Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ejjinja lino eryazuulibwa liriko erinnya Tattannu

Obukakafu Obulala

Obukakafu Obulala

Waliwo ebizuuliddwa abo abanoonyereza ku bintu eby’edda ebyongera okukakasa nti ebiri mu Bayibuli bituufu. Mu 2014, magazini eyitibwa Biblical Archaeology Review yalaga nti abantu nga 50 aboogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (Endagaano Enkadde) be bakakasiddwa nti baaliyo. Omu ku bantu abatali ku lukalala olwo ye Tattenayi. Tattenayi ye yali ani? Ka tulabe Bayibuli ky’emwogerako.

Ekibuga Yerusaalemi kyafugibwako obwakabaka bwa Buperusi. Ekibuga ekyo kyali mu kitundu Abaperusi kye baayitanga Emitala w’Omugga, kwe kugamba, ebugwanjuba w’Omugga Fulaati. Abaperusi bwe baawamba Babulooni, bakkiriza Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse okuddayo mu nsi yaabwe, era ne babawa olukusa okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi. (Ezera 1:1-4) Kyokka abalabe b’Abayudaaya baawakanya eky’okuzimba yeekaalu era ne babawaayiriza nti baali bajeemera kabaka wa Buperusi. (Ezera 4:4-16) Mu kiseera ky’obufuzi bwa Daliyo I (522-486 E.E.T.), * omukungu Omuperusi eyali ayitibwa Tattenayi yanoonyereza ku nsonga eyo. Bayibuli emuyita “gavana ow’Emitala w’Omugga.”Ezera 5:3-7.

Ebipande by’amayinja ebiriko ebiwandiiko eby’edda nga biriko n’erinnya Tattenayi byazuulibwa, nga biri wamu n’ebiwandiiko ebirala eby’amaka agamu. Ekimu ku bipande ebyo kiriko ekiwandiiko ekiraga nti omu ku b’omu maka ago yalina enkolagana ne Tattenayi. Ekiwandiiko ekyo yali ndagaano eyakolebwa mu mwaka gwa 502 E.E.T, nga gwe gwali omwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Daliyo 1. Eyassa omukono ku ndagaano eyo yali muweereza wa “Tattannu, gavana ow’Emitala w’Omugga” ng’ono ye Tattenayi ayogerwako mu kitabo kya Bayibuli ekya Ezera.

Tattenayi yalina buvunaanyizibwa ki? Mu 535 E.E.T., Kabaka Kuulo obwakabaka bwe yabwawulamu amasaza, era essaza erimu lyali liyitibwa Babulooni n’Emitala w’Omugga. Essaza eryo oluvannyuma lyayawulwamu ebitundu bibiri, era ekitundu ekimu kyali kiyitibwa Emitala w’Omugga. Ekitundu ekyo kyali kitwaliramu ekitundu ekyali kiyitibwa Coele-Syria, Foyiniikiya, ne Samaliya, era nga kirabika ekitebe kya gavana eyafuganga ekitundu ekyo kyali mu Ddamasiko. Tattenayi yali gavana w’ekitundu ekyo okuva mu 520 okutuuka mu 502 E.E.T.

Tattenayi bwe yagenda e Yerusaalemi okunoonyereza ku ebyo ebyali byogerwa ku Bayudaaya, yategeeza Kabaka Daliyo nti Abayudaaya baagamba nti Kabaka Kuulo ye yali abakkiriza okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Bwe baanoonyereza mu biwandiiko, baakizuula nti ekyo kyali kituufu. (Ezera 5:6, 7, 11-13; 6:1-3) Kabaka Daliyo yagamba Tattenayi okuleka Abayudaaya bazimbe, era n’abaleka.Ezera 6:6, 7, 13.

Kyo kituufu nti “Tattenayi gavana ow’Emitala w’Omugga” tayogerwako nnyo mu byafaayo. Naye tukirabye nti engeri Bayibuli gy’emwogerako, era bw’ayogerwako ne mu byafaayo. Ekyo kyongera okutukakasa nti ebiri mu Bayibuli bituufu.

^ lup. 3 E.E.T kitegeeza, Embala Eno nga Tennatandika.