“Baakolanga Emirimu gy’Awaka”
Obulamu era n’Ebiseera by’abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasoooka
“Baakolanga Emirimu gy’Awaka”
“Awo bwe baali bagenda n’ayingira mu kyalo ekimu. Ng’ali eyo, omukyala omu ayitibwa Maliza n’amukyaza mu nnyumba ye. Omukyala ono yalina muganda we ayitibwa Maliyamu eyatuula okumpi n’ebigere bya Mukama waffe n’awuliriza ekigambo kye. Kyokka Maliza yali awuguliddwa olw’eby’okukola ebingi. N’agenda awali Yesu n’agamba nti: ‘Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.’ Mukama waffe n’amuddamu nti: ‘Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana olw’ebintu ebingi. Ebintu bitono bye byetaagisa oba kimu. Maliyamu ye alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.’”—LUKKA 10:38-42.
AWATALI kubuusabuusa, Maliza yali mukazi mukozi. Eyo y’ensonga lwaki abalala baamussangamu nnyo ekitiibwa. Okusinziira ku mpisa y’Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka, omukyala ow’omuwendo yabanga munyiikivu ng’akola emirimu gy’awaka n’okulabirira ab’omu maka ge.
Abakyala Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo baakubirizibwa ‘okukolanga emirimu gy’awaka.’ (Tito 2:5) Naye era baalina enkizo n’obuvunaanyizibwa obulala obw’okuyigiriza abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe ey’Ekikristaayo. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa ) Ebimu ku ‘by’okukola ebingi’ omukyala Omuyudaaya ow’omu kyasa ekyasooka bye yalina bye biruwa? Era kiki kye tusobola okuyigira ku ebyo Yesu bye yayogera ku Maliyamu? 2:18
‘Okuba n’Eby’Okukola Ebingi’ Omukyala Omuyudaaya yakeeranga nnyo, oboolyawo nga n’enjuba tennavaayo. (Engero 31:15) Bwe yabanga amaze okufumbira ab’omu maka ge obuugi, yawerekerangako batabani be ku ssomero gye baayigirizibwaga eddiini. Bawala be bo baasigalanga waka okusobola okuyigirizibwa emirimu abakyala gye balina okukola.
Maama ne bawala be bwe baazuukukanga baatandikiranga ku mirimu gy’awaka egisinga obukulu—okuteeka amafuta mu ttaala (1), okwera mu nnyumba (2), era n’okukama embuzi (3). Oluvannyuma, baakolanga emigaati egy’okulya ku lunaku olwo. Abawala baakuŋŋuntanga eŋŋaano (4) era baakozesanga olubengo okusa eŋŋaano (5). Maama yaddiranga eŋŋaano n’agiteekamu amazzi n’ekizimbulukusa. Yagikandanga (6) era n’agireka okuzimbulukuka ng’eno bw’akola emirimu emirala. Mu kiseera ekyo, abawala babaanga bakola bbongo okuva mu mata g’embuzi (7).
Nga bamaze okukola ebyo mu budde obw’oku makya, oluusi maama ne bawala be baagendanga mu katale. Nga batuuse eyo, maama yawunyirwanga obuwoowo bw’ebirungo ebitali bimu, yawuliranga ebisolo nga bikaaba, oluyoogaano lw’abaguzi n’abatunzi b’ebintu, era yagulanga ebintu ebyakozesebwanga olunaku olwo (8). Mu ebyo mwabangamu enva endiirwa n’eby’ennyanja ebikalu. Bwe yabanga Omukristaayo, ayinza okuba nga yakozesanga akakisa ako okubuulira abo abaabeeranga mu katale ebikwata ku nzikiriza ye.—Ebikolwa 17:17.
Bwe baabanga bagenda mu katale era nga bakomawo eka, maama afaayo ku baana be yakozesanga akakisa ako okubayigiriza emisingi egiri mu Byawandiikibwa n’okugyagala. (Ekyamateeka 6:6, 7) Era ayinza okuba nga yakubaganyanga nabo ebirowoozo ku bintu ebyandibayambye okuyiga okukekkereza ssente.—Engero 31:14, 18.
Ekintu ekirala abakyala kye baakolanga buli lunaku kwe kugenda ku luzzi (9). Nga batuuse ku luzzi baasenanga amazzi, oboolyawo nga banyumya n’abakyala abalala abaabanga bazze okukima amazzi. Nga bakomyewo awaka, maama ne bawala be baafumbanga emigaati. Okusooka, baakolanga emigaati mu ŋŋaano gye baabanga bakanze oluvannyuma ne bagiteeka mu kyoto ekifumba emigaati (10), ekyabeeranga ebweru. Baalabirizanga emigaati ng’eno bwe banyumya era nga bwe bawunyirwa akawoowo kaagyo.
Oluvannyuma baagendanga ku luzzi olwabanga okumpi okwoza engoye (11). Baazoozesanga ssabbuuni eyabanga akoleddwa mu bimera, oluvannyuma ne bazinyumunguza, ne bazikamula, era ne bazaanika ku miti oba ku njazi zisobole okukala.
Bwe baakomyangawo engoye awaka, maama ne bawala be bayinza okuba nga baagendanga waggulu ku kasolya akaseeteevu ak’ennyumba yaabwe okuddaabiriza (12) engoye ezaabanga ziyulise. Oluvannyuma, abawala oluusi baayigirizibwanga okuluka engoye (13). Nga bamaze ekyo, baatandikanga okufumba ekyeggulo (14). Baalinanga empisa ey’okwaniriza abagenyi, n’olwekyo baaliiranga wamu n’abagenyi emmere gye baabanga bateeseteese gamba ng’emigaati, enva endiirwa, bbongo, ebyennyanja ebikalu, n’amazzi agannyogoga.
Ku nkomerero y’olunaku ng’abaana beeteekateeka okugenda okwebaka, era nga tadooba ekoleezeddwa, abazadde bayinza okuba nga baasiiganga amafuta ku biwundu abaana bye baabanga bafunye ku lunaku olwo. Era bayinza okuba nga baabanyumizanga engero okuva mu Byawandiikibwa era ne basabira wamu nabo. Ng’emirimu gyonna giwedde, omwami yabanga n’ensonga kw’asinziira okugamba mukyala we ebigambo bino ebimanyiddwa obulungi: “Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.”—Engero 31:10.
Okulonda “Ekisinga Obulungi” Awatali kubuusabuusa, abakazi abeegendereza ab’omu kyasa ekyasooka baabanga ‘n’eby’okukola bingi.’ (Lukka 10:40) Ne leero, abakazi, okusingira ddala ba maama, balina eby’okukola bingi. Tekinologiya aliwo mu kiseera kino ayambyeko mu kwanguya emirimu egimu egy’awaka. Wadde kiri kityo, ba maama bangi embeera zibawalirizza si kulabirira ba mu maka gaabwe kyokka naye era n’okukola emirimu egitali gya waka egivaamu ssente.
Wadde nga boolekagana n’ebizibu, leero abakyala bangi Abakristaayo bagoberera ekyokulabirako kya Maliyamu eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino. Bafaayo nnyo ku bikwata ku Katonda. (Matayo 5:3) Balabirira bulungi ab’omu maka gaabwe ng’Ebyawandiikibwa bwe bibakubiriza okukola. (Engero 31:11-31) Naye era bagoberera ebigambo Yesu bye yagamba Maliza. Ng’omukyala eyali atwala enkolagana ye ne Katonda nga nkulu, ateekwa okuba nga yakolera ku kubuulirira okwamuweebwa. Abakyala Abakristaayo tebakkiriza buvunaanyizibwa bwabwe bwe balina mu maka okubalemesa okuyiga ebikwata ku Katonda (15) oba okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe. (Matayo 24:14; Abebbulaniya 10:24, 25) Bwe bakola bwe batyo baba balonze “ekisinga obukulu.” (Lukka 10:42) N’ekivaamu, basiimibwa nnyo Katonda, Yesu, n’ab’omu maka gaabwe.—Engero 18:22.