OMUNAALA GW'OMUKUUMI Noovemba 2014 | Ddala Sitaani Gyali?

Bwe kiba nti Sitaani taliiyo, abamutya bamutiira bwereere. Naye bwe kiba nti Sitaani gyali era nti aleetera abantu okukola ebintu ebibi, kiba kitegeeza nti wa bulabe nnyo n’okusinga abamu bwe balowooza.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Ddala Sitaani Gyali?

Sitaani ye ndowooza embi eba mu bantu oba kitonde kya mwoyo?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Sitaani Ye Ndowooza Embi Eba mu Bantu?

Ebyo Sitaani bye yayogera ne Yesu era ne Katonda bituyamba okutegeera ensonga eyo.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Twanditidde Sitaani?

Katonda atuyambye okumanya engeri y’okwewalamu enkwe za Sitaani.

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 2)

Obunnabbi obuli mu Bayibuli n’ekirooto Katonda kye yaloosa kabaka wa Babulooni bisonga ku mwaka gwennyini lwe bwatandika okufuga.

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

“Nnyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”

Yusufu yaziyiza atya ekikemo eky’okwegatta ne muka Potifaali?

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Eky’okuba nti Yesu yazuukiza abafu kitukakasa ki ku ebyo bye yasuubiza?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Ddala Katonda Yatonda Sitaani?

Sitaani yava wa? Laba ensonga lwaki Yesu yagamba nti Sitaani “teyanywerera mu mazima.”