Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tuwa Oyo Alina Buli Kimu?

Lwaki Tuwa Oyo Alina Buli Kimu?

“Ai Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo eddungi.”​—1 BYOM. 29:13.

ENNYIMBA: 80, 50

1, 2. Yakuwa akozesa atya eby’obugagga bye ebiri ku nsi?

YAKUWA Katonda mugabi. Buli kye tulina kiva gy’ali. Yakuwa ye nnannyini zzaabu, ffeeza, n’ebintu ebirala byonna ebiri ku nsi era abikozesa okutubeesaawo. (Zab. 104:13-15; Kag. 2:8) Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesaamu mu ngeri ey’ekyamagero ebintu eby’enjawulo ebiri ku nsi okusobola okuwa abantu be bye beetaaga.

2 Okumala emyaka 40, Yakuwa yawa Abayisirayiri emmaanu n’amazzi bwe baali mu ddungu. (Kuv. 16:35) “Tewali na kimu kye baajula.” (Nek. 9:20, 21) Okuyitira mu nnabbi Erisa, Yakuwa yasobozesa amafuta ga nnamwandu agaali amatono okweyongera ne gafuuka mangi nnyo. Ekyo Katonda kye yakola kyayamba nnamwandu oyo okusasula amabanja gonna ge yalina era n’afissaawo ssente ezaamuyamba okwerabirira n’okulabirira batabani be. (2 Bassek. 4:1-7) Ate era Yakuwa yasobozesa Yesu okufunira abantu emmere n’okusobozesa Peetero okufuna ssente ezaali zeetaagisa.​—Mat. 15:35-38; 17:27.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Yakuwa asobola okukozesa buli kyonna ky’aba asazeewo okukozesa okulabirira ebitonde bye ku nsi. Wadde kiri kityo akubiriza abaweereza be ku nsi okukozesa ebintu byabwe okuwagira emirimu egikolebwa ekibiina kye. (Kuv. 36:3-7; soma Engero 3:9.) Lwaki Yakuwa atusuubira okumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo? Abantu ba Katonda ab’edda baawagira batya mu by’ensimbi emirimu egyali gikolebwa abaweereza be? Era ekibiina kya Yakuwa kikozesa kitya ssente eziweebwayo leero? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo.

LWAKI YAKUWA TUMUWA KU BINTU BYAFFE?

4. Yakuwa bwe tumuwa ku bintu byaffe kiba kiraga ki?

4 Yakuwa tumuwa ku bintu byaffe olw’okuba tumwagala era olw’okuba tusiima ebyo by’atukolera. Tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde. Bwe yali ayogera ku ebyo ebyali byetaagisa okusobola okuzimba yeekaalu, Dawudi yakiraga nti ebintu byonna bye tulina biva eri Yakuwa era ebyo bye tumuwa tubiggya ku ebyo bye yatuwa.​—Soma 1 Ebyomumirembe 29:11-14.

5. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti okuwa Yakuwa ku bintu byaffe kintu kikulu mu kusinza okw’amazima?

5 Okubaako bye tuwa Yakuwa kye kimu ku bizingirwa mu kumusinza. Omutume Yokaana yafuna okwolesebwa n’awulira abaweereeza ba Yakuwa ab’omu ggulu nga bagamba nti: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” (Kub. 4:11) Mazima ddala Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo! N’olwekyo tusaanidde okumuwa ekisingayo obulungi. Okuyitira mu Musa, Yakuwa yalagira Abayisirayiri okulabikanga mu maaso ge ku mbaga ezaabangawo emirundi esatu buli mwaka. Ekimu ku bintu bye baalina okukola nga basinza Yakuwa ku mbaga ezo kwe kubaako bye bawa Yakuwa. Tebaalina kugenda mu maaso ga Yakuwa “ngalo nsa.” (Ma. 16:16) Ne leero, okuwaayo eri Yakuwa kintu kikulu nnyo mu kusinza kwaffe. Bwe tuwaayo eri Yakuwa kiba kiraga nti tuwagira era tusiima emirimu egikolebwa ekibiina kye.

6. Lwaki okugaba kutuganyula? (Laba ekifaananyi ku lupapula 17.)

6 Yakuwa bwe tumuwa ku bintu byaffe, kituganyula. Tetusaanidde kuba nga tuweebwa buweebwa, wabula naffe tulina okubaako kye tugaba. (Soma Engero 29:21.) Lowooza ku mwana abaako akalabo k’agulira bazadde be ng’akozesa ku ssente bazadde be ze bamuwa. Ekyo kisanyusa nnyo bazadde be! Ate era omwana aweereza nga payoniya ng’abeera mu maka ga bazadde be ayinza okubaako ssente entonotono z’awa bazadde be okuyambako ku byetaago by’awaka. Wadde ng’abazadde bayinza okuba nga tebasuubira mwana waabwe kubawa kirabo ekyo oba ssente ezo, bazikkiriza kubanga bakimanyi nti eyo y’emu ku ngeri omwana waabwe gy’alagamu nti asiima ebyo bye bamukolera. Mu ngeri y’emu, Yakuwa akimanyi nti bwe tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo kituganyula.

OKUWAAYO MU BISEERA EBY’EDDA

7, 8. Abantu ba Yakuwa ab’edda bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kuwagira (a) emirimu egyabanga gyetaagisa okukolebwa? (b) abo abaabanga bawomye omutwe mu mulimu gwa Yakuwa?

7 Mu Bayibuli tusoma ku ngeri abaweereza ba Yakuwa ab’edda gye baawagiramu omulimu gwe. Ebiseera ebimu abaweereza ba Yakuwa baawangayo ku bintu byabwe okuwagira omulimu ogwabanga gwetaagisa okukolebwa. Ng’ekyokulabirako, Musa yagamba Abayisirayiri okubaako bye bawaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba weema entukuvu, era ne Kabaka Dawudi yakubiriza abantu okubaako bye bawaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (Kuv. 35:5; 1 Byom. 29:5-9) Mu kiseera kya Kabaka Yekowaasi, bakabona baakozesa ssente abantu ze baali bawaddeyo ne baddaabiriza yeekaalu ya Yakuwa. (2 Bassek. 12:4, 5) Mu kyasa ekyasooka Abakristaayo bwe baategeezebwa nti mu Buyudaaya waaliyo enjala era nti ab’oluganda baali mu bwetaavu, baasalawo “nti buli omu ku bo okusinziira ku busobozi bwe, aweeyo obuyambi buweerezebwe eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya.”​—Bik. 11:27-30.

8 Ate era abaweereza ba Yakuwa baawangayo ssente okuwagira abo abaabanga bawomye omutwe mu mulimu gwa Yakuwa. Mu Isirayiri ey’edda, Abaleevi tebaaweebwa busika ng’ebika ebirala. Bwe kityo, Abayisirayiri baawanga Abaleevi ekimu eky’ekkumi, ekyo ne kisobozesa Abaleevi okwemalira ku mirimu gy’oku weema entukuvu. (Kubal. 18:21) Ate era Yesu n’abatume be baaganyulwa nnyo mu mwoyo omugabi ogwalagibwa abakazi “abaali babaweereza nga bakozesa ebintu byabwe.”​—Luk. 8:1-3.

9. Ebyo abaweereza ba Yakuwa ab’edda bye baawangayo baabiggyanga wa?

9 Ebyo abaweereza ba Katonda bye baawangayo baabifunanga mu ngeri za njawulo. Ng’ekyokulabirako, ebyo Abayisirayiri bye baawaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba weema mu ddungu kirabika baabiggya ku bintu bye baali baggye e Misiri. (Kuv. 3:21, 22; 35:22-24) Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo abamu baatunda ku bintu byabwe, gamba ng’ebibanja oba ennyumba, ssente ne bazikwasa abatume. Abatume baakozesa ssente ezo okuyamba Abakristaayo abaali mu bwetaavu. (Bik. 4:34, 35) Ate Abakristaayo abamu baaterekangawo ssente ze baawangayo obutayosa okuwagira omulimu gwa Katonda. (1 Kol. 16:2) N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa bonna, abagagga n’abaavu baabangako kye bawaayo.​—Luk. 21:1-4.

OKUWAAYO LEERO

10, 11. (a) Tuyinza tutya okukoppa abaweereza ba Katonda aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka omwoyo omugabi? (b) Otwala otya enkizo gy’olina ey’okubaako ky’owaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka?

10 Nga bwe kyali mu biseera by’edda, ne leero naffe tuyinza okusabibwa okubaako bye tuwaayo okuwagira omulimu oguba gwetaaga okukolebwa. Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo obwetaavu bw’okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka ekibiina kyammwe mwe kinaakuŋŋaanira. Oba Ekizimbe ky’Obwakabaka kye mukuŋŋaaniramu kiyinza okuba nga kyetaaga okuddaabirizibwa. Oba tuyinza okusabibwa okubaako ssente ze tuwaayo okuyamba mu kuddaabiriza ofiisi y’ettabi, okutegeka olukuŋŋaana olunene, oba okuyamba baganda baffe abakoseddwa akatyabaga. Era tuwaayo okuwagira abo abakola ku kitebe kyaffe ekikulu oba ku ofiisi z’amatabi okwetooloola ensi yonna. Ezimu ku ssente ze tuwaayo zikozesebwa okuyamba abaminsani, bapayoniya ab’enjawulo, n’abalabirizi abakyalira ebibiina. Ate era ekibiina kyammwe kirina omutemwa gwa ssente gwe kyeyama okuwaayo buli mwezi okuwagira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene n’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, era ssente ezo ziganyula ab’oluganda mu nsi yonna.

11 Buli omu ku ffe asobola okubaako ky’awaayo okuwagira omulimu gwa Yakuwa ogukolebwa mu nnaku zino ez’enkomerero. Bingi ku ebyo ebiweebwayo, abo ababiwaayo tebamanyibwa. Tuteeka ssente mu busanduuko obuli mu Bizimbe byaffe eby’Obwakabaka oba tuwaayo nga tuyitira ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Tuyinza okuwulira nga tuwaddeyo kitono nnyo. Naye ekituufu kiri nti ssente ezisinga obungi ekibiina kya Yakuwa kye zifuna ziva mu busente obutono ababuulizi bangi bwe bawaayo, so si mu ssente ennyingi eziweebwayo omulundi ogumu ababuulizi abatonotono. Ne baganda baffe abatali bulungi mu bya nfuna balinga Abakristaayo ab’e Masedoniya abaali ‘abaavu ennyo’ naye ne beegayirira baweebwe akakisa okubaako kye bawaayo era ne bawaayo mu bungi.​—2 Kol. 8:1-4.

12. Ekibiina kya Yakuwa kifuba kitya okukozesa obulungi ssente eziweebwayo?

12 Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi booleka obwesigwa n’amagezi mu ngeri gye bakwatamu ssente eziweebwayo. (Mat. 24:45) Ssente eziweebwayo zibalirirwa era ne zitemebwatemebwamu okusinziira ku byetaago ebibaawo. (Luk. 14:28) Mu biseera by’edda, abo abaakwasibwanga ebintu ebyabanga biweereddwayo baafubanga okulaba nti bikozesebwa ku bintu byokka bye byalina okukolako. Ng’ekyokulabirako, Ezera bwe yali addayo e Yerusaalemi, yagenda n’ebintu kabaka wa Buperusi bye yali awaddeyo. Mu bino mwalimu zzaabu, ffeeza, n’ebintu ebirala, era nga mu kiseera kino bibalirirwamu ddoola z’Amerika ezisukka mu bukadde 100. Ezera yali akimanyi nti ebintu ebyo byali biweereddwayo eri Yakuwa era yakakasa nti bikuumibwa bulungi mu lugendo oluwanvu era olutaali lwangu ye ne banne lwe baatambula. (Ezer. 8:24-34) N’omutume Pawulo yakuŋŋaanya ssente ez’okuyamba ab’oluganda mu Buyudaaya abaali mu bwetaavu. Pawulo yakakasa nti abo abaazituusaayo bakola “buli kimu mu bwesigwa, si mu maaso ga Yakuwa mwokka, naye era ne mu maaso g’abantu.” (Soma 2 Abakkolinso 8:18-21.) Okufaananako Ezera ne Pawulo, ekibiina kya Yakuwa leero kikakasa nti ssente eziweebwayo zikwatibwa bulungi era ne zisaasaanyizibwa bulungi.

13. Lwaki ekibiina kya Yakuwa kikoze enkyukakyuka ezitali zimu mu myaka egiyise?

13 Ab’omu maka bayinza okubaako enkyukakyuka ze bakola okukakasa nti ssente ze basaasaanya tezisukka ku nnyingiza yaabwe. Oba bayinza okubaako ebintu bye beerekereza basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. N’ekibiina kya Yakuwa bwe kityo bwe kikoze. Mu myaka egiyise wabaddewo ebintu ebipya bingi ekibiina kya Yakuwa bye kikoze, era oluusi ssente ezibadde zisaasaanyizibwa zibadde nnyingi okusinga ezo ezibadde ziweebwayo. Bwe kityo, kati ekibiina kifuba okulaba nti kikendeeza ku nsaasaanya n’okulaba nti emirimu gikolebwa mu ngeri ennyangu, kisobole okukozesa obulungi ssente ze tuwaayo.

EBIRUNGI EBIVA MU EBYO BY’OWAAYO

Bw’owaayo, owagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna (Laba akatundu 14-16)

14-16. (a) Ebyo by’owaayo bikozesebwa bitya? (b) Oganyuddwa otya mu ebyo ebiweebwayo?

14 Ab’oluganda bangi abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa bagamba nti tebalabangako mmere ya bya mwoyo nnyingi nga gye tufuna leero. Kirowoozeeko! Mu myaka egyakayita twafuna omukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org ne ttivi eyitibwa JW Broadcasting. Enkyusa ey’Ensi Empya kati evvuunuddwa mu nnimi nnyingi nnyo. Mu 2014/2015, olukuŋŋaana olunene olubaamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwalina omutwe “Musooke Munoonyenga Obwakabaka Bwa Katonda!” lwafunibwa mu bimu ku bisaawe ebisingayo obunene mu nsi yonna mu bibuga 14. Abo abaaluliko baasanyuka nnyo.

15 Ab’oluganda bangi bakiraze nti basiima ebintu ebirungi Yakuwa by’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ne mukyala we abaweerereza mu nsi emu ey’omu Asiya baagamba nti: “Twasindikibwa okuweerereza mu kibuga ekimu ekitono. Oluusi tuwulira ng’abeesudde ennyo era ne twerabira nti omulimu gwa Yakuwa gukolebwa mu nsi yonna. Naye buli lwe tulaba programu ku ttivi ya JW Broadcasting, tukijjukira nti tulina baganda baffe mu nsi yonna. Baganda baffe mu kitundu gye tuweerereza basanyufu nnyo olw’okuba tulina ttivi ya JW Broadcasting. Bangi ku bo tutera okubawulira nga bagamba nti bwe bamala okulaba programu y’omwezi ku ttivi eyo, bawulira nga beeyongedde okusemberera ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi. Kati bawulira nga beeyongedde okwagala ennyo ekibiina kya Yakuwa.”

16 Leero okwetooloola ensi yonna, Ebizimbe by’Obwakabaka nga 2,500 bizimbibwa oba biddaabirizibwa. Oluvannyuma lw’okutandika okukuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekipya, ab’oluganda mu kibiina ekimu mu Honduras baagamba nti: “Tuli basanyufu nnyo okuba mu maka ga Yakuwa n’okuba ne baganda baffe mu nsi yonna, kubanga ekyo kitusobozesezza okufuna Ekizimbe ky’Obwakabaka mu kitundu kyaffe, ekintu kye twali tutasuubira.” N’ab’oluganda abalala bangi basiima nnyo oluvannyuma lw’okufuna Bayibuli n’ebitabo ebirala ebiba bifulumiziddwa mu lulimi lwabwe, oluvannyuma lw’okuyambibwa nga bakoseddwa obutyabaga, oba oluvannyuma lw’okulaba ebirungi ebivudde mu kubuulira mu bifo ebya lukale.

17. Tumanya tutya nti Yakuwa y’asobozesa abantu be okukola emirimu gye bakola leero?

17 Abantu bangi abatali baweereza ba Yakuwa beewuunya engeri gye tusobola okukola ebintu byonna bye tukola nga tukozesa ssente eziweebwayo kyeyagalire. Oluvannyuma lw’omukungu wa kampuni emu ennene okulambula ekifo kyaffe awakubirwa ebitabo, yeewuunya nnyo emirimu egyali gikolebwa n’okuba nti emirimu egyo gyali gikolebwa bannakyewa, ate nga tebategeka mikolo gya kusonda ssente. Yagamba nti ekyo kye tukola mu buntu tekisoboka. Naffe tukkiriziganya naye! Tukimanyi nti Yakuwa y’atusobozesa okukola bye tukola.​—Yob. 42:2.

EMIKISA EGIVA MU KUBAAKO KYE TUWA YAKUWA

18. (a) Mikisa ki gye tufuna bwe tuwagira omulimu gw’Obwakabaka? (b) Tuyinza tutya okutendeka abaana baffe n’abapya okuwagira omulimu gw’Obwakabaka?

18 Yakuwa atuwadde enkizo ey’ekitalo okubaako bye tuwaayo okuwagira omulimu omukulu ogukolebwa leero. Bwe tubaako bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, asuubiza okutuwa emikisa. (Mal. 3:10) Yakuwa agamba nti omuntu omugabi ajja kuweebwa emikisa. (Soma Engero 11:24, 25.) Okugaba era kutuleetera essanyu kubanga “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Okuyitira mu bye twogera ne bye tukola tusobola okutendeka abaana baffe n’abapya ne bamanya engeri gye bayinza okuwagiramu omulimu gwa Yakuwa, bwe kityo ne bafuna emikisa.

19. Oganyuddwa otya mu kitundu kino?

19 Ebintu byonna bye tulina biva eri Yakuwa. Bwe tumuwa ku ebyo by’atuwa kiba kiraga nti tumwagala era nti tusiima ebyo byonna by’atukoledde. (1 Byom. 29:17) Abantu bwe baawaayo okuwagira omulimu ogw’okuzimba yeekaalu, ‘baasanyuka olw’okuwaayo kyeyagalire ebiweebwayo ebyo, kubanga baawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebya kyeyagalire n’omutima gwabwe gwonna.’ (1 Byom. 29:9) Naffe ka tweyongere okuwa Yakuwa ku bintu by’atuwa kubanga ekyo kijja kutuviiramu essanyu.