Amagezi Agatuyamba Okuba Abasanyufu
“Wadde nga mpulira bubi bwe ndaba ebintu ebibi ebiri mu nsi, gamba ng’entalo, obwavu, endwadde, n’okubonyaabonya abaana, nnina essuubi.”—RANI. *
Rani yafuna essanyu erya nnamaddala bwe yayiga ebikwata ku Mutonzi waffe, Ensibuko y’amagezi. Bw’oba osoma akatabo kano, weetegereze engeri ebyo Omutonzi waffe by’atuyigiriza gye biyinza okukuyamba . . .
okuba n’amaka agalimu essanyu
okukolagana obulungi n’abalala
okuba omumativu
okumanya ensonga lwaki abantu babonaabona era bafa
okuba n’essuubi ekkakafu erikwata ku biseera eby’omu maaso
okumanya Omutonzi waffe, n’okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye
Ate era ojja kukiraba nti amagezi Omutonzi waffe g’atuwa, buli muntu aganoonya asobola okugafuna.
^ lup. 2 Amannya mu katabo kano gakyusiddwa.