Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyigiriza Abaana Bo Okuba Abantu ab’Obuvunaanyizibwa

Okuyigiriza Abaana Bo Okuba Abantu ab’Obuvunaanyizibwa

Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka

Okuyigiriza Abaana Bo Okuba Abantu ab’Obuvunaanyizibwa

George: * “Buli lunaku akawungeezi mutabani wange Michael ow’emyaka ena yakolanga ekintu kye kimu. Yalekanga asaasaanyizza mu nnyumba yonna ebintu bye by’azannyisa. Bwe nnamugambangako okubiggyawo nga tannagenda kwebaka, ng’anyiiga, ng’aleekaana, era ng’akaaba. Emirundi egimu yannyiizanga ne mmuboggolera, naye ekyo kyatuleeteranga ffembi okuwulira obubi. Nnayagalanga agende okwebaka nga musanyufu. N’olwekyo nnalekera awo okumugamba okuggyawo ebintu bye by’azannyisa, nze ne mbyeggirangawo.”

Emily: “Obuzibu bwajjawo muwala wange Jenny ow’emyaka 13 bwe yalemererwa okutegeera omusomesa we kye yali amugambye okukola. Jenny yakaaba okumala essaawa nnamba ng’akomyewo awaka okuva ku ssomero. Nnamukubiriza asabe omusomesa we amuyambe, naye Jenny yagaana ng’agamba nti omusomesa we mukambwe, era nti atya okwogera naye. Nnayagala ŋŋende ku ssomero nnyombese omusomesa oyo, nga mpulira nti teri muntu asaanidde kunyiiza mwana wange!”

NAAWE otera okuba n’endowooza ng’eya George ne Emily? Okufaananako abazadde abo, bangi bawulira bubi bwe balaba omwana waabwe ng’alina ekizibu oba nga si musanyufu, era baba baagala babeeko kye bakola okumuyamba. Kya bulijjo abazadde okuba nga baagala okukuuma abaana baabwe baleme kufuna bizibu. Wadde kiri kityo, embeera ezoogeddwako waggulu zaali ziwa abazadde abo akakisa okuyigiriza abaana baabwe okuba abantu ab’obuvunaanyizibwa. Kyo kituufu nti engeri gy’oyigirizaamu omwana ow’emyaka 4 si ye ngeri gy’oyigirizaamu owe 13.

Ekituufu kiri nti, tojja kubeeranga na mwana wo obulamu bwe bwonna osobole okumukuuma aleme kufuna bizibu. Ekiseera kijja kutuuka omwana ave ku kitaawe ne nnyina era ‘yeetikke omugugu gwe’ ogw’obuvunaanyizibwa. (Abaggalatiya 6:5; Olubereberye 2:24) Abaana okusobola okuyiga okwerabirira, abazadde basaanidde okubatendeka, bwe batyo bafuuke abantu ab’obuvunaanyizibwa era abafaayo ku balala. Kyokka ekyo si kyangu!

Naye ekirungi kiri nti abazadde basobola okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu ngeri gye yayisangamu abayigirizwa be era n’engeri gye yabayigirizangamu. Yesu teyali muzadde, naye ekiruubirirwa kye yalina ng’alonda era ng’atendeka abayigirizwa be kyali okubasobozesa okweyongera okukola omulimu gwe yali atandise, ne bwe yandibadde ng’avuddewo. (Matayo 28:19, 20) Ekyo Yesu kye yakola kye kiruubirirwa buli muzadde ky’ayagala okutuukako ng’ayigiriza abaana be okuba ab’obuvunaanyizibwa. Lowooza ku bintu bisatu Yesu bye yakola abazadde bye bayinza okumukoppako.

Abaana Bo ‘Bateerewo Ekyokulabirako’ Yesu bwe yali ng’anaatera okufa, yagamba abayigirizwa be nti: “Mbateereddewo ekyokulabirako, nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.” (Yokaana 13:15) Mu ngeri y’emu, abazadde basaanidde okuba ekyokulabirako ekirungi eri abaana baabwe era babannyonnyonyole bulungi bategeere kye kitegeeza okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa.

Weebuuze: ‘Ntera okwogera obulungi ku ky’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange? Njogera ku bumativu bwe nfuna mu kukola ennyo nga nnyamba abalala? Oba ntera okwemulugunya n’okwegeraageranya ku abo abalabika ng’abatalina bizibu?’

Kyo kituufu nti tewali muntu atuukiridde, era ffenna oluusi tuwulira nga tuzitoowereddwa. Naye ekyokulabirako ky’oteerawo abaana bo ye ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okubayambamu okulaba omugaso oguli mu kubeera omuntu ow’obuvunaanyizibwa.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bwe kiba kisoboka, oyinza okutwalako omwana wo gy’okolera omulage ky’okola okufuna ssente ezibayamba mu maka. Ng’oli wamu n’omwana wo, mubeeko kye mukola okuyamba omuntu ali mu bwetaavu, n’oluvannyuma mwogere ku ssanyu lye mufunye mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okuyamba omuntu oyo.​—Ebikolwa 20:35.

Manya Obusobozi Bwabwe we Bukoma Yesu yali akimanyi nti kyanditutte ekiseera abayigirizwa be okufuna obumanyirivu basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe yali agenda okubawa. Lumu yabagamba nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kaakano.” (Yokaana 16:12) Yesu teyayanguwa kubagamba kukola kintu kyonna bokka nga ye taliiko, wabula yamala ekiseera kiwanvu ng’abayigiriza ebintu bingi. Bwe yalaba nga basobola n’alyoka abatuma okugenda bokka.

Mu ngeri y’emu, si ky’amagezi abazadde okugamba abaana baabwe okukola ekintu kye batasobola. Wadde kiri kityo, abaana bwe bagenda bakula, abazadde basaanidde okubawa emirimu gye basobola okukola. Ng’ekyokulabirako, abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe okweyonja, okuyonja mu bisenge byabwe, okukwata ebiseera, n’okukozesa obulungi ssente. Omwana bw’atandika okusoma, abazadde basaanidde okumuyamba okutwala emisomo gye ng’obuvunaanyizibwa obukulu bw’alina okutuukiriza.

Abazadde tebalina kukoma ku kuwa buwi baana baabwe buvunaanyizibwa. Balina n’okubayamba basobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. George, eyayogeddwako ku ntandikwa, yamala n’akitegeera nti emu ku nsonga lwaki Michael yanyiiganga ng’amugambye okuggyawo ebintu bye yazannyisanga yali nti ekyo kyamulabikiranga ng’ekintu ekizibu ennyo ky’atasobola. George agamba nti, “Mu kifo ky’okukambuwalira Michael nga mmugamba okuggyawo ebintu bye by’azannyisa, nnafuba okumuyigiriza engeri y’okukikolamu.”

Kiki kyennyini kye yakola? George agamba nti, “Ekisooka, nnateekawo ekiseera eky’okuggyawo ebintu bye yazannyisanga. Oluvannyuma, twakoleranga wamu ne Michael okuggyawo ebintu ebyo nga tutandikira ku ludda olumu olw’ekisenge ate ne tudda ku lulala. Omulimu ogwo nnagufuula akazannyo, nga mugamba tube ng’abali mu mpaka tulabe ani anaasooka okumalawo ebibye. Nga wayiseewo ekiseera kitono, Michael yakimanyiira nti yalina okubiggyangawo nga tannagenda kwebaka. Nnamusuubizanga nti bwe yandiyanguye okubiggyawo nga mmusomerayo olugero olulala lumu nga tanneebaka. Naye bw’ataayanguwanga, nga sirumusomera kubanga ekiseera kyabanga kiweddeyo.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Lowooza ku bintu buli omu ku baana bo by’asobola okukola okusobozesa buli kimu mu maka okutambula obulungi. Weebuuze, ‘Waliwo ebintu bye nkyakolera abaana bange ng’ate basobola okubyekolera?’ Bwe kiba bwe kityo, kolera wamu n’abaana bo okutuusa lw’onoolaba nti basobola okubikola bokka. Bagambe nti kyonna kye bakola kijja kuvaamu ekirungi oba ekibi, okusinziira ku ngeri gye baba bakikozeemu. Bwe batatuukiriza kye balina kukola, baleke boolekagane n’ebivaamu, naye bwe bakituukiriza bawe ky’oba obasuubizza okufuna.

Babuulire eky’Okukola ne Bwe Basaanidde Okukikola Olw’okuba yali musomesa mulungi, Yesu yali akimanyi nti okuyiga ekintu amangu olina okugezaako okukikola. Ng’ekyokulabirako, bwe yawulira nti abayigirizwa be batuuse okutandika okubuulira, yabasindika bagende “babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga na buli kifo gye yali agenda.” (Lukka 10:1) Kyokka, teyabaleka kukola nga bo bwe balowooza. Nga tannabasindika kugenda yasooka kubabuulira ebyo byennyini bye baalina okukola. (Lukka 10:2-12) Abayigirizwa bwe baakomawo ne babuulira Yesu bye baali bakoze, yabasiima era n’abagamba n’ebirala ebyabongera amaanyi. (Lukka 10:17-24) Yakiraga nti abalinamu obwesige era nti bye baali bakoze byali bimusanyusizza.

Abaana bo bwe babaako bye balina okutuukiriza ebibazibuwalidde ennyo, okola otya? Ofuba okubataliza ng’oggyawo ekyo ekiba kibakaluubiridde oba ekiba kibaleetedde okutya? Kyandiba ng’osooka kulowooza ku ngeri gy’oyinza ‘okutaasaamu’ omwana wo okuva mu kizibu ekyo oba ku ngeri ggwe kennyini gy’oyinza okukiggyawo.

Naye lowooza ku kino: Buli lw’oyanguwa “okutaasa” abaana bo mu ngeri emu oba endala, kiki ky’oba obalaga? Oba obalaga nti obalinamu obwesige era nti balina kye basobola okukola ku lwabwe? Oba obeera obalaga nti okyabatwala ng’abaana abato abatalina kye basobola kwekolera, era nga ggwe olina okubayamba mu buli kimu?

Ng’ekyokulabirako, Emily, eyayogeddwako ku ntandikwa, yakola ki okuyamba muwala we okuvvuunuka ekizibu kye yalina? Mu kifo ky’okuyingira mu nsonga, yasalawo okuleka Jenny kennyini agende ayogere n’omusomesa we. Emily ne Jenny baawandiika olukalala lw’ebibuuzo Jenny lwe yandigenze nalwo ku ssomero. Oluvannyuma, baakubaganya ebirowoozo ku kiseera ekyandibadde ekirungi okwogera n’omusomesa, era ne beegezaamu n’engeri Jenny gye yandyogeddemu n’omusomesa. Emily agamba nti, “Jenny yafuna obuvumu okwogera n’omusomesa we era omusomesa yamwebaza olw’ekyo kye yali akoze. Ekyo Jenny kye yakola kyansanyusa nnyo era naye kyamusanyusa.”

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Wandiika ekizibu omwana wo ky’ayolekagana nakyo mu kiseera kino, era bw’omala owandiike ky’oyinza okukola okumuyamba okuyita mu kizibu ekyo naye nga si ggwe akimugonjooledde. Ggwe n’omwana wo muyite mu ebyo ebisobola okumuyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo. Mutegeeze nti omulinamu obwesige nti asobola okwaŋŋanga ekizibu ekyo.

Bw’ogezaako okutaasa abaana bo buli lwe bagwa mu buzibu, oyinza okubalemesa okukulaakulanya obusobozi bw’okwaŋŋanga ebizibu by’ensi eno. Mu kifo ky’ekyo, bayambe banywere ng’obayigiriza okukkiriza n’okwetikka obuvunaanyizibwa bwabwe. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba obawadde ekirabo eky’omuwendo ennyo.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.

WEEBUUZE . . .

▪ Mmanyi obusobozi bw’abaana bange we bukoma?

▪ Mbabuulira era ne mbalaga kye beetaaga okukola okusobola okutuuka ku buwanguzi?

▪ Ddi lwe nnasembayo okusiima omwana wange ng’aliko ky’akoze oba okumuzzaamu amaanyi?