Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Ddala ekiseeera kirituuka ne wabaawo obwenkanya mu nsi?

Wandizzeemu nti

  • Yee

  • Nedda

  • Oboolyawo

Bayibuli ky’egamba

“Mmanyi nti Yakuwa ajja kulwanirira abanaku, era alabe nti abaavu bayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya.” (Zabbuli 140:12) Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala mu nsi.

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli

  • Katonda alaba obutali bwenkanya obuliwo mu nsi, era ajja kubuggyawo.Omubuulizi 5:8.

  • Katonda bw’anaamalawo obutali bwenkanya, wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi.Isaaya 32:16-18.

Katonda asosola mu mawanga?

Abantu abamu balowooza nti amawanga agamu Katonda yagawa emikisa ate amalala yagakolimira, ate abalala balowooza nti Katonda tasosola. Ggwe olowooza otya?

Bayibuli ky’egamba

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Mu maaso ga Katonda, abantu bonna benkana.

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli

  • Bayibuli erimu “amawulire amalungi” ag’okulangirira eri “buli ggwanga n’ekika . . . n’abantu.”Okubikkulirwa 14:6.