ZUUKUKA Na. 2 2018 | Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu
Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu
Tuwulira ebintu bingi ebiviirako amaka okusasika. Naye biki ebiviirako amaka okuba amanywevu?
Wakati wa 1990 ne 2015, omuwendo gw’abafumbo abasussa emyaka 50 abaagattululwa gwakubisaamu emirundi ebiri, ate ogw’abo abasussa emyaka 65 gwakubisaamu emirundi esatu.
Abazadde basobeddwa: Abawi b’amagezi abamu bagamba nti abazadde basaanidde okutendereza abaana buli kiseera, ate abalala bagamba nti basaanidde kubakwasa mukono gwa kyuma.
Abavubuka bayingira emyaka egy’obukulu nga tebalina kye bamanyi kiyinza kubayamba mu bulamu.
Wadde kiri kityo . . .
Obufumbo busobola okubaamu essanyu era busobola okuba obunywevu.
Abazadde basobola okuyiga engeri y’okukangavvulamu abaana baabwe mu kwagala.
Abavubuka basobola okuyiga ebintu ebinaabayamba nga bakuze.
Ekyo kisoboka kitya? Magazini eno eya Zuukuka! eraga ebintu 12 ebisobozesa amaka okuba amanywevu.
1: Obumalirivu
Waliwo ebintu bisatu ebisobola okuyamba abafumbo buli omu okunywerera ku munne.
2: Okukolera Awamu
Omwami wo oba mukyala wo alinga omuntu gwe mubeera naye mu nju y’emu naye nga temuli bafumbo?
3: Okuwaŋŋana Ekitiibwa
Laba ebimu ku bigambo n’ebikolwa ebisobola okulaga nti ggwe ne munno mu bufumbo muwaŋŋana ekitiibwa.
4: Okusonyiwagana
Kiki ekisobola okukuyamba okubuusa amaaso ensobi za munno mu bufumbo?
5: Empuliziganya
Ebintu bisatu ebisobola okukuyamba okunyweza enkolagana yo n’abaana bo.
6: Okukangavvula
Okukangavvula abaana kibaleetera okwenyooma?
7: Empisa
Mpisa ki z’olina okuyigiriza abaana bo?
8: Ekyokulabirako
Bw’oba oyagala abaana bakolere ku bigambo byo, olina okukolera ku ebyo by’oyogera.
9: Ekyo ky’Oli
Abavubuka bayinza batya okunywerera ku ebyo bye bakkiririzaamu?
10: Okuba Omuntu Eyeesigika
Bw’ogenda okula kikulu okufuba okulaba nti bazadde bo bakwesiga.
11: Okuba Omukozi Omunyiikivu
Bw’oyiga okuba omukozi omunyiikivu ng’okyali muvubuka kikuganyula nnyo mu bulamu.
12: Ebiruubirirwa
Okutuuka ku biruubirirwa byo kikuyamba okwekkiririzaamu, okufuna emikwano, era kikuleetera essanyu.
Amagezi Amalala Agayamba Amaka
Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba okuba n’amaka amanywevu.