Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Asa, Yekosafaati, Keezeekiya, Yosiya

Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!

Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!

“Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira bwe ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna.”2 BASSEK. 20:3.

ENNYIMBA: 52, 65

1-3. Kitegeeza ki okuweereza Yakuwa ‘n’omutima gwaffe gwonna’? Waayo ekyokulabirako.

OLW’OKUBA tetutuukiridde, ebiseera ebimu tukola ensobi. Naye kasita twenenya mu bwesimbu era ne tusaba Yakuwa atusonyiwe ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu, atusonyiwa. Mu butuufu, ‘tatubonereza nga bwe tugwana kubonerezebwa.’ (Zab. 103:10) Kyokka Yakuwa okusobola okusiima okusinza kwaffe, tulina ‘okumuweerza n’omutima gwaffe gwonna.’ (1 Byom. 28:9) Naye ekyo tuyinza tutya okukikola ng’ate tetutuukiridde?

2 Okusobola okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, ka tulabe enjawulo eriwo wakati wa Kabaka Asa ne Kabaka Amaziya. Bakabaka ba Yuda abo bombi baakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, naye ye Asa yabikola n’omutima gwe gwonna. (2 Byom. 15:16, 17; 25:1, 2; Nge. 17:3) Bakabaka abo bombi baali tebatuukiridde era baakolanga ensobi. Naye okutwalira awamu, Asa teyava mu makubo ga Yakuwa, kubanga yaweereza Katonda ‘n’omutima gwe gwonna.’ (1 Byom. 28:9) Kyokka ye Amaziya teyaweereza Yakuwa na mutima gwe gwonna. Amaziya bwe yakomawo ng’ava okuwangula abalabe ba Katonda, yaleeta bakatonda ab’obulimba n’atandika okubasinza.2 Byom. 25:11-16.

3 Okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kitegeeza okumwemalirako obulamu bwaffe bwonna. Emirundi mingi mu Bayibuli ekigambo “omutima” kikozesebwa okutegeeza ekyo omuntu ky’ali munda. Kizingiramu ebyo omuntu by’ayagala, by’alowooza, n’ebiruubirirwa bye. Omuntu aweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna taba munnanfuusi. Taweereza Yakuwa lwa kutuusa butuusa mukolo. N’olwekyo, wadde nga tetutuukiridde, singa tweyongera okwemalira ku Yakuwa nga tetuliimu bunnanfuusi bwonna, tuba tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna.2 Byom. 19:9.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Okusobola okutegeera kye kitegeeza okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, ka tulabe ebikwata ku Asa ne bakabaka abalala basatu aba Yuda—Yekosafaati, Keezeekiya, ne Yosiya. Bakabaka abo bonna baakola ensobi naye baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Lwaki Katonda yakitwala nti bakabaka abo baamuweereza n’omutima gwabwe gwonna, era tuyinza tutya okubakoppa?

ASA YAWEEREZA YAKUWA “N’OMUTIMA GWE GWONNA”

5. Biki Asa bye yakola?

5 Asa ye yali kabaka wa Yuda ow’okusatu oluvannyuma lw’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi okwekutula ku Yuda. Yasaanyawo okusinza ebifaananyi mu bwakabaka bwe era n’agoba ne bamalaaya abasajja mu yeekaalu. Era yagoba Maaka jjajjaawe omukazi “ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyesisiwaza.” (1 Bassek. 15:11-13) Ate era Asa yakubiriza abantu “okunoonya Yakuwa . . . n’okukwata Amateeka n’ebiragiro.” Asa yakola kyonna ekisoboka okuyamba abalala okusinza Yakuwa.2 Byom. 14:4.

6. Kiki Asa kye yakola ng’Abeesiyopiya balumbye ensi ye?

6 Yakuwa yawa Yuda emirembe mu myaka ekkumi egyasooka egy’obufuzi bwa Asa. Oluvannyuma Zeera Omwesiyopiya yalumba Yuda ng’alina abasirikale 1,000,000 n’amagaali 300. (2 Byom. 14:1, 6, 9, 10) Kiki Asa kye yakola? Yeesiga Yakuwa. (Soma 2 Ebyomumirembe 14:11.) Yakuwa yaddamu essaala ya Asa n’amuyamba okuwangula Abeesiyopiya n’asaanyaawo eggye lyabwe. (2 Byom. 14:12, 13) Ebiseera ebimu, bakabaka ne bwe bataabanga beesigwa eri Yakuwa, Yakuwa yayambanga Abayisirayiri okuwangula abalabe baabwe olw’erinnya lye. (1 Bassek. 20:13, 26-30) Naye ku mulundi guno Yakuwa yayamba abantu be olw’okuba Asa yamwesiga. Yakuwa yaddamu okusaba kwa Asa n’amuyamba okuwangula olutalo olwo. Kyo kituufu nti oluvannyuma Asa alina bye yakola ebitaasanyusa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lumu mu kifo ky’okwesiga Yakuwa amuyambe, yeesiga kabaka wa Busuuli. (1 Bassek. 15:16-22) Naye okutwalira awamu Katonda yakitwala nti Asa yamuweereza “n’omutima gwe gwonna.” Tuyinza tutya okukoppa Asa?1 Bassek. 15:14.

7, 8. Oyinza otya okukoppa Asa?

7 Buli omu ku ffe asaanidde okwekebera okulaba obanga omutima gwe gwemalidde ku Katonda. Weebuuze, ‘Ndi mumalirivu okusanyusa Yakuwa, okulwanirira okusinza okw’amazima, n’okukuuma abantu be baleme kwonoonebwa bikolwa bibi?’ Lowooza ku buvumu Asa bwe yayoleka okusobola okugoba jjajjaawe Maaka ku bwa “nnamasole.” Oboolyawo tolina muntu yenna gw’omanyi eyeeyisa nga Maaka, naye waliwo embeera mw’oyinza okwetaagira okukoppa Asa. Ng’ekyokulabirako, watya singa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo akola ekibi eky’amaanyi era n’agaana okwenenya n’agobebwa mu kibiina? Onooba mumalirivu okulekera awo okukolagana n’omuntu oyo? Kiki omutima gwo kye gunaakukubiriza okukola?

8 Okufaananako Asa, naawe osobola okukyoleka nti oweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna ng’omwesiga, ne mbeera enzibu ennyo. Ng’ekyokulabirako, banno ku ssomero bayinza okukusekerera oba okukuyisa obubi olw’okuba oli Mujulirwa wa Yakuwa. Oba banno ku mulimu bayinza okukuvuma olw’okubaako ennaku z’osaba okusobola okwenyigira mu bintu eby’omwoyo oba olw’obutakola kusukka ssaawa za kunnyukirako. Mu mbeera ng’eyo, osaanidde okusaba Yakuwa nga Asa bwe yakola. Weesige Yakuwa onywerere ku ekyo ky’omanyi nti kye kituufu. Nga Yakuwa bwe yayamba Asa n’amuwa obuvumu, naawe ajja kukuyamba.

9. Tuyinza tutya okulaga nti tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna nga tubuulira?

9 Abaweereza ba Yakuwa tebeerowoozaako bokka. Asa yakola kyonna ekisoboka okuyamba abalala okusinza Yakuwa. Naffe tusaanidde okuyamba abalala “okunoonya Yakuwa.” Yakuwa kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tukola kyonna ekisoboka okubuulira abalala ebimukwatako olw’okuba tumwagala era olw’okuba twagala abalala bafune obulamu obutaggwaawo.

YEKOSAFAATI YANOONYA YAKUWA

10, 11. Oyinza otya okukoppa Yekosafaati?

10 Yekosafaati mutabani wa Asa “yatambulira mu kkubo lya Asa kitaawe.” (2 Byom. 20:31, 32) Mu ngeri ki? Okufaananako kitaawe, Yekosafaati yakubiriza abantu okunoonya Yakuwa. Yatuma abasajja mu bibuga bya Yuda okuyigiriza abantu nga bakozesa “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa.” (2 Byom. 17:7-10) Yagenda ne mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ‘okukomyawo abantu eri Yakuwa.’ (2 Byom. 19:4) Yekosafaati ‘yanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.’2 Byom. 22:9.

11 Ffenna tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Yakuwa gw’akola leero. Buli mwezi ofuba okuyigiriza abantu Ekigambo kya Katonda, basobole okutandika okuweereza Yakuwa? Bw’ofuba okukola bw’otyo Yakuwa ajja kukuwa emikisa osobole okufuna b’oyigiriza Bayibuli. Olina ekiruubirirwa ekyo era osaba Yakuwa akuyambe okukituukako? Oli mwetegefu okuyigiriza abantu Bayibuli ne bwe kiba nti ekyo kikwetaagisa okwefiiriza ebiseera ebimu eby’okuwummula? Nga Yekosafaati bwe yagenda mu kitundu kya Efulayimu okuyamba abantu okudda eri Yakuwa, naffe tusobola okunoonya abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo. Ate era abakadde mu kibiina basobola okufuba okukyalira n’okuyamba abantu abaagobebwa mu kibiina abali mu kitundu kyabwe abayinza okuba nga baalekayo ebikolwa byabwe ebibi.

12, 13. (a) Yekosafaati bwe yayolekagana n’embeera enzibu n’atya, kiki kye yakola? (b) Lwaki tusaanidde okukoppa Yekosafaati?

12 Okufaananako kitaawe Asa, Yekosafaati yeesiga Katonda ne bwe yali alumbiddwa eggye eddene ennyo. (Soma 2 Ebyomumirembe 20:2-4.) Yekosafaati yatya! Wadde kyali kityo, ‘yamalirira okunoonya Yakuwa.’ Yasaba Yakuwa n’amutegeeza nti ye n’abantu be baali ‘tebalina maanyi kwaŋŋanga kibiina ekyo ekinene’ era nti ye n’abantu be baali tebamanyi kya kukola. Yekosafaati yeesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna era n’amugamba nti: “Amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”2 Byom. 20:12.

13 Okufaananako Yekosafaati, naffe ebiseera ebimu tutya era tuba tetumanyi kya kukola. (2 Kol. 4:8, 9) Yekosafaati bwe yali mu mbeera ng’eyo, yasaba Yakuwa ng’abantu bonna bawulira n’amutegeeza engeri ye n’abantu be gye baali bawuliramu. (2 Byom. 20:5) Emitwe gy’amaka basobola okukoppa Yekosafaati nga basaba Yakuwa okubawa obulagirizi n’okubanyweza nga bafunye ebizibu. Tosaanidde kutya kweyabiza Yakuwa ng’ab’omu maka go bawulira. Ekyo kisobola okuyamba ab’omu maka go okukiraba nti weesiga Yakuwa. Yakuwa yayamba Yekosafaati era naawe ajja kukuyamba.

KEEZEEKIYA YEEYONGERA OKUKOLA EBIRUNGI

14, 15. Keezeekiya yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa?

14 Keezeekiya ye kabaka omulala owa Yuda ‘eyanywerera ku Yakuwa.’ Ekyo yakikola wadde nga kitaawe yassaawo ekyokulabirako ekibi era nga yasinzanga bifaananyi. Keezeekiya “yaggyawo ebifo ebigulumivu, n’amenyaamenya empagi ezisinzibwa, era n’atemaatema n’ekikondo ekisinzibwa. Yabetenta n’omusota ogw’ekikomo” Musa gwe yakola, mu kiseera ekyo abantu gwe baali batandise okusinza. Yeemalira ku Yakuwa kubanga “yeeyongera okukwata ebiragiro Yakuwa bye yawa Musa.”2 Bassek. 18:1-6.

15 Ne mu kiseera obwakabaka bwa Bwasuli, obwali obufuzi kirimaanyi, we bwalumbira Yuda, Keezeekiya yeesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Sennakeribu, kabaka wa Bwasuli yavuma Yakuwa era n’agezaako okutiisatiisa Keezeekiya yeeweeyo mu mikono gye. Wadde kyali kityo, Keezeekiya yasaba Yakuwa n’akiraga nti yali amwesiga nti ajja kulokola abantu be. (Soma Isaaya 37:15-20.) Katonda yaddamu essaala ye n’asindika malayika n’atta Abaasuli 185,000.Is. 37:36, 37.

16, 17. Oyinza otya okukoppa Keezeekiya?

16 Oluvannyuma Keezeekiya yalwala n’abulako katono okufa. Yasaba Yakuwa ajjukire engeri gye yali atambulidde mu maaso ge n’obwesigwa. (Soma 2 Bassekabaka 20:1-3.) Tukimanyi nti Ebyawandiikibwa biraga nti mu kiseera kino Katonda takyawonya bantu mu ngeri ya kyamagero oba okwongezaayo ekiseera ky’obulamu bwabwe. Wadde kiri kityo, okufaananako Keezeekiya, buli omu ku ffe asobola okusaba Yakuwa n’amugamba nti: “Ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna.” Okkiriza nti Yakuwa asobola okukulabirira ne bw’oba ng’oli mulwadde?Zab. 41:3.

17 Kiki ekirala kye tuyigira ku Keezeekiya? Oboolyawo wayinza okubaawo ekintu ekyagala okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa oba ekitumalako ebiseera bye twandimaze nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, leero abantu bangi bagulumiza abantu abatutumufu, kyenkana ne babatwala nga bakatonda. Bangi bamala ebiseera bingi nga basoma ebikwata ku bantu abo n’okutunuulira ebifaananyi by’abantu abo. Bangi bamala ebiseera bingi nga bawuliziganya n’abalala ku Intaneeti. Kyo kituufu nti tusobola okukozesa Intaneeti okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaffe oba ne mikwano gyaffe, naye bwe tuteegendereza tuyinza okwesanga nga tumalira ebiseera bingi ku Intaneeti. Ate era bwe tukiraba nti abantu bangi baagala okusoma oba okulaba ebyo bye tuteeka ku Intaneeti kiyinza okutuleetera amalala. Oba bwe tukitegeera nti abamu balekedde awo okwettanira ebyo bye tuteeka ku Intaneeti, kiyinza okutuleetera okunyiiga. Olowooza omutume Pawulo ne Akula ne Pulisikira baamalanga ebiseera bingi nga bagezaako okumanya ebikwata ku bantu ab’enjawulo, naddala abo abaali batasinza Yakuwa? Ebyawandiikibwa biraga nti Pawulo “yeemalira ku kubuulira ekigambo.” Ate Pulisikira ne Akula baakozesanga ebiseera byabwe ‘okunnyonnyola abalala ekkubo lya Katonda.’ (Bik. 18:4, 5, 26) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nneewala okugulumiza abantu abatutumufu? Nneewala okumalira ebiseera ebingi ku bintu ebitali bikulu?’Soma Abeefeso 5:15, 16.

YOSIYA YAKWATA AMATEEKA GA YAKUWA

18, 19. Oyinza otya okukoppa Yosiya?

18 Kabaka Yosiya, naye yakwata amateeka ga Yakuwa “n’omutima gwe gwonna.” (2 Byom. 34:31) Bwe yali ng’akyali mutiini, “yatandika okunoonya Katonda wa Dawudi,” era bwe yaweza emyaka 20, yatandika okusaanyaawo okusinza ebifaananyi mu Yuda. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:1-3.) Yosiya yafuba nnyo okukola Katonda by’ayagala okusinga bakabaka ba Yuda bangi. Wadde kyali kityo, ekitabo omwali Amateeka ga Musa bwe kyazuulibwa era ne kisomebwa mu maaso ge, Yosiya yakiraba nti yali yeetaaga okukola Katonda by’ayagala mu ngeri esingawo. Yakubiriza n’abalala okuweereza Yakuwa. N’ekyavaamu, mu nnaku ze zonna abantu “tebaalekera awo kugoberera Yakuwa.”2 Byom. 34:27, 33.

19 Okufaananako Yosiya, abaana basaanidde okutandika okunoonya Yakuwa okuviira ddala nga bakyali bato. Kabaka Manase, eyali yeenenyezza, ayinza okuba nga ye yayigiriza Yosiya ebikwata ku Katonda. Abaana, mufube okukola emikwano n’ab’eŋŋanda zammwe oba n’ab’oluganda mu kibiina abaweerezza Yakuwa n’obwesigwa era mubasabe bababuulire engeri Yakuwa gy’abayambyemu. Ate era okusoma Ebyawandiikibwa kyakwata nnyo ku Yosiya era ne kimukubiriza okubaako ky’akolawo. Mu ngeri y’emu, naawe bw’onoosoma Ekigambo kya Katonda kijja kukukubiriza okuba omumalirivu okuba omwesigwa eri Yakuwa era ekyo kijja kukuleetera essanyu, kikuyambe okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, era kikukubirize okuyamba abalala okunoonya Katonda. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:18, 19.) Okusoma Bayibuli era kisobola okukuyamba okulaba wa we weetaaga okulongoosaamu mu buweereza bwo eri Katonda. Bw’olaba we weetaaga okulongoosaamu, fuba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa nga Yosiya bwe yakola.

WEEREZA YAKUWA N’OMUTIMA GWO GWONNA!

20, 21. (a) Kiki bakabaka abana be tulabye kye bafaanaganya? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Biki bye tuyigidde ku bakabaka ba Yuda abana abaaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna? Abasajja abo baali bamalirivu okukola Katonda by’ayagala n’okumuweereza obulamu bwabwe bwonna. Abalabe ab’amaanyi bwe baabalumba, beesiganga Yakuwa okubayamba. N’ekisinga obukulu, baaweereza Yakuwa olw’okuba baali bamwagala.

21 Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, bakabaka abo abana balina ensobi ze baakola. Wadde kyali kityo, Yakuwa, Oyo akebera emitima, bwe yabakebera yakiraba nti baali bamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Wadde nga tetutuukiridde, naffe Yakuwa bw’atukebera akiraba nti tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna? Ensonga eyo tujja kwongera okugiraba mu kitundu ekiddako.