Obadde Okimanyi?
Ebintu eby’edda ebizze bizuulibwa bikakasa nti Bayibuli ntuufu?
Akatabo akayitibwa Biblical Archaeology Review kagamba nti okusinziira ku ebyo abanoonyereza ku by’omu ttaka bye bazudde, abantu “nga 50” aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya baakakasibwa nti baaliyo. Abamu ku bo be bakabaka 14 aba Yuda ne Isiraeri, nga mw’otwalidde Dawudi ne Keezeekiya abamanyiddwa ennyo, Menakemu ne Peka abatamanyiddwa nnyo. Ku bantu abo era kuliko Bafalaawo 5 ne bakabaka abalala 19 okuva mu Bwasuli, Babulooni, Mowaabu, Buperusi, ne Busuuli. Kyokka, abafuzi si be bokka aboogerwako mu Bayibuli ne mu ebyo ebivumbuddwa. Abantu abatamanyiddwa nnyo gamba nga bakabona abakulu, omuwandiisi, n’abakungu abalala nabo boogerwako.
Akatabo ako era kagamba nti “abo abanoonyereza ku bintu eby’edda bakkiriziganya” nti abantu abo baaliyo.Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani nabyo byogera ku bantu bangi ab’edda era nga waliwo ebintu ebizze bizuulibwa ebikakasa nti baaliyo. Mu bano mulimu Kerode, Pontiyo Piraato, Tiberiyo, Kayaafa, ne Serugiyo Pawulo.
Empologoma zaakoma ddi okubeera mu bitundu ebyogerwako mu Bayibuli?
Wadde nga leero mu Nsi Entukuvu temukyali mpologoma, abawandiisi ba Bayibuli bazoogerako emirundi nga 150 ekiraga nti zaaliyo. Mu byawandiikibwa ebisinga obungi empologoma zoogerwako mu ngeri ya kabonero, naye ebyawandiikibwa ebirala byogera ku mpologoma zennyini. Ng’ekyokulabirako, biraga nti Samusooni, Dawudi, ne Benaya batta empologoma. (Ekyabalamuzi 14:5, 6; 1 Samwiri 17:34, 35; 2 Samwiri 23:20) Waaliwo n’abantu abattibwa empologoma.
Mu biseera eby’edda empologoma y’omu Asiya yabeeranga mu bitundu ebya Asiya Omutono, mu Buyonaani, mu Palesitayini, mu Busuuli, mu Mesopotamiya, ne mu bukiikakkono bw’ebugwanjuba bwa Buyindi. Olw’okuba ensolo eno yali etiibwa nnyo era ng’abantu b’ebuvanjuba bagiwa ekitiibwa, baakubanga ebifaananyi byayo. Ebisenge ebyali erudda n’erudda w’Oluguudo oluyingira mu Babulooni byali bikubiddwako ebifaananyi by’empologoma.
Kigambibwa nti mu kyasa ekya 12 E.E., abalwanyi baayigganga empologoma mu Palesitayini. Kiteeberezebwa nti oluvannyuma lw’omwaka 1300 E.E., waali tewakyali mpologoma mu kitundu ekyo. Kyokka, okutuukira ddala mu kyasa 19, kigambibwa nti zaali zirabibwako mu bitundu bya Mesopotamiya ne Busuuli. Ate era zaali zirabibwako mu Iran ne Iraq okutuusiza ddala ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20.