KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | YUSUFU
“Mbeegayiridde, Muwulire Ekirooto Kino”
YUSUFU yatunula e buvanjuba nga muli awulira nti singa kyali kisoboka yandidduse ku abo abaali bamutwala n’addayo ewa kitaawe e Kebbulooni. Yakobo kitaawe, yali talina ky’amanyi ku ebyo ebyali bituuse ku mutabani we gwe yali asinga okwagala. Yusufu yali tasuubira kuddamu kulaba ku kitaawe gwe yali ayagala ennyo. Abasuubuzi abaali bamuguze baali bamutunulako buli kiseera okukakasa nti tabatolokako. Omulenzi ono yali wa muwendo nnyo gye bali ng’ebyamaguzi bye baali batwala e Misiri, kubanga baali bagenda kumutunda ssente nnyingi.
Mu kiseera ekyo, Yusufu ayinza okuba nga yali wa myaka nga 17 egy’obukulu. Kuba akafaananyi nga Yusufu atunula emabega gye yali tayinza kudda era ng’alowooza ku engeri obulamu bwe gye bwali bukyuse embagirawo. Kiteekwa okuba nga kyamuzibuwalira okukkiriza nti baganda be bennyini be baamutunda okuba omuddu ate nga baali baagala na kumutta. Yusufu ateekwa okuba nga yakaaba amaziga. Yali tayinza kumanya bulamu bwe bwe bandibadde mu biseera eby’omu maaso.
Yusufu yatuuka atya mu mbeera eyo enzibu? Era biki bye tuyigira ku muvubuka oyo eyakyayibwa era eyayigganyizibwa baganda be bennyini?
YAKULIRA MU MAKA AGAALIMU EBIZIBU
Yusufu yazaalibwa mu maka agaalimu abantu abangi, naye nga si basanyufu era nga tebali bumu. Ebyo Bayibuli by’eyogera ku maka ga Yakobo bitulaga bulungi ebizibu ebiva mu kuwasa abakazi abasukka mu omu. Okumala ekiseera kiwanvu abaweereza ba Katonda abamu baawasanga abakazi abasukka mu omu, era Katonda n’akigumiikiriza okutuusa Omwana we lwe yazzaawo omutindo ogw’okuwasa omukazi omu ogwaliwo okuva ku lubereberye. (Matayo 19:4-6) Yakobo yazaala abaana abatakka wansi wa 14 mu bakazi bana. Yabazaala mu bakazi be ababiri, Leeya ne Laakeeri, ne mu bazaana baabwe ababiri, Zirupa ne Bira. Yakobo bwe yali tannawasa, yali ayagala nnyo Laakeeri muto wa Leeya. Kyokka Labbaani yamubuzaabuza n’amuwa Leeya oluvannyuma n’alyoka amuwa Laakeeri. Abakazi abo buli omu yali akwatirwa munne obuggya, era n’abaana baabwe nabo baali tebaagalana.
Laakeeri yali mugumba okumala ekiseera kiwanvu, era oluvannyuma bwe yazaala Yusufu, Yakobo Olubereberye 32:22-31) Oluvannyuma Yusufu yakitegeera nti batabani ba Isiraeri be bandivuddemu ebika eby’enjawulo eby’eggwanga lya Isiraeri.
yayagala nnyo omwana we oyo gwe baamuzaalira mu myaka gye egy’obukadde. Ng’ekyokulabirako, Yakobo n’ab’omu maka ge bonna bwe baali banaatera okusisinkana muganda we Esawu eyali ayagala okumutta, Yakobo yakulembezaamu abalala n’asembyayo Laakeeri ne Yusufu eyali akyali omuto. Yusufu ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo olw’ekyo kitaawe kye yakola. Kyokka, Yusufu alina okuba nga yali yeebuuza ensonga lwaki kitaawe yali awenyera ate nga yali akyalina amaanyi. Ateekwa okuba nga yeewuunya bwe yakimanya nti mu kiro ekyakeesa olunaku olwo, kitaawe yameggana ne malayika ow’amaanyi! Lwaki? Kubanga Yakobo yali ayagala Yakuwa Katonda amuwe omukisa. Katonda yawa Yakobo omukisa bwe yakyusa erinnya lye n’amutuuma Isiraeri. Eggwanga lyonna eryandivudde mu Yakobo lyandiyitiddwa Isiraeri! (Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, maama wa Yusufu yafa ng’azaala Benyamini era Yusufu yanakuwala nnyo. Yakobo naye yanakuwala nnyo olw’okufiirwa mukyala we gwe yali ayagala ennyo. Kuba akafaananyi nga Yakobo asangula amaziga mu maaso ga Yusufu nga bw’amugumya n’essuubi lye limu eryagumya Ibulayimu jjajjaawe. Yusufu ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yakimanya nti ekiseera kijja kutuuka Yakuwa Katonda azuukize nnyina. Ekyo kiteekwa okuba nga kyamuleetera okwongera okwagala Yakuwa ‘Katonda w’abalamu.’ (Lukka 20:38; Abebbulaniya 11:17-19) Wadde nga mukyala we Laakeeri yali amaze okufa, Yakobo yasigala ayagala nnyo batabani be ababiri Laakeeri be yamuzaalira.
Abaana bangi bwe baba baagalibwa nnyo awaka, bafuuka ba kyejo; naye ye Yusufu yali wa mpisa nnungi nga bazadde be. Yakulaakulanya okukkiriza okw’amaanyi era yayiga okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Lumu bwe yali alunda endiga ne baganda be abakulu nga wa myaka 17, waliwo ebintu ebibi bye yalaba nga bakola. Yandisirise busirisi asobole okubasanyusa? Bw’atyo si bwe yakola. Yabuulira kitaawe ebibi bye baali bakola kubanga yamanya nti bandiyambiddwa. (Olubereberye 37:2) Oboolyawo ekyo kye kyaviirako Yakobo okwagala ennyo Yusufu. Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo eri abavubuka Abakristaayo! Mu kifo ky’okuzibiikiriza muganda wo oba mukwano gwo ng’akoze ekibi eky’amaanyi, koppa Yusufu ng’obuulirako abo abasobola okuyamba oyo akoze ekibi.
Ate era waliwo bye tusobola okuyigira ku mbeera eyali mu maka ga Yakobo. Wadde nga mu maka Amakristaayo omusajja alina kuba na mukyala omu yekka, mu maka ng’ago oluusi mubaamu abaana abatagatta maama oba taata. Kye tuyigira ku mbeera eyaliwo mu maka ga Yakobo kiri nti okwagala ennyo abaana abamu okusinga abalala kireetawo
BAGANDA BE BATANDIKA OKUMUKYAWA
Yakobo yawa Yusufu ekirabo, oboolyawo olw’okuba Yusufu yali ayagala nnyo okukola ekituufu. Yamutungisiza ekyambalo ekiwanvu ekirabika obulungi. (Olubereberye 37:3) Abantu abamu bakiyita ekyambalo eky’amabala amangi, naye tewali bukakafu bulaga nti bwe kityo bwe kyali. Kirabika kyali kyambalo ekiwanvu era ekirabika obulungi. Kiyinza okuba nga kyali kifaananako ebyambalo abagagga oba abalangira bye baayambalanga.
Yakobo yawa mutabani we ekyambalo ekyo okumusiima, era ne Yusufu ateekwa okubanga yasanyuka nnyo olwa kitaawe okumwagala ennyo n’okumufaako. Naye ekyambalo ekyo kyali kigenda kumuleetera emitawaana. Kijjukire nti Yusufu yali musumba era ng’omulimu ogwo gwetaaga okukazana ennyo. Kuba akafaananyi nga Yusufu ayambadde olugoye olulungi bwe lutyo naye ng’atambulira mu nsiko, ayita ku njazi, oba ng’anoonya endiga eba ebulidde mu kisaka. Ng’oggyeeko ekyo, Yakobo okulaga mu lwatu nti yali asinga kwagala Yusufu, kyandiyisizza kitya batabani be abalala?
Bayibuli etuddamu ekibuuzo ekyo. Egamba nti: “Baganda be ne balaba nga kitaawe yamwagala okusinga baganda be bonna; ne bamukyawa, ne batayinza kwogera naye wabula eby’okuyomba.” * (Olubereberye 37:4) Oboolyawo baalina ensonga lwaki baakwatirwa muganda waabwe obuggya, naye ekyo tekyali kirungi. (Engero 14:30; 27:4) Wali owuliddeko ng’okwatiddwa obuggya olw’okuba omuntu omulala afunye enkizo gy’obadde oyagala? Bwe kiba bwe kityo, jjukira baganda ba Yusufu. Obuggya bwabwe bwabaleetera okukola ebintu ebibi ennyo bye bejjusa oluvannyuma. Ekyo kiraga nti kiba kya magezi ‘okusanyuka n’abo abasanyuka.’
Yusufu ateekwa okuba nga yali akiraba nti baganda be baali bamukwatirwa obuggya. Ekyo kyamuleetera okukweka olugoye lwe buli lwe yalabanga baganda be? Oboolyawo yayagalanga okulukweka. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakobo yali ayagala olugoye olwo lube akabonero akalaga nti yali ayagala nnyo Yusufu. Yusufu naye yali ayagala okulaga nti asiima ekyo kitaawe kye yamukolera, bwe kityo yayambalanga olugoye olwo. Ekyo kituyigiriza ki? Wadde nga Kitaffe ow’omu ggulu tasosola, mu baweereza be oluusi mubaamu b’aba ayagala ennyo. Ate era kituyigiriza nti ayagala abaweereza 1 Peetero 4:4) Nga Yusufu bw’ataakweka kyambalo kye, n’Abakristaayo ab’amazima tebasaanidde kukweka balala ekyo kye bali.
EBIROOTO BYA YUSUFU
Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Yusufu yaloota ebirooto bibiri ebyewuunyisa. Mu kirooto ekyasooka, Yusufu yalaba nga ye ne baganda be buli omu asiba ekinywa mu nnimiro. Naye ebinywa bya baganda be byetooloola ekikye ne bikivunnamira ng’ekikye kiyimiridde. Mu kirooto eky’okubiri, Yusufu yalaba ng’enjuba, omwezi, n’emmunyeenye 11 bimuvunnamira. (Olubereberye 37:6, 7, 9) Kiki Yusufu kye yandikoze oluvannyuma lw’okuloota ebirooto ebyo ebyali byewuunyisa?
Ebirooto ebyo byava eri Yakuwa Katonda. Byali biraga ekyali kigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso, era Katonda yali ayagala Yusufu abuulire Kitaawe ne baganda be ebirooto ebyo. Yusufu yalina okubuulira kitaawe ne baganda be obubaka obuva eri Katonda nga bannabbi abalala bonna bwe bandikoze.
Yusufu yatuukirira baganda be n’abagamba nti: “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose.” Bwe yakibabuulira, baganda be tekyabasanyusa n’akamu. Baamugamba nti: “[Ky’otegeeza] olitufuga ggwe?” Bayibuli eyongera n’egamba nti: “Ne beeyongera nate okumukyawa olw’ebirooto bye n’olw’ebigambo bye.” Yusufu bwe yabuulira kitaawe ne baganda be ekirooto eky’okubiri, nakyo tekyabasanyusa. Bayibuli egamba nti: “Kitaawe n’amunenya, n’amugamba nti Kirooto ki kino ky’oloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo . . . tulijja okukuvunnamira?” Naye Yakobo yeeyongera okulowooza ku bigambo ebyo. Kirabika yakitegeera nti Yakuwa ye yali alooseezza Yusufu?
Yusufu y’omu ku baweereza ba Katonda abaayogera obunnabbi obutaasanyusa bantu era obwabaviirako okukyayibwa n’okuyigganyizibwa. Yesu ye yasinga okukyayibwa olw’okubuulira abantu obubaka obuva eri Katonda, era yagamba abagoberezi be nti: “Oba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yokaana 15:20) Abakristaayo bonna balina bingi bye bayigira ku Yusufu eyalina okukkiriza okw’amaanyi era eyali omuvumu.
BAGANDA BE BAMUTUNDA
Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Yakobo yatuma Yusufu okugenda mu kitundu ekyali okumpi n’e Sekemu batabani be abakulu gye baali balundira endiga. Mu Sekemu waaliyo abalabe baabwe, era ng’omuzadde yenna bw’aba, Yakobo yali yeeraliikiridde olwa batabani be. N’olwekyo yatuma Yusufu agende alabe baganda be bwe bali. Teeberezaamu Yusufu bwe yawulira! Yali akimanyi nti baganda be baali beeyongedde okumukyawa. Kati ate bandiwulidde batya nga kitaabwe atumye Yusufu gye bali? Wadde kyali kityo, Yusufu yakkiriza n’agenda.
Lwali lugendo luwanvu ddala, era ayinza okuba nga yalutambulira ennaku nnya oba ttaano. Sekemu kyali kyesudde mayiro nga 50 e bukiikakkono wa Kebbulooni. Naye Yusufu bwe yatuuka e Sekemu, yakitegeerako nti baganda be baali bagenze Dosani, era nga yalina okutambula mayiro endala nga 14. Bwe yali anaatera okutuuka e Dosani, baganda be baamulengerera wala. Amangu ago obukyayi bwabwe ne bweyolekerawo. Bayibuli egamba nti: “Ne bagambagana nti Laba, sekalootera wuuyo ajja. Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti Ensolo enkambwe ye yamulya: ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.” Naye Lewubeeni yabagamba basuule Yusufu mu kinnya ng’akyali mulamu, ng’asuubira nti oluvannyuma yandimuggyeeyo.
Yusufu yali takimanyi nti baganda be baali baagala kumutta wabula yali asuubira nti bandimwanirizza. Kyokka bwe yabatuukako, baamukwata ne bamukuba ne bamwambulamu ekyambalo kye era ne bamusuula mu kinnya ekiwanvu kye yali tasobola kuvaamu. Ng’ali eyo wansi mu kinnya, yeegayirira baganda be bamuggyeyo naye ne bagaana. Nga tebalina nsonyi yadde, baatuula kumpi n’ekinnya *
Kino kituzzaayo we twatandikidde. Yusufu bwe yali atwalibwa e Misiri, yalabika ng’eyali afiiriddwa buli kimu, era ng’asigadde bw’omu! Yandimaze emyaka mingi nga tamanyi ngeri Lewubeeni gye yawuliramu bwe yasanga nga bamutunze; nga tamanyi ngeri kitaawe Yakobo gye yawuliramu nga bamulimbye nti omwana we gwe yali ayagala ennyo yali afudde; nga tamanyi bifa ku jjajjaawe Isaaka eyali akaddiye ennyo, era n’ebifa ku muto we Benyamini gwe yali ayagala ennyo. Naye ddala Yusufu yasigala talina kintu kyonna?
Waliwo ekintu Yusufu kye yalina baganda be kye baali batasobola kumuggyako. Yalina okukkiriza. Yusufu yali amanyi bingi ebikwata ku Katonda we Yakuwa, era tewali kyali kiyinza kumuggyako kukkiriza kwe; ka kube kuva mu maka mwe yakulira, kutambula lugendo oluwanvu ennyo nga bamutwala e Misiri, oba okutundibwa ng’omuddu mu maka g’omugagga Omumisiri eyali ayitibwa Potifaali. (Genesis 37:36) Ebizibu ebyo byonna Yusufu bye yayitamu byayongera okunyweza okukkiriza kwe n’enkolagana ye ne Katonda. Gye bujja, mu katabo kano mujja kufulumiramu ebitundu ebiraga engeri okukkiriza okwo gye kwayambamu Yusufu okuba ow’omugaso ennyo eri Yakuwa Katonda we, n’eri amaka ga kitaawe agaalimu ebizibu ebingi. Ka ffenna tufube okukoppa okukkiriza kwa Yusufu!
^ lup. 15 Abamu ku abo abanoonyereza ku bintu eby’edda bagamba nti Yakobo okuwa Yusufu ekirabo kyaleetera baganda be okulowooza nti yali agenda kumuwa omugabo ogwaweebwanga omwana omubereberye. Baali bakimanyi nti Yusufu ye mwana wa Laakeeri omubereberye, omukazi Yakobo gwe yali asinga okwagala era gwe yali agenda okusooka okuwasa. N’ekirala, Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye yali yeegatta n’omuzaana wa kitaawe. Ekyo kyaweebuula kitaawe era kyaviirako Lewubeeni okufiirwa omugabo ogwaweebwanga omwana omubereberye.
^ lup. 25 Bayibuli ntuufu ne bw’eba eyogera ku bintu ebirabika ng’ebitono ennyo. Ebiwandiiko ebirala eby’omu kiseera ekyo biraga nti e Misiri, okutwalira awamu abaddu baagulibwanga sekeri 20.