Engeri y’Okuyigirizaamu Abaana Ebikwata ku Katonda—Ngeri Ki Ezisinga Okukola Obulungi?
Engeri y’Okuyigirizaamu Abaana Ebikwata ku Katonda—Ngeri Ki Ezisinga Okukola Obulungi?
“Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokonga.”—EKYAMATEEKA 6:6, 7.
OLUUSI abazadde bawulira nti kizibu nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana baabwe. Kyokka bwe banoonya ku magezi, amagezi amangi ge bafuna gayinza okubaleetera okubuzaabuzibwa. Emirundi egisinga obungi, ab’eŋŋanda n’ab’emikwano baba baagala nnyo okuwa amagezi. Ate era, ebitabo, ebitundu ebifulumira mu magazini, n’emikutu gya Intaneeti oluusi biwa abazadde amagezi mangi nnyo agakontana.
Ku luuyi olulala, yo Bayibuli tekoma ku kuwa buwi bazadde amagezi ageesigika agakwata ku ekyo kye basaanidde okuyigiriza abaana baabwe, naye era ebawa n’amagezi ag’omuganyulo ku ngeri y’okubayigirizaamu. Ng’ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ku ntandikwa bwe kiraga, abazadde beetaaga okufunayo engeri gye bayinza okwogerako n’abaana baabwe ku bikwata ku Katonda buli lunaku. Tugenda kwetegerezaayo amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli ga mirundi ena agayambye enkumi n’enkumi z’abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda.
1. Bayigirize ng’okozesa ebitonde. Omutume Pawulo yawandiika ng’agamba nti: ‘Engeri za Katonda ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa.’ (Abaruumi 1:20) Abazadde balina kinene nnyo kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okutwala Katonda nga wa ddala nga babayamba okutegeera n’okusiima ebintu Katonda bye yatonda awamu n’engeri ze ezeeyolekera mu bintu bye yatonda.
Yesu yakozesa enkola eno ng’ayigiriza abayigirizwa be. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “Mwetegereze ebinyonyi by’omu bbanga. Tebisiga, tebikungula era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temubisinga nnyo?” (Matayo 6:26) Ng’akozesa ekyokulabirako ekyo, Yesu yabayigiriza engeri za Yakuwa bbiri; okwagala n’ekisa. Naye, yakola ekisinga ku ekyo. Yayamba abayigirizwa be okutegeera engeri Katonda gy’ayolekamu engeri ezo eri abaana be.
Kabaka Sulemaani ow’amagezi yayogera ku magezi Katonda ge yawa enkolooto, era yakozesa ebitonde bino ebitono ennyo okuyigiriza ekintu ekikulu ennyo. Yawandiika ng’agamba nti: “Genda eri enkolooto ggwe omugayaavu; lowooza empisa zaayo obeerenga n’amagezi; eyo terina mwami, newakubadde omulabirizi newakubadde afuga, naye ne yeeterekera ebyayo eby’okulya mu biro eby’okukunguliramu, n’ekuŋŋaanya emmere Engero 6:6-8) Eyo nga ngeri nnungi nnyo ey’okuyigirizaamu omuganyulo oguli mu kweteerawo ebiruubirirwa ebirungi n’okukozesa amaanyi gaffe okusobola okubituukako!
yaayo mu mwaka.” (Abazadde basobola okuyigira ku ngeri Yesu ne Sulemaani gye baayigirizangamu, nga bakola ebintu bino wammanga: (1) Nga babuuza abaana baabwe ebimera n’ebisolo ebisinga okubasanyusa. (2) Nga bayigira wamu ng’amaka ebisingawo ebikwata ku bisolo n’ebimera ebyo. (3) Nga babayamba okutegeera ebitonde ebyo kye bibayigiriza ku Katonda n’engeri ze.
2. Beera n’endowooza Yesu gye yalina ku bantu be yayigirizanga. Ku bantu bonna abaali babaddewo, Yesu ye yalina ebintu ebisinga obukulu eby’okwogera. Wadde kyali kityo, yakozesa ebiseera bye bingi okubuuza ebibuuzo. Yayagalanga nnyo okumanya endowooza n’enneewulira z’abo be yayigirizanga. (Matayo 17:24, 25; Makko 8:27-29) Mu ngeri y’emu, abazadde balina ebintu ebikulu bingi eby’okuyigiriza abaana baabwe. Kyokka, okusobola okubayigiriza obulungi, balina okukoppa Yesu nga bakozesa ebibuuzo okukubiriza abaana baabwe okwogera ekibali ku mutima.
Watya singa abaana booleka endowooza enkyamu oba nga balwawo okutegeera ebimu ku ebyo by’obayigiriza? Lowooza ku ngeri Yesu gye yayisangamu abatume. Ebiseera ebimu baakaayananga bokka na bokka era baalwawo okuyiga emiganyulo egiri mu kuba abawombeefu. Wadde kyali kityo, Yesu yali mugumiikiriza era enfunda n’enfunda yabajjukizanga obukulu bw’okuba abawombeefu. (Makko 9:33, 34; Lukka 9:46-48; 22:24, 25) Abazadde abakoppa Yesu baba bagumiikiriza nga bawabula abaana baabwe, era bwe kiba kyetaagisa, baddiramu abaana ebyo bye baabayigiriza okutuusa nga babitegedde bulungi. *
3. Bayigirize ng’obateerawo ekyokulabirako. Kirungi abazadde okukolera ku kubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Abakristaayo ab’omu Rooma. Yabawandiikira ng’agamba nti: “Kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? Ggwe ayigiriza nti, “Tobbanga,” obba?”—Abaruumi 2:21.
Amagezi ago ga muganyulo kubanga abaana basinga kukwata ebyo bazadde baabwe bye bakola okusinga ebyo bye boogera. Mu butuufu, abazadde abakolera ku ebyo bye bayigiriza, abaana baabwe batera okukwata bye babayigiriza.
4. Tandikirawo ng’omwana akyali muwere. Timoseewo eyali akolera awamu n’omutume Pawulo mu mulimu gw’obuminsani yali ayogerwako bulungi mu kitundu gye yabeeranga. (Ebikolwa 16:1, 2) Emu ku nsonga eri nti “okuva mu buwere” yali yayigirizibwa “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” Maama wa Timoseewo ne jjajja we tebaakoma ku kumusomera busomezi Byawandiikibwa, naye era baamuyamba okutegeera amazima agali mu byawandiikibwa ebyo.—2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15.
W’Osobola Okufuna Obuyambi
Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo ebiwerako ebitegekeddwa okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe amazima agakwata ku Katonda. Ebitabo ebimu biwandiikibwa okusingira ddala nga bya kuyamba baana. Ebirala bisobola okuyamba abazadde okuba n’empuliziganya ennungi n’abaana baabwe abatiini. *
Kyo kituufu nti, ng’abazadde tebannatandika kuyigiriza baana baabwe ebikwata ku Katonda, beetaaga okumanya eby’okuddamu mu bimu ku bibuuzo ebizibu abaana bye bayinza okubuuza. Okugeza, oyinza kuddamu otya ebibuuzo nga bino: Lwaki Katonda aleka okubonaabona okubaawo? Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa? Abafu bali ludda wa? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo n’ebirala bingi kikusobozese ggwe n’ab’omu maka go okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Yakobo 4:8.
[Obugambo obuli wansi]
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okunyiikira okuyigiriza” mu Ekyamateeka 6:7 kirina amakulu ag’okuddiŋŋana ensonga.
^ Okusobola okuyamba abaana abato, abazadde basobola okukozesa ekitabo Learn From the Great Teacher, ekyogera ku njigiriza za Yesu Kristo, oba Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ekinnyonnyola eby’okuyiga okuva mu Bayibuli nga kikozesa ebigambo ebyangu okutegeera. Okusobola okuyamba abavubuka, abazadde basobola okukozesa obutabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1 ne 2, era ne Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Noovemba 15, 2010 olupapula 3-16.