Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .

Obulombolombo Obukolebwa ku Ssekukkulu Bwasibuka Wa?

Obulombolombo Obukolebwa ku Ssekukkulu Bwasibuka Wa?

Abantu bangi abakuza Ssekukkulu bagamba nti baba bakuza mazaalibwa ga Yesu. Kyokka obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu buleetera omuntu okwebuuza engeri gye bukwataganamu n’okuzaalibwa kwa Yesu.

Lowooza ku Father Christmas. Ekifaananyi kya Father Christmas ekiba n’engoye emmyufu nga kirina ebirevu ebyeru kyakolebwa kampuni emu ey’omu Amerika etunda eby’okunywa mu 1931. Kampuni eyo yakola ekifaananyi ekyo esobole okulanga eby’okunywa byayo mu biseera bya Ssekukkulu. Mu myaka gya 1950, abantu abamu ab’omu Brazil baagezaako okukozesa ekifaananyi kyabwe ekiyitibwa Grandpa Indian mu kifo kya Father Christmas. Kiki ekyavaamu? Kakensa ayitibwa Carlos E. Fantinati agamba nti Father Christmas teyakoma ku kusinga Grandpa Indian naye era “yasinga n’omwana Yesu n’afuuka ekifaananyi ekitongole ekitimbibwa ku Ssekukkulu.” Naye, obulombolombo gamba nga Father Christmas bwe bwokka obufuula Ssekukkulu okuba enkyamu? Okumanya eky’okuddamu, ka twetegereze ebyaliwo ng’Obukristaayo bwakatandika.

Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica kigamba nti: “Mu byasa ebibiri ebyasooka ng’Obukristaayo bwakatandika, okukuza amazaalibwa g’abatukuvu kyali kiwakanyizibwa nnyo.” Ekyo kyali bwe kityo kubanga Abakristaayo baali bakitwala nti okukuza amazaalibwa kaali kalombolombo k’abakaafiiri akalina okwewalibwa. Mu butuufu, Bayibuli tetubuulira lunaku Yesu lwe yazaalibwa.

Kyokka, wadde ng’Abakristaayo abaasooka baagaana okukuza amazaalibwa, Ekkereziya yatandika okukuza Ssekukkulu mu kyasa eky’okuna. Yali eyagala okuggyawo amadiini g’Abaruumi ag’ekikaafiiri awamu n’emikolo gyago egy’okukuza amazaalibwa g’enjuba egyali gicaase ennyo era nga giremesa Ekkereziya okufuna ettutumu. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Christmas in America ekyawandiikibwa Penne L. Restad, buli mwaka, okuva nga Ddesemba 17 okutuuka nga Jjanwali 1, “Abaruumi abasinga obungi baafumbanga ebijjulo, baazannyanga emizannyo, baakumbanga, era baakolanga n’ebikujjuko ebirala bingi nga basinza bakatonda baabwe.” Abaruumi baakuzanga amazaalibwa g’enjuba nga Ddesemba 25. Ekkereziya bwe yatandika okukuza amazaalibwa ga Yesu ku lunaku lwe lumu, Abaruumi nabo baatandika okugakuza mu kifo ky’okukuza amazaalibwa g’enjuba. Mu kitabo kye ekiyitibwa Santa Claus, a Biography, Gerry Bowler yagamba nti Abaruumi “baasigala bakola obulombolombo bwe baakolanga nga bakuza amazaalibwa g’enjuba.” Mu butuufu, “beeyongera okukola ebintu byennyini bye baakolanga.”

N’olwekyo, obulombolombo obukolebwa ku Ssekukkulu tebusanyusa Katonda kubanga bwasibuka mu ddiini ez’ekikaafiiri. Mu kitabo kye ekiyitibwa The Battle for Christmas, Stephen Nissenbaum yagamba nti Ssekukkulu mukolo gwa kikaafiiri ogwerimbise mu Bukristaayo.” Mu butuufu, okukuza Ssekukkulu tekiweesa Katonda ne Yesu kitiibwa. Ate era Bayibuli egamba nti: “Obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza?” (2 Abakkolinso 6:14) Akaakyama amamera, bw’okagolola kamenyeka bumenyesi. Ssekukkulu yakyama era tesobola kugololwa.Omubuulizi 1:15.