Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Okuyimba kwali kukulu kwenkana wa mu Isirayiri ey’edda?

OKUYIMBA kwali kukulu nnyo mu buwangwa bw’Abayisirayiri eb’edda. Emirungi mingi Bayibuli eyogera ku bantu abaakuba oba abaafuuwanga ebivuga, ne ku abo abaayimbanga. Mu butuufu, ennyimba zikola kimu kya kkumi eky’Ebyawandiikibwa. Ekitabo kya Zabbuli, Oluyimba lwa Sulemaani, ne Okukungubaga, nnyimba. Ekitabo ekiyitiba Music in Biblical Life kigamba nti, Bayibuli ekiraga bulungi nti “Abayisirayiri baayimbanga ennyimba mu bintu bingi bye baakolanga.”

Okuyimba mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Abayisirayiri baayimbanga okwoleka enneewulira yaabwe. (Is. 30:29) Abakazi baakubanga obugoma obutono ne bayimba era ne bazina, nga kabaka atuuzibwa ku ntebe, mu biseera by’embaga ezaabangawo mu kusinza kwabwe, ne mu biseera ng’amagye gawangudde. (Balam. 11:34; 1 Sam. 18:​6, 7; 1 Bassek. 1:​39, 40) Ate era Abayisirayiri baayimbanga ennyimba ez’okukungubaga. (2 Byom. 35:25) Enkuluze emu eyawandiikibwa McClintock ne Strong egamba nti, “tewali kubuusabuusa nti Abebbulaniya baali baagala nnyo okuyimba.”

Okuyimba mu lubiri. Bakabaka ba Isirayiri baayagalanga nnyo okuyimba. Kabaka Sawulo yaleeta Dawudi mu lubiri lwe okumuyimbiranga. (1 Sam. 16:​18, 23) Oluvannyuma Dawudi naye bwe yafuuka Kabaka, yakola ebivuga, yayiiya ennyimba, era yateekateeka n’abayimbi ab’okuyimbiranga ku yeekaalu ya Yakuwa. (2 Byom. 7:6; Am. 6:5) Kabaka Sulemaani yalina abayimbi abasajja n’abakazi mu lubiri lwe.—Mub. 2:8.

Okuyimba mu kusinza. Okusingira ddala, Abayisirayiri baakozesanga ennyimba okusinza Yakuwa. Mu butuufu, waaliwo abayimbi 4,000 abaayimbiranga ku yeekaalu e Yerusaalemi. (1 Byom. 23:5) Baakubanga ebitaasa, ebivuga eby’enkoba, entongooli, era baafuuwanga n’amakondeere. (2 Byom. 5:12) Naye abayimbi abo abakugu si be bokka abaasinzanga Yakuwa nga bakozesa ennyimba. Abayisirayiri bangi baayimbanga Ennyimba ez’Okwambuka bwe baabanga bagenda ku mbaga eza buli mwaka mu Yerusaalemi. (Zab. 120-134) Era okusinziira ku biwandiiko by’Abayudaaya, Abayisirayiri baayimbanga Zabbuli ezimu a mu kiseera ky’Embaga ey’Okuyitako.

Ne leero, okuyimba kikyali kikulu nnyo eri abantu ba Katonda. (Yak. 5:13) Okuyimba kitundu kya kusinza kwaffe. (Bef. 5:19) Ennyimba zituyamba okubeera obumu ne bakkiriza bannaffe. (Bak. 3:16) Ate era zituzzaamu amaanyi bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. (Bik. 16:25) Okuyimba ngeri nkulu nnyo ey’okwoleka okukkiriza kwaffe n’okwagala kwe tulina eri Yakuwa.

a Abayudaaya baayimbanga Zabbuli 113 okutuuka ku 118 okutendereza Yakuwa.