Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OKUSABA KATONDA KIGASA?

Ddala Waliwo Awulira Essaala Zaffe?

Ddala Waliwo Awulira Essaala Zaffe?

Abantu abamu bawulira nti okusaba kuba kumala biseera, era nti tewali awulira ssaala zaabwe. Ate abalala bagamba nti essaala zaabwe teziddibwamu. Omuntu omu atakkiririza mu Katonda yasaba Katonda ng’agamba nti: “Nkuba akaama.” Naye bwe yamala okusaba yagamba nti Katonda “yasirika busirisi.”

Kyokka, Bayibuli egamba nti waliwo Katonda awulira essaala zaffe. Bayibuli egamba nti: “[Katonda] talirema kukukwatirwa kisa olw’eddoboozi ery’okukaaba kwo; bw’aliwulira alikwanukula.” (Isaaya 30:19) Ate era Bayibuli egamba nti: “Okusaba kw’abagolokofu kw’asanyukira.”​—Engero 15:8.

Yesu yasaba Kitaawe era “yawulirwa.”​—Abebbulaniya 5:7

Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, era kyogera ku abantu abaasaba, Katonda n’awulira essaala zaabwe. Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo ‘yeegayirira era yasaba Oyo eyali ayinza okumulokola era yawulirwa.’ (Abebbulaniya 5:7) Ebyokulabirako ebirala biri mu Danyeri 9:21 ne mu 2 Ebyomumirembe 7:1.

Kati olwo, lwaki essaala z’abantu abamu teziddibwamu? Essaala okusobola okuddibwamu, tulina okusaba Katonda omu ow’amazima ayitibwa Yakuwa, * so si muntu mulala yenna. Katonda era ayagala tusabe ebintu ‘ebituukagana n’ebyo by’ayagala.’ Bwe tusaba mu ngeri entuufu, Katonda “atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) N’olwekyo, bwe tuba twagala Katonda awulire essaala zaffe, twetaaga okumumanya n’okumanya by’ayagala.

Abantu bangi bakkiriza nti okusaba tekuba kutuusa butuusa luwalo, wabula nti Katonda awulira essaala zaabwe. Isaac abeera e Kenya, agamba nti: “Nnasaba Katonda annyambe okutegeera Bayibuli era oluvannyuma lw’akaseera katono, ne nfuna anjiririza Bayibuli.” Omukyala ayitibwa Hilda ow’omu Philippines, yali ayagala kulekera awo kunywa sigala. Yagezaako emirundi egiwera naye ng’alemererwa, omwami we yamugamba nti, “Saba Katonda akuyambe.” Yakolera ku magezi ago era agamba nti: “Nneewuunya nnyo engeri Katonda gye yannyambamu. Oluvannyuma nnatandika okuwulira nga sikyayagala kunywa ssigala, era nnamuvaako.”

Naawe Katonda ajja kukuyamba bw’onoomusaba ebintu ebituukagana n’ebyo by’ayagala. Ekyo okikakasiza ku ki?

^ lup. 6 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.