EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU
Abajulirwa ba Yakuwa Be Baani?
“Nnamala emyaka mingi nga mmanyi nti Mike Mujulirwa wa Yakuwa naye ng’eddiini ye sigitegeera. Yakuwa y’ani? Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebakuza nnaku nkulu? Mike yali abuzaabuziddwa akadiinidiini?”—Becky ow’omu California, Amerika.
“Baliraanwa baffe bwe baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnatandika okwebuuza: ‘Abajulirwa ba Yakuwa, kitegeeza ki? Eryo nalyo linnya lya ddiini?’”—Zenon ow’omu Ontario, Canada.
“Omutima gwali gutulumiriza olw’obutagenda kusaba, era Abajulirwa ba Yakuwa bwe bajja ewaka okutubuulira, twalowooza nti baali bakozesezza embeera gye twalimu okutusendasenda okubeegattako. Era twebuuza nti, bwe kiba nti amadiini agamannyiddwa tegasobodde kutuyamba, kati olwo kano akadiinidiini ak’Abajulirwa ba Yakuwa ke kanaatuyamba?”—Kent ow’omu Washington, Amerika.
“Mu butuufu, nnali simanyi Bajulirwa ba Yakuwa, era nga simanyi na bye bakkiriza.”—Cecilie ow’omu Esbjerg, Denmark.
Naawe oyinza okuba nga wali olabyeko Abajulirwa ba Yakuwa nga babuulira nnyumba ku nnyumba oba mu bifo ebya lukale, nga bagaba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, oba nga bayigiriza abantu Bayibuli. Oboolyawo n’akatabo kano k’osoma omu ku bo ye yakakuwadde. Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, Abajulirwa ba Yakuwa be baani? Oboolyawo naawe olinga omu ku abo b’osomyeko waggulu.
Bw’oba weebuuza ebibuuzo ng’ebyo, eby’okuddamu oyinza kubifuna wa? Oyinza otya okumanya ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza, engeri gye bafunamu ssente ze bakozesa mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira n’okuzimba ebizimbe mwe basinziza, n’ensonga lwaki bagenda mu maka g’abantu okubabuulira?
Cecilie ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnasoma ebintu bingi ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa ku Intaneeti. Nnawulira ebintu bingi ebitali bituufu ebyogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa. N’ekyavaamu nnabakyawa.” Oluvannyuma Cecilie yayogera n’Abajulirwa ba Yakuwa ne bamuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza.
Wandyagadde okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo bye weebuuza ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa? Tukukubiriza okubuuza Abajulirwa ba Yakuwa bennyini. (Engero 14:15) Tusuubira nti ebitundu ebiddako bijja kukuyamba okutumanya, okumanya bye tukkiriza, era n’okutegeera obulungi omulimu gwe tukola.