Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekibuga Toledo kirimu ebintu eby’ebyafaayo n’eby’obuwangwa bingi. Mu 1986 ekibuga ekyo kyatongozebwa okuba ekifo eky’obulambuzi era abalambuzi bangi bagendayo

ENSI N’ABANTU | SIPEYINI

Ka Tugendeko e Sipeyini

Ka Tugendeko e Sipeyini

SIPEYINI erimu ebintu bingi eby’enjawulo era n’abantu ab’enjawulo. Abantu mu Sipeyini balima nnyo eŋŋaano, emizabbibu, n’emizeyituuni. Okuva ebukiikaddyo bwa Sipeyini okutuuka ku lukalu lwa Afirika waliwo mayiro mwenda zokka.

Edda ennyo, waaliwo abantu bangi, omwali Abafoyiniikiya, Abayonaani, n’abalala, baasengukira mu nsi eyo esangibwa mu bukiikaddyo bwa Bulaaya. Abaruumi bwe baatuuka mu nsi eyo mu kyasa eky’okusatu E.E.T., baagituuma Hispania. Oluvannyuma Abavisigoosi n’Abamowa nabo bajja ne batandika okubeera mu nsi eyo era ne baleeta empisa n’obuwangwa bwabwe mu nsi eyo.

Emabegako awo, abalambuzi ng’obukadde 68 baakyala mu Sipeyini mu bbanga lya mwaka gumu gwokka. Abantu abasinga obungi abagenda okukyalako mu Sipeyini baba bagenze kwota kasana, kuwummulirako ku lubalama lw’ennyanja, kulambula bifo ebirabika obulungi, n’ebifo eby’ebyafaayo. Abalambuzi bangi baagala nnyo emmere y’omu Sipeyini. Mu mmere eyo mwe muli eby’omu nnyanja, ennyama y’embizzi, enva ez’ebika eby’enjawulo, saladi, enva endiirwa ze bateekako buto ow’emizeyituuni, amagi ge bagattamu ebintu ebirala, omuceere gwe bagattamu ebintu eby’enjawulo, n’obumpwankimpwanki obutali bumu.

Emmere eggibwa mu nnyanja gye bayita Mariscada

Amazina agayitibwa flamenco

Abantu b’omu Sipeyini bafaayo nnyo ku balala. Abasinga obungi Bakatuliki naye batono nnyo abagenda mu masinzizo. Mu myaka egiyise abantu okuva mu Afirika, Asiya, ne mu bukiikaddyo bwa ssemazinga w’Amerika basengukidde mu Sipeyini. Bangi ku bo baagala nnyo okwogera ku ddiini n’obuwangwa bwabwe. Abajulirwa ba Yakuwa babuulira abantu abo era bayambye bangi okuyiga amazima agali mu Bayibuli.

Mu 2015, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 10,500 beewaayo kyeyagalire okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka 70 mu Sipeyini. Ab’obuyinza mu bitundu ebimu baawa Abajulirwa ba Yakuwa ettaka okuzimbako ebizimbe byabwe. Okusobola okuyamba abagwira abali mu Sipeyini, Abajulirwa ba Yakuwa mu Sipeyini baba n’enkuŋŋaana mu nnimi engwira ezisukka mu 30. Mu 2016, abantu abasukka mu 186,000 be baaliwo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu mu Bizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa.