KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | YUSUFU
“Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
YUSUFU ali mu kkomera. Kuba akafaananyi ng’attulukuka entuuyo oluvannyuma lw’okukola ennyo mu kkomera. Ekkomera lirimu ebbugumu lingi olw’akasana akangi akaaka e Misiri. Kirabika amanyi buli kimu ekiri mu kkomera eryo kubanga alimazeemu emyaka mingi. Wadde ng’assibwamu nnyo ekitiibwa mu kkomera eryo, akyali musibe.
Emirundi mingi Yusufu ateekwa okuba nga yajjukiranga obulamu bwe yalimu e Kebbulooni, ng’akyalunda endiga za kitaawe. Yalina emyaka nga 17 egy’obukulu kitaawe Yakobo we yamutumira eri baganda be. Eddembe lye yalina mu kiseera ekyo, kati lwali lufumo bufumo. Baganda be baamukwatirwa obuggya era baali baagala kumutta, naye oluvannyuma ne bamutunda okuba omuddu. Yatwalibwa e Misiri, era yasooka kuweereza mu maka g’omukungu Omumisiri ayitibwa Potifaali. Potifaali yali ayagala nnyo Yusufu, naye lumu muka Potifaali yawaayiriza Yusufu nti yali agezaako okumukwata, era ekyo kyaviirako Yusufu okusibibwa mu kkomera. *
Mu kiseera kino Yusufu yali aweza emyaka 28 egy’obukulu, era nga waali waakayita emyaka nga kkumi nga muddu era ng’ali mu kkomera. Ebintu byali tebimugendera nga bwe yali asuubira. Ekiseera kyandituuse n’ava mu kkomera? Yandizzeemu okulaba ku kitaawe eyali akaddiye oba ku muto we Benyamini gwe yali ayagala ennyo? Yandimaze bbanga ki mu kkomera?
Waliwo embeera yonna eyali ekuleeteddeko okuwulira nga Yusufu? Oluusi obulamu bwaffe tebuba nga bwe twali tusuubira nga tukyali bato. Tuyinza okumala ekiseera kiwanvu nga tuli mu mbeera enzibu era nga tetulaba ngeri ya kugivvuunukamu. Ka tulabe bye tuyinza okuyigira ku Yusufu eyalina okukkiriza okw’amaanyi.
“YAKUWA YEEYONGERA OKUBA AWAMU NE YUSUFU”
Yusufu yali akimanyi nti Yakuwa Katonda we tamwerabiranga. Ne mu kiseera ekyo nga Yusufu ali mu kkomera, Yakuwa yeeyongera okumuwa emikisa. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yeeyongera okuba awamu ne Yusufu n’amulaganga okwagala okutajjulukuka era n’amuleetera okusiimibwa mu maaso g’omukulu w’ekkomera.” (Olubereberye 39:21-23, NW) Olw’okuba Yusufu yali muwulize, Katonda yalina ensonga ennungi kw’asinziira okumuwa emikisa. Nga kiteekwa okuba nga kyamuzzangamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa yali wamu naye!
Tugambe nti Yakuwa yali ayagala Yusufu abeere mu kkomera eryo obulamu bwe bwonna? Yusufu yali tamanyi lunaku lwe yandivudde mu kkomera eryo, naye yeeyongera okusaba Katonda we. Nga bwe kitera okubeera, essaala ye yaddibwamu mu ngeri gye yali tasuubira. Lumu abasibe abalala babiri baleetebwa mu kkomera eryo
Omukulu w’ekkomera eryo yawa Yusufu obuvunaanyizibwa * Lumu bombi baaloota ebirooto ebyeraliikiriza, era enkeera Yusufu bwe yabalaba, yakitegeera nti waliwo ekikyamu. Yababuuza nti: ‘Kiki ekibanakuwazizza bwe kityo leero?’ (Olubereberye 40:3-7) Oboolyawo engeri ey’ekisa Yusufu gye yabayisangamu ye yabaleetera obutatya kumubuulira ekyali kibanakuwazizza. Yusufu yali tamanyi nti bye baali bagenda okumubuulira byali bigenda kuleetawo enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwe. Singa Yusufu talaga basajja abo ekisa, oboolyawo bandisirise busirisi. Oyinza okwebuuza nti, ‘Nange nfaayo ku bantu abalala?’
obw’okulabirira abakungu abo.Abasajja abo ababiri bannyonnyola Yusufu nti baali beeraliikirivu kubanga baali baloose ebirooto eby’entiisa, ate nga tewali yali asobola kubabuulira makulu gaabyo. Abamisiri baali bakkiririza nnyo mu birooto era nga beesiga nnyo abantu abaagambanga nti basobola okunnyonnyola amakulu gaabyo. Abasajja abo baali tebamanyi nti ebirooto byabwe byava eri Yakuwa, Katonda wa Yusufu. Naye ye Yusufu yali akimanyi. Yabagamba nti: “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? Mukimbuulire, mbeegayiridde.” (Olubereberye 40:8) Ebigambo bya Yusufu ebyo bikyali bikulu eri abo bonna abaagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Okusobola okutegeera ebiri mu Kigambo kya Katonda, ffenna kitwetaagisa okuba abawombeefu n’okwesiga Katonda.
Eyali akulira abaweereza Falaawo eby’okunywa ye yasooka okwogera. Yagamba Yusufu nti mu kirooto kye, yalaba omuzabbibu nga guliko amatabi asatu era amatabi ago ne gabalako ebirimba by’ezzabbibu. Ezzabbibu lyayengera era n’alikamulira mu kikopo kya Falaawo. Yakuwa Katonda yasobozesa Yusufu okutegeererawo amakulu g’ekirooto ekyo. Yannyonnyola oyo eyali akulira abaweereza Falaawo eby’okunywa nti amatabi asatu gaali gategeeza ennaku ssatu; mu nnaku ssatu, Falaawo yali agenda kumuzzaayo ku mulimu gwe. Oluvannyuma Yusufu yamusaba nti: ‘Onzijukiranga n’onjogerako eri Falaawo.’ Ate era Yusufu yamunnyonnyola nti yawambibwa mu nsi y’ewaabwe n’asibibwa mu kkomera ate nga talina musango gwe yazza.
Oyo eyali akulira abaweereza Falaawo emigaati yasanyuka bwe yawulira amawulire amalungi munne ge yali afunye, era naye yasaba Yusufu amubuulire amakulu g’ekirooto kye. Yaloota nga yeetisse ebibbo bisatu ebyalimu emigaati, era ng’ebinyonyi birya emigaati egyali mu kimu ku bibbo bye yali yeetisse. Katonda era yayamba Yusufu okumanya amakulu g’ekirooto ekyo, naye tegaali mawulire malungi. Yusufu yagamba nti: ‘Gano ge makulu gaakyo. Ebibbo ebisatu ze Olubereberye 40:16-19) Okufaananako abaweereza ba Katonda bonna abeesigwa, Yusufu teyatya kubabuulira bubaka bwonna Katonda bwe yali amuwadde, omwali amawulire amalungi n’obubaka obw’omusango.
Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, ebigambo bya Yusufu byatuukirira. Falaawo yakuza amazaalibwa ge, ekintu abaweereza ba Katonda kye bataakolanga, era ku lunaku olwo n’alagira abaweereza be ababiri ne baggibwa mu kkomera. Oyo eyali amufumbira emigaati yattibwa, naye oyo eyali amuweereza eby’okunywa n’azzibwa ku mulimu gwe nga Yusufu bwe yabagamba. Eky’ennaku, omusajja oyo teyajjukira Yusufu.
“SI NZE, NAYE KATONDA”
Waayitawo emyaka ebiri miramba. (Olubereberye 41:1) Teeberezaamu ngeri ekyo gye kyayisaamu Yusufu! Oboolyawo yali asuubira nti yandivudde mu kkomera amangu ddala olw’okuba Yakuwa yamusobozesa okunnyonnyola amakulu g’ebirooto by’abaweereza ba Falaawo ebyali ebizibu. Kirabika buli lunaku olwakyanga yasuubiranga nti lwe yandivudde mu kkomera, kyokka yalimalamu emyaka emirala ebiri. Emyaka egyo ebiri giteekwa okuba nga gyali mizibu nnyo eri Yusufu. Kyokka teyalekera awo kwesiga Yakuwa Katonda we. Mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira, yeeyongera okugumiikiriza n’asobola okuyita mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo.
Mu kiseera kino ekizibu ennyo, ffenna twetaaga okuba abagumiikiriza. Okusobola okugumira ebigezo bye tufuna mu bulamu, twetaaga okusaba Katonda atuyambe okuba abavumu, abagumiikiriza, era abakkakkamu. Katonda asobola okutuyamba okugumira ebizibu n’okusigala nga tulina essuubi, nga bwe yayamba Yusufu.
Omuweereza wa Falaawo yali yeerabidde Yusufu, naye ye Yakuwa teyeerabira Yusufu. Lumu Katonda yaloosa Falaawo ebirooto bibiri Falaawo bye yali tayinza kwerabira. Mu kirooto ekyasooka, Falaawo yalaba ente musanvu ezirabika obulungi era engevvu, nga ziva mu Mugga Kiyira, oluvannyuma n’alaba ente endala musanvu ezirabika obubi, era nga nkovvu. Ente enkovvu ne zirya ente engevvu. Mu kirooto eky’okubiri, Falaawo yalaba ebirimba musanvu eby’eŋŋaano ebirungi nga bimera ku kikolo kimu. Oluvannyuma n’alaba ebirimba ebirala musanvu ebiwotofu, era ebirimba ebyo ebiwotofu ne bimira ebirimba ebirungi. Enkeera Falaawo yazuukuka nga mweraliikirivu nnyo, n’ayita abasajja be bonna abagezigezi n’abalaguzi bamunnyonnyole amakulu g’ebirooto ebyo. Bonna baalemwa okumunnyonnyola. (Olubereberye 41:1-8) Tetumanyi oba bonna baasirika busirisi oba baamubuulira ebikontana, naye ye Falaawo kye yali ayagala kwe kumanya amakulu g’ebirooto bye.
Kyaddaaki, omuweereza wa Falaawo eyali akulira abamuweereza eby’okunywa yajjukira Yusufu! Yabuulira Falaawo ebyaliwo emyaka ebiri emabega nga bali mu kkomera. Yamutegeeza nti Yusufu yannyonnyola amakulu g’ekirooto kye n’amakulu g’ekirooto kya munne eyali akulira abaweereza Falaawo emigaati. Amangu ddala, Falaawo yatumya Yusufu okuva mu kkomera.
Teeberezaamu engeri Yusufu gye yawuliramu bwe yalaba ababaka ba Falaawo abaali bazze okumuggya mu kkomera. Yakyusizaawo engoye ze era ne yeemwa
Yakuwa ayagala nnyo abantu abawombeefu era abeesigwa gy’ali, era yasobozesa Yusufu okutegeera amakulu g’ebirooto ebyali biremye abasajja abagezigezi n’abalaguzi. Yusufu yannyonnyola nti ebirooto bya Falaawo byalina amakulu ge gamu. Falaawo yaloota emirundi ebiri kubanga ebirooto ebyo byali biteekwa okutuukirira. Ente omusanvu ezirabika obulungi n’ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebirungi byali bitegeeza emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi y’e Misiri,
Falaawo yakkiriza ebyo Yusufu bye yamunnyonnyola. Naye kiki kye yandikoze? Yusufu yawa Falaawo amagezi. Falaawo yalina okunoonya omusajja “ow’amagezi” alabirire omulimu gw’okukuŋŋaanya emmere mu myaka omusanvu egy’ekyengera, asobole okugigabira abantu mu kiseera eky’enjala ekyandiddiridde. (Olubereberye 41:33-36) Obumanyirivu n’obusobozi Yusufu bye yalina byali bimusobozesa okukola obulungi omulimu ogwo, naye teyagamba nti bagumuwe. Olw’okuba yali muwombeefu era ng’alina okukkiriza okw’amaanyi, teyeegulumiza. Bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi, kituyamba obutaba ba malala n’obuteegulumiza. Bwe tukwasa Katonda byonna ebitweraliikiriza, tuwulira emirembe mu mutima.
‘TUYINZA OKUFUNA OMUSAJJA NG’ONO?’
Falaawo n’abaweereza be bonna baakiraba nti amagezi Yusufu ge yabawa gaali malungi nnyo. Ate era Falaawo yakitegeera nti Katonda wa Yusufu ye yali asobozesezza Yusufu okubawa amagezi ago. Bw’atyo n’agamba abaweereza be nti: ‘Tuyinza okufuna omusajja ng’ono, omusajja aliko omwoyo gwa Katonda?’ Era yagamba Yusufu nti: ‘Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali wa magezi nga ggwe. Ggwe ojja okufuga ennyumba yange, era abantu bange bonna banaagonderanga ekigambo kyo. Naye mu ntebe yange, nze nnaakusinganga obukulu.’
Falaawo yatuukiriza bye yayogera. Amangu ago Yusufu yayambazibwa ebyambalo ebirungi. Falaawo yawa Yusufu omukuufu ogwa zzaabu, empeta eramba, n’eggaali lye ery’okubiri asobole okutalaaga Misiri yonna ng’akuŋŋaanya emmere. (Olubereberye 41:42-44) Mu kaseera mpa we kaaga, Yusufu eyali omusibe yafuuka omukungu wa kabaka, era nga y’addirira Falaawo mu buyinza. Yusufu yaganyulwa nnyo olw’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Yakuwa yali alaba engeri etali ya bwenkanya omuweereza we gye yayisibwangamu okumala emyaka mingi. Yayamba Yusufu mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu. Ng’oggyeeko okuyamba Yusufu, Yakuwa era yali ayagala okuwonyaawo abantu abandivuddemu eggwanga lya Isiraeri. Ekyo yakikola atya? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu gye bujja mu kitundu nga kino ekifulumira mu katabo kano.
Bw’oba oli mu mbeera enzibu, oboolyawo ng’oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya okumala emyaka mingi, toggwaamu maanyi. Jjukira Yusufu. Olw’okuba Yusufu yasigala nga wa kisa, nga muwombeefu, nga mugumiikiriza, era ng’alina okukkiriza okw’amaanyi, Katonda yamuwa emikisa mingi.
^ lup. 4 Laba ebitundu ebirina omutwe, “Koppa Okukkiriza Kwabwe” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1 ne Noovemba 1, 2014.
^ lup. 10 Abamisiri ab’edda baalyanga emigaati oba keeki ez’ebika eby’enjawulo ebisukka mu 90. N’olwekyo, omuntu eyakuliranga abaafumbiranga Falaawo emigaati yabanga muntu wa kitiibwa nnyo. Ate era waliwo eyakuliranga abaaweerezanga Falaawo eby’okunywa. Abo be baakakasanga nti envinnyo oba omwenge Falaawo gwe yanywanga gwe gwabanga gusingayo obulungi era baagukuumanga guleme kuteekebwamu butwa, kubanga bakabaka baateranga okuliibwamu olukwe ne baweebwa obutwa. Oluusi omuntu eyaweerezanga kabaka eby’okunywa yafuukanga muwi wa magezi, era kabaka yamwesiganga nnyo.