugenda okulaba kigeraageranya embeera gye tulimu ku y’abantu abalina obulwadde obubi ennyo. Olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo okuyitira mu Mwana we, mu ngeri ey’akabonero tulinga abaawonyezebwa. (1 Peet. 2:24) Bwe tukola ekibi twonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa ne tufuuka balwadde mu by’omwoyo. Naye olw’ekinunulo, Yakuwa asobola okutusonyiwa ebibi byaffe ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Ng’omuntu awonyezeddwa obulwadde obw’amaanyi bw’awulira essanyu eringi, naffe tuwulira essanyu lingi bwe tuwonyezebwa mu by’omwoyo ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
YAKUWA BW’ATUSONYIWA TUKWATIBWAKO TUTYA
18. Biki bye tuyize mu byokulabirako ebyogerwako mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu? (Laba n’akasanduuko “Engeri Yakuwa gy’Atusonyiwamu.”)
18 Biki bye tuyize mu byokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu? Bw’atusonyiwa, aba atusonyiyidde ddala. Ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa okutusonyiwa kiba kirabo. Ekirabo ekyo akituwa ffe abantu abatatuukiridde olw’okuba atwagala era atulaga ekisa eky’ensusso, so si lwa kuba nti tugwanidde okukifuna.—Bar. 3:24.
19. (a) Lwaki tusaanidde okusiima ennyo Yakuwa? (Abaruumi 4:8) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Soma Abaruumi 4:8. Mazima ddala ffenna tusiima nnyo Yakuwa Katonda ‘olw’okutusonyiyira ddala’! (Zab. 130:4) Kyokka, okusobola okusonyiyibwa, waliwo ekintu ekikulu kye tulina okukola. Yesu yagamba nti: ‘Bwe mutasonyiwa balala, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.’ (Mat. 6:14, 15) N’olwekyo, kikulu nnyo ffe okukoppa Yakuwa naffe ne tuba nga tusonyiwa abalala. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ekitundu ekiddako kijja kutulaga ebyo ebizingirwa mu kusonyiwa abalala.
OLUYIMBA 46 Tukwebaza Yakuwa
a Ebigambo by’Olwebbulaniya ebyasooka biraga nti Yakuwa yekka y’asobola okusonyiyira ddala ebibi. Enkyusa za Bayibuli nnyingi teziggyayo makulu ago nga zivvuunula olunyiriri olwo.