Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Oyinza otya okuyigiriza abaana bo okwagala Katonda?
Abaana bo bwe baba ab’okwagala Katonda balina okukakasa nti Katonda gyali era nti abaagala. Ate era kibeetaagisa okuyiga ebimukwatako. (1 Yokaana 4:8) Ng’ekyokulabirako, beetaaga okuyiga ebintu nga bino: Lwaki Katonda yatonda abantu? Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Biki Katonda by’anaakolera abantu mu biseera eby’omu maaso?
Okusobola okuyamba abaana bo okwagala Katonda, naawe kennyini olina okukiraga nti omwagala. Bwe banaakiraba nti oyagala Katonda, bajja kukukoppa.
Oyinza otya okuyigiriza obulungi abaana bo?
Ekigambo kya Katonda kya maanyi. (Abebbulaniya 4:12) N’olwekyo, yamba abaana bo okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Okusobola okuyigiriza obulungi abantu, Yesu yababuuzanga ebibuuzo, yabawulirizanga, era yabannyonnyolanga Ebyawandiikibwa. Naawe okusobola okuyigiriza obulungi abaana bo, osaanidde okukoppa Yesu.
Ate era, ebyo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu bisobola okuyamba abaana okumanya Katonda n’okumwagala. Ebitabo ebisobola okukuyamba okuyigiriza abaana bo biri ku mukutu, www.mt1130.com/lg.