Ffenna Tulina Okusalawo ku Kituufu n’Ekikyamu
Singa oyagala okugenda mu kifo gy’otagendangako, kiki kye wandikoze?
1. Okwata ekkubo ly’osuubira nti linaakutuusa.
2. Ogoberera abagenda, ng’osuubira nti bamanyi gy’ogenda.
3. Weebuuza ku mukwano gwo amanyi ekifo ekyo, oba okebera ku mmaapu oba GPS.
Singa tukozesa amagezi 1 oba 2 tuyinza okubaako we tutuuka, naye tuyinza obutatuuka gye twagala kugenda. Kyokka bwe tulondawo amagezi 3, tuba bakakafu nti tujja kutuuka gye twagala okugenda.
Tulinga abali mu lugendo lwe tusuubira lujja kututuusa mu biseera eby’omu maaso ebirungi. Kyokka okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, kyesigamye nnyo ku wa gye tuggya obulagirizi nga tusalawo.
Wadde nga bingi ku ebyo bye tusalawo tebiba bya maanyi nnyo, ebimu biba bikulu nnyo. Engeri gye tusalawo ku bintu ebyo eraga emitindo gy’empisa kwe tutambulira n’endowooza gye tulina ku kituufu n’ekikyamu. Ate era engeri gye tusalawo ku bintu ebyo etukwatako kinnoomu, awamu n’ab’omu maka gaffe mu ngeri ennungi oba embi. Ebintu ebyo bizingiramu bino wammanga:
Okwegatta n’obufumbo
Obwesigwa, omulimu, ne ssente
Engeri y’okukuzaamu abaana
Engeri gye tukolaganamu n’abalala
Oyinza otya okuba omukakafu nti engeri gy’osalawo ku bintu ebyo enneekuviirako okuba omusanyufu awamu n’ab’omu maka go?
Buli omu asaanidde okwebuuza: Kiki ekinannyamba nga nsalawo?
Akatabo kano kalaga ensonga lwaki tusobola okwesiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kituufu n’ekikyamu era n’engeri gy’esobola okukuyamba ng’osalawo.