ZUUKUKA Na. 1 2017 | Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
Lipoota ziraga nti omuwendo gw’abatiini oba abavubuka abalina obulwadde obw’okwennyamira gweyongedde nnyo.
Kiki ekiyinza okubayamba?
Magazini ya “Zuukuka!” eno erimu amagezi agasobola okuyamba abatiini abalina obulwadde obwo, era eraga n’ebyo abazadde bye basobola okukola okuyamba abaana abo.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
Laba obubonero kw’omanyira omuvubuka alina obulwadde obwo. Era laba abazadde n’abantu abalala bye bayinza okukola okubayamba
Akamwenyumwenyu—Kirabo ky’Osobola Okugabana n’Abalala
Omuntu bw’akumwenyeza, k’abe mukwano gwo oba omuntu omulala gw’otomanyi, kikuleetera okuwulira obulungi.
BAYIBULI KY'EGAMBA
Okuggyamu Olubuto
Buli mwaka, abantu bukadde na bukadde baggyamu embuto. Kiri eri buli muntu okwesalirawo eky’okukola ku nsonga eyo?
“Baatulaga Okwagala Kungi”
Ku lw’omukaaga nga Apuli 25, 2015, musisi ow’amaanyi yayita mu Nepal. Abajulirwa ba Yakuwa baalaga batya bakkiriza bannaabwe okwagala?
EBIYAMBA AMAKA
Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima
Omwami n’omukyala buli omu bw’afuba okulaba ebirungi mu munne enkolagana yaabwe yeeyongera okunywera. Kiki ekiyinza okukuyamba okusiima munno?
KYAJJAWO KYOKKA?
Ekikakampa ky’Ekiwuka Ekiyitibwa Silver Ant eky’Omu Ddungu Sahara
Ekiwuka ekyo kye kimu ku biramu ebisinga okugumira ebbugumu eringi. Kiki ekiyamba ekiwuka ekyo okugumira ebbugumu eringi?