Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale mu magye g’Abaruumi yabanga na buvunaanyizibwa ki?

Ekifaananyi ky’omukulu w’abasirikale ayitibwa Marcus Favonius Facilis

Emirundi egiwerako, Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera ku abo abaakuliranga ebibinja by’abasirikale mu magye g’Abaruumi. Omukulu w’abasirikale eyakulira abo abatta Yesu, ne Koluneeriyo, munnagwanga eyasooka okufuuka Omukristaayo, bombi baali bakulu ba bibinja bya basirikale. Omusirikale eyali akulira abo abaali bagenda okukuba omutume Pawulo, ne Yuliyo eyatwala Pawulo e Rooma, nabo baali bakulu ba bibinja bya basirikale.—Makko 15:39; Ebikolwa 10:1; 22:25; 27:1.

Omusirikale eyabanga n’ekitiibwa kino yaduumiranga ekibinja ky’abasirikale abaabanga wakati wa 50 ne 100 abaatambuzanga ebigere. Obuvunaanyizibwa bwe bwazingirangamu okutendeka n’okukangavvula abo b’akulira, okukebera ebyambalo n’eby’okulwanyisa byabwe, n’okukakasa nti bali bulindaala.

Kino kye kitiibwa ekyali kisingayo okuba ekya waggulu omusirikale owa bulijjo kye yabanga asobola okufuna. Abo abaaweebwanga ekitiibwa kino baalina okuba abakulembeze abalungi. Abasirikale abo be baasobozesa eggye ly’Abaruumi okuba ery’empisa era ery’amaanyi. Ekitabo ekimu kiraga nti, abo abaakuliranga ebibinja by’abasirikale “be basajja abaali basinga okuba n’obumanyirivu mu magye.”

Endabirwamu ez’edda zaawukana zitya ku za leero?

Endabirwamu eyakozesebwanga mu Misiri

Okwawukana ku ndabirwamu ze tukozesa leero ezikolebwa mu birawuli, endabirwamu ezaakozesebwanga mu biseera eby’edda zaakolebwanga mu byuma ebyabanga ebizigule era nga bimasamasa nnyo gamba ng’ekikomo, ffeeza, oba zzaabu. Mu Bayibuli, endabirwamu zisooka kwogerwako mu kiseera eky’okuzimba weema, Abaisiraeri gye baakozesanga mu kusinza. Abakazi baawaayo endabirwamu zaabwe zikolebwemu ebbenseni n’ekintu kw’etuula eby’ekikomo. (Okuva 38:8) Kirabika endabirwamu ezo zaalina okusaanuusibwa zisobole okukolebwamu ebintu ebyo.

Endabirwamu abo abanoonyereza ku bintu eby’edda ze baazuula mu Isiraeri ne mu bifo ebyetoolooddewo zaasangibwa n’amajolobero awamu n’ebintu ebirala abakyala bye baakozesanga okwerungiya. Endabirwamu zino zaabanga nneetooloovu era zaabangako kye bakwata ekikoleddwa mu muti, mu kyuma, oba mu masanga era nga kikoleddwa mu kifaananyi ky’omukazi. Oludda olumu olw’endabirwamu ezo lwabanga luzigule naye ng’olulala si luzigule.

Endabirwamu ez’edda tezaalaganga bulungi kifaananyi ng’endabirwamu ze tulina leero. Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti: “Mu kiseera kino tutunula mu ndabirwamu ey’ekyuma etalaba bulungi.”—1 Abakkolinso 13:12.