Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa

Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa

KATONDA yawa abantu ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga lino lye ddembe ery’okwesalirawo. Era awa omukisa abo bonna abafuba okukozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo okuwagira okusinza okw’amazima, okutukuza erinnya lye, n’okuwagira ekigendererwa kye. Yakuwa tayagala tumugondere lwa buwaze oba lwa kutuusa butuusa luwalo. Mu kifo ky’ekyo, ayagala tumugondere olw’okuba tumwagala era olw’okuba tusiima ebyo by’atukolera.

Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali mu ddungu lya Sinaayi, Yakuwa yabalagira okuzimba ekifo aw’okumusinziza. Yabagamba nti: “Ku bye mulina, mubeeko kye muwaayo eri Yakuwa. Buli alina omutima ogwagala aleete eky’okuwaayo eri Yakuwa.” (Kuv. 35:5, NW) Buli Muisiraeri yalina okuwaayo okusinziira ku busobozi bwe, era buli kintu omuntu kye yawaayo kyeyagalire, ka kibe ki oba nga kyenkana wa, kyalina okukozesebwa nga Katonda bwe yali ayagala. Kiki Abaisiraeri kye baakola?

“Buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza” era “buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa” yawaayo n’omutima ogutawalirizibwa. Abasajja n’abakazi baawaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gwa Yakuwa. Baawaayo amapeesa, eby’oku matu, empeta, zzaabu, ffeeza, ekikomo, kaniki, engoye ez’effulungu, engoye emmyufu, bafuta ennungi, ebyoya by’embuzi, amaliba g’endiga amannyike amamyufu, amaliba g’eŋŋonge, omuti gwa sita, amayinja ag’omuwendo, eby’akaloosa, n’amafuta. Mu butuufu, ebintu bye baawaayo byali bimalira ddala omulimu gwonna ogwali gulina okukolebwa, era nga bingi n’okusinga ebyali byetaagisa.—Kuv. 35:21-24, 27-29; 36:7.

Ekintu ekyasinga okusanyusa Yakuwa, si bye bintu abantu bye baawaayo okuwagira okusinza okw’amazima, wabula kwe kuba nti ekyo baakikola n’omwoyo ogutawalirizibwa. Era abantu baawaayo ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe. Bayibuli egamba nti ‘abakazi bonna abaalina emitima egy’amagezi baalanga’ ebintu n’emikono gyabwe. Mu butuufu, ‘abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi baalanga ebyoya by’embuzi.’ Ate era, Yakuwa yawa Bezaaleeri ‘amagezi, okutegeera, n’okumanya’ okukola emirimu egy’emikono egya buli ngeri. Mu butuufu, Katonda yawa Bezaaleeri ne Okoliyaabu obusobozi okukola emirimu gyonna gye yali ayagala gikolebwe.—Kuv. 35:25, 26, 30-35.

Yakuwa bwe yagamba Abaisiraeri okuwaayo, yali mukakafu nti buli muntu eyalina omutima ogutawalirizibwa yandibaddeko ky’awaayo okuwagira okusinza okw’amazima. Mu butuufu, Yakuwa yawa abantu ng’abo obulagirizi n’emikisa mingi. Bwe kityo, Yakuwa yakiraga nti abaweereza be bwe baba n’omutima ogutawalirizibwa, abawa ebyo byonna bye beetaaga okukola ebyo by’ayagala era abawa n’obusobozi okubikola. (Zab. 34:9) N’olwekyo, bw’oweereza Yakuwa n’omutima ogutawalirizibwa, ba mukakafu nti ajja kukuwa emikisa mingi.