Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI ABANTU ABALUNGI BAFUNA EBIZIBU?

Ebizibu Byeyongedde Nnyo!

Ebizibu Byeyongedde Nnyo!

Smita, * ow’emyaka 35 eyali abeera mu kibuga Dhaka eky’omu Bangladesh, yali ayagala nnyo abantu abalala era ng’abafaako. Bangi baali bamumanyi ng’omukyala omusanyufu eyali ayigiriza abantu ebikwata ku Katonda. Smita yafuna obulwadde obw’amaanyi era mu wiiki emu yokka n’afa. Ekyo kyanakuwaza nnyo ab’omu maka ge ne mikwano gye.

James ne mukyala we nabo baali bantu balungi nga Smita. Lumu, baagenda okukyalirako mikwano gyabwe mu bugwanjuba bwa Amerika, naye tebaakomawo mu maka gaabwe agaali mu kibuga New York. Baagwa ku kabenje ne bafiirawo. Ab’eŋŋanda zaabwe ne bakozi bannaabwe baanakuwala nnyo.

Abantu bangi mu nsi yonna bafuna ebizibu ng’ebyo. Entalo ziviirako abantu ba bulijjo bangi n’abajaasi okufa. Obumenyi bw’amateeka buviiriddeko abantu bangi okubonaabona. Abato n’abakulu bafuna obubenje oba balwala endwadde ez’amaanyi. Obutyabaga butta abantu bangi era busaanyaawo ebintu bingi. Obusosoze n’obutali bwenkanya bweyongedde nnyo. Oboolyawo naawe ekimu ku bintu ebyo kyali kikutuuseeko.

Ebizibu ebyo bireetera abantu okwebuuza ebibuuzo nga bino:

  • Lwaki abantu abalungi bafuna ebizibu?

  • Katonda y’aleeta ebizibu?

  • Ebizibu bigwaawo bugwi oba bantu be babireeta?

  • Ebibi omuntu by’aba yakola bye bimuviirako okubonaabona?

  • Bwe kiba nti waliyo Katonda omuyinza w’ebintu byonna, lwaki takuuma abantu abalungi ne batafuna bizibu?

  • Ekiseera kirituuka ebikolwa ebibi n’okubonaabona ne biggwaawo?

Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, twetaaga okusooka okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebikulu ennyo: Lwaki abantu bonna bafuna ebizibu? Katonda anaabaako ky’akolawo okuggyawo ebizibu?

^ lup. 3 Amannya gakyusiddwa.