OMUTWE OGULI KUNGULU: WANDITIDDE ENKOMERERO?
Enkomerero Ogitya?
Nga basinziira ku kalenda y’Abamaya, abantu bangi baali bagamba nti enkomerero y’ensi yandizze nga Ddesemba 21, 2012. Naawe ekyo kye wali osuubira? Oboolyawo okusinziira ku ekyo kye wali osuubira, wafuna obuweerero, waggwamu essuubi, oba tokyayagala na kuwulira bikwata ku nkomerero. Kati olwo tugambe nti ebyo byonna ebyogerwa ku nkomerero y’ensi si bituufu?
Ate byo Bayibuli by’eyogera ku ‘nkomerero’ bituufu? (Matayo 24:3) Abantu abamu batya nti ensi ejja kwokebwa. Abalala baagala nnyo okulaba ebinaabaawo ng’enkomerero etuuse. Ate bo abalala tebakyayagalira ddala kuwulira bikwata ku nkomerero. Abaffe, abantu baba batuufu okuba n’endowooza ng’ezo? Ekituufu kye kiruwa?
Byo Bayibuli by’eyogera ku nkomerero y’ensi biyinza okukwewuunyisa. Ng’oggyeko okutuwa ensonga kwe twandisinzidde okwesunga enkomerero, etulaga nti abamu bandiweddemu essuubi nga balowooza nti enkomerero eruddewo okutuuka. Kati ka twekkenneenye engeri Bayibuli gy’eddamu ebimu ku bibuuzo ebikwata ku nkomerero abantu bye batera okwebuuza.
Ensi eneeyokebwa?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: ‘Katonda yasimba emisingi gy’ensi, ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.’—ZABBULI 104:5.
Ensi tejja kwokebwa, oba okuzikirizibwa mu ngeri endala yonna. Bayibuli egamba nti Katonda yawa abantu ensi bagibeeremu emirembe gyonna. Zabbuli 37:29 wagamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 115:16; Isaaya 45:18.
Katonda bwe yamala okutonda ensi, yagiraba nga ‘nnungi nnyo,’ era n’okutuusa kati akyagitwala nti nnungi nnyo. (Olubereberye 1:31) Tajja kuzikiriza nsi, wabula ajja ‘kuzikiriza abo abagyonoona.’—Okubikkulirwa 11:18.
Naye ate oyinza okwebuuza nti ebigambo ebiri mu 2 Peetero 3:7 birina makulu ki? Olunyiriri olwo lugamba nti: “Eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro.” Ekyawandiikibwa ekyo tekitegeeza nti ensi ejja kwokebwa? Emirundi egimu, Bayibuli ekozesa ebigambo “omuliro,” “eggulu,” oba “ensi,” mu ngeri ey’akabonero. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 66:4 bwe wagamba nti: “Ensi yonna erikusinza,” ekigambo “ensi” kiba kitegeeza bantu.
Bwe weekenneenya ennyiriri eziriraanyewo, osobola okukiraba nti ebigambo eggulu, ensi, n’omuliro ebiri mu 2 Peetero 3:7 nabyo bikozesebwa mu ngeri ya kabonero. Olunyiriri 5 ne 6 zigeraageranya enkomerero ku mataba g’omu kiseera kya Nuuwa. Mu kiseera ekyo ensi ey’edda yazikirizibwa, naye ate yo ensi kwe tuli yasigalawo. Ekyo kitegeeza nti “ensi” eyazikirizibwa be bantu ababi abaaliwo mu kiseera ekyo. (Olubereberye 6:11) Ate lyo “eggulu” eryazikirizibwa be bafuzi abaaliwo mu kiseera ekyo. Bwe kityo nno, 2 Peetero 3:7 walaga nti abantu ababi ne gavumenti eziriwo bajja kuzikirizibwa basaanewo ng’ekintu ekyokeddwa omuliro.
Kiki ekinaabaawo ng’enkomerero ezze?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”—1 YOKAANA 2:17.
“Ensi” ejja okuggwaawo be bantu abatakola Katonda by’ayagala so si nsi eno kwe tuli. Ng’omulimi bw’akoola ennimiro ye ng’agiggyamu omuddo ebirime bisobole okukula obulungi, ne Katonda ensi agenda kugiggyamu abantu ababi abalungi basobole Zabbuli 37:9) N’olwekyo, kirungi “enkomerero” ejje.
okuba mu bulamu obweyagaza. (Enzivuunula za Bayibuli ezimu zikozesa ebigambo “amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,” oba “enkomerero y’omulembe guno.” (Matayo 24:3; New International Version) Okuva bwe kiri nti ku nkomerero waliwo abantu abajja okuwonawo era nga n’ensi ejja kusigalawo, kiba kitegeeza nti wajja kuddawo omulembe omuggya oba enteekateeka empya. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli eraga nti waliwo ‘enteekateeka y’ebintu egenda okujja.’—Lukka 18:30.
Yesu bwe yali ayogera ku kiseera ekyo, yagamba nti ‘ebintu byonna bijja kuzzibwa buggya.’ Mu kiseera ekyo, ensi ajja kugizza buggya abantu babeere mu mbeera ennungi Katonda gye yali ayagala babeemu mu kusooka. (Matayo 19:28) Mu kiseera ekyo:
-
Tujja kuba mu nsi omuli emirembe n’obutebenkevu.—Isaaya 35:1; Mikka 4:4.
-
Tujja kuba n’emirimu emirungi era egisanyusa.—Isaaya 65:21-23.
-
Tujja kuba tuwonyezeddwa buli ndwadde yonna gye tulina.—Isaaya 33:24.
-
Tujja kuba tetukyaddamu kukaddiwa.—Yobu 33:25.
-
Tujja kulaba abafu nga bazuukizibwa.—Yokaana 5:28, 29.
Bwe tuba tukola “Katonda by’ayagala,” tuba tetukyatya nkomerero, wabula tuba tugyesunga bwesunzi.
Ddala kituufu nti enkomerero eri kumpi?
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: “Bwe mulabanga ebintu bino nga bitandise okubaawo, mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” —LUKKA 21:31.
Mu kitabo kye ekiyitibwa The Last Days Are Here Again, Profesa Richard Kyle agamba nti “obutabanguko n’enkyukakyuka ezijjawo embagirawo bireetera abamu okugamba nti enkomerero eri kumpi.” Ekyo kibaawo naddala bwe balemwa okutegeera ekiba kiviiriddeko nkyukakyuka oba obutabanguko obwo.
Naye bo bannabbi abaawandiika ebikwata ku nkomerero tebaasinziira ku bintu ebyaliwo mu kiseera kyabwe, wabula Katonda ye yabaluŋŋamya okuwandiika ebintu ebyandibaddewo ng’enkomerero eneetera okutuuka. Weetegereze obumu ku bunnabbi buno, olabe obanga ddala butuukirira mu kiseera kyaffe.
- Entalo, enjala, musisi, n’endwadde ez’amaanyi.—
-
Okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.—Matayo 24:12.
-
Abantu okwonoona ensi.—Okubikkulirwa 11:18.
-
Abantu abeeyagala bokka, abaagala ennyo ssente, n’eby’amasanyu naye nga Katonda tebamwagala.—2 Timoseewo 3:2, 4.
-
Okusasika kw’amaka.—2 Timoseewo 3:2, 3.
-
Abantu obuteefiirayo ku ebyo ebiraga nti enkomerero eneetera okutuuka.—Matayo 24:37-39.
-
Amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda okubuulirwa mu nsi yonna.—Matayo 24:14.
Yesu yagamba nti bwe tulabanga “ebintu bino,” tumanye nti enkomerero y’ensi eneetera okutuuka. (Matayo 24:33) Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti ebiriwo biraga nti enkomerero eneetera okutuuka, era babuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu nsi 236.
Eky’okuba nti enkomerero tejjidde mu kiseera abantu kye babadde bagisuubiriramu kitegeeza nti tejja kujja?
BAYIBULI KY’EGAMBA: “Bwe baliba bagamba nti: ‘Mirembe n’obutebenkevu!’ olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubatuukako ng’okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto, era mu buli ngeri yonna tebaliwona.”—1 ABASSESSALONIIKA 5:3.
Bayibuli egeraageranya okuzikirizibwa kw’abantu ababi ku mukyala anaatera okuzaala; obulumi bw’afuna bujja mbagirawo. Ekiseera kye tulimu nakyo kisobola okugeraageranyizibwa ku mukyala ali olubuto. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, yeeyongera okulaba obubonero obulaga nti anaatera okuzaala. Omusawo ayinza okuteebereza olunaku omukyala oyo lw’anaazaalirako, kyokka ne bw’atazaalira ku lunaku olwo omusawo lwe yamugamba, aba mukakafu nti ajja kuzaala mu kiseera ekitali kya wala. Mu ngeri y’emu, wadde ng’enkomerero tejjidde mu kiseera abantu kye babadde bagisuubiriramu, ebiriwo biraga nti tuli mu ‘nnaku za luvannyuma.’—2 Timoseewo 3:1.
Oyinza okwebuuza nti, ‘Bwe kiba nti ebiriwo biraga nti enkomerero eneetera okutuuka, lwaki abantu bangi tebakikkiriza?’ Bayibuli eraga nti mu nnaku ez’oluvannyuma, abantu bangi bandirabye obukakafu obulaga nti enkomerero eneetera okutuuka naye ne batafaayo. Bandigambye nti: “Kasookedde bajjajjaffe bafa, 2 Peetero 3:3, 4) Kale nno, wadde nga ebiriwo biraga bulungi nti tuli mu nnaku za luvannyuma, bangi tebeefiirayo.—Matayo 24:38, 39.
ebintu byonna biri ddala nga bwe bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.” (Ekitundu kino kiraze ebimu ku bintu ebyayogerwako mu Bayibuli ebiriwo leero, ebiraga nti enkomerero eneetera okutuuka. * Wandyagadde okumanya ebisingawo? Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akuyigirize Bayibuli ku bwereere. Asobola okukuyigiririza mu maka go oba mu kifo ekirala w’oba oyagadde. Osobola n’okuyigira ku ssimu. Bw’onoowaayo obudde n’oyigirizibwa Bayibuli ojja kuganyulwa nnyo!
^ Okumanya ebisingawo, laba essuula 9 erina omutwe, “Ddala Tuli mu ‘Nnaku ez’Oluvannyuma’?,” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.