Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ekigambo “omulaawe” ekikozesebwa mu Bayibuli kirina makulu ki?

Ekifaananyi Ky’abasuuli Ekiraga Omulaawe

Oluusi ekigambo ekyo kitegeeza omusajja gwe baalaawa. Mu biseera by’edda, abasajja abamu abaawambibwanga, abaafuulibwanga abaddu, oba abaabanga babonerezebwa baalaayibwanga. Abalaawe abaabanga abeesigwa be baalabiriranga ennyumba y’abakazi mu lubiri lwa kabaka. Ng’ekyokulabirako, omulaawe eyali ayitibwa Kegayi n’oyo eyali ayitibwa Saasugazi be baali balabirira abakazi n’abazaana ba Kabaka Akaswero owa Buperusi era nga kigambibwa nti ye yali ayitibwa Zakisiisi I.Eseza 2:3, 14.

Wadde kiri kityo, si buli omu Bayibuli gw’eyita omulaawe, nti aba yalaayibwa. Abamu ku banoonyereza ku ebyo ebiri mu Bayibuli bagamba nti ekigambo “omulaawe” era kyakozesebwanga okutegeeza omukungu eyaweererezanga mu lubiri lwa kabaka. Kirabika eyo ye ngeri gye kyakozesebwanga ku Ebedumereki eyali mukwano gwa nnabbi Yeremiya, ne ku Mwesiyopiya, Firipo omubuulizi w’enjiri gwe yabuulira. Ebedumereki yalina ekifo kya waggulu nnyo kubanga yali asobola okutuukirira Kabaka Zeddekiya. (Yeremiya 38:7, 8) Ate ye Omwesiyopiya omulaawe yali muwanika wa kabaka era ‘yali agenze Yerusaalemi kusinza.’Ebikolwa 8:27.

Lwaki abasumba ab’edda baayawulanga endiga ku mbuzi?

Yesu bwe yali ayogera ku kiseera eky’okusaliramu omusango, yagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye, . . . alyawula abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi.” (Matayo 25:31, 32) Lwaki abasumba baayawulanga endiga ku mbuzi?

Emisana, endiga n’embuzi zaalundirwanga wamu era zaaliiranga wamu. Ekiro zaatwalibwanga mu biyumba byazo zireme kubbibwa, kuliibwa nsolo za mu nsiko, oba olw’obunnyogovu obwabanga ebweru. (Olubereberye 30:32, 33; 31:38-40) Zaateekebwanga mu bifo bya njawulo, kubanga embuzi zaatawaanyanga nnyo endiga okusingira ddala enkazi n’obwana bwazo. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa All Things in the Bible, omusumba era yayawulanga endiga ku mbuzi ng’agenda “okuziwakisa, okuzikama, oba okuzisalako ebyoya.” Olw’okuba Abaisiraeri baali balunzi, baali basobola okutegeera obulungi ekyokulabirako ekyo Yesu kye yakozesa.