OMUTWE OGULI KUNGULU
Omulimu gw’Okuvvuunula
“Oluusi kigambibwa nti tewali kintu kizibu nga kuvvuunula.”
—“The Cambridge Encyclopedia of Language.”
ABAJULIRWA BA YAKUWA bwe baba tebannatandika mulimu gwa kuvvuunula basooka ne banoonyereza ku ebyo bye bagenda okuwandiika oluvannyuma ne babiwandiika. Ku mutendera guno, Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika ekiri ku kitebe kyabwe ekikulu ekiri mu New York kisooka kwekebejja ebiwandiikiddwa okulaba obanga bituufu era nti bituukana n’olulimi olukozesebwa mu kiseera kino. *
Oluvannyuma Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika kiweereza ebiba biwandiikiddwa eri abavvuunuzi okwetooloola ensi, ng’abasinga obungi babeera mu bitundu olulimi lwe bavvuunula gye lwogerwa. Era abasinga obungi ku bo olulimi lwe bavvuunulamu lwe baba bakuze boogera. Balina okuba nga bategeera bulungi Olungereza n’olulimi lwe bagenda okuvvuunulamu.
Abavvuunuzi bakola batya omulimu gwabwe?
Geraint, omuvvuunuzi abeera mu Bungereza agamba nti: “Tukolera wamu nga ttiimu. N’olwekyo kikulu okukolagana obulungi. Tukolera wamu mu kunoonya engeri gye tuyinza okuvvuunulamu ebintu ebitali byangu kuvvuunula. Tetutunuulira bigambo kinnakimu, wabula tutunuulira ebigambo byonna awamu. Tulowooza nnyo ku makulu g’ebyo bye tuba tugenda okuvvuunula era tukuumira mu birowoozo abantu be tuvvuunulira.”
Kigendererwa ki kye muba nakyo nga muvvuunula?
“Tuba twagala oyo anaasoma bye tuba tuvvuunudde alowooze nti byasooka kuwandiikibwa mu lulimi lwe, so si nti byavvuunulwa buvvuunulwa. Ekyo okusobola okukituukako, tufuba okuwandiika mu ngeri abantu aboogera olulimi olwo gye
boogeramu. Ekyo kireetera omuntu okunyumirwa ennyo okusoma ebitabo byaffe.”Miganyulo ki egiri mu kuba nti abavvuunuzi babeera mu bitundu olulimi lwe bavvuunula gye lwogerwa?
“Okuba mu bantu aboogera olulimi lwe tuvvuunula kituyamba okuvvuunula mu ngeri gye basobola okutegeera obulungi. Kitusobozesa buli lunaku okuwulira abantu nga boogera olulimi olwo. Era tuba tusobola okubuuza abantu obanga bategeera bulungi ebigambo ebimu bye tuba twagala okukozesa. Ekyo kituyamba okuggyayo obulungi amakulu agaba mu Lungereza.”
Omulimu gwammwe gutegekeddwa gutya?
“Abavvuunuzi bakolera wamu nga ttiimu. Buli omu ku ttiimu asooka n’asoma ebyo ebiba bigenda okuvvuunulwa asobole okubitegeera obulungi, era asobola okutegeera engeri gye bisengekeddwamu, n’okumanya baani be babiwandiikidde. Bwe tuba tusomamu twebuuza: ‘Bye tugenda okuvvuunula bikwata ku ki? Nsonga ki enkulu eyogerwako era lwaki eyogerwako? Kiki abawandiisi kye baagala abantu bayige?’ Ekyo kituyamba ng’abavvuunuzi okulowooza ku bintu ebitali bimu ebijja okutuyamba nga tuvvuunula.
“Oluvannyuma abo abali ku ttiimu basisinkana ne bakubaganya ebirowoozo. Beebuuza: Ddala tutegedde bulungi bye tugenda okuvvuunula? Tuyinza tutya okusengeka ensonga nga bwe zisengekeddwa mu Lungereza? Ekigendererwa kyaffe kiba kya kuyamba omuntu anaasoma ebyo ebivvuunuddwa okukwatibwako mu ngeri y’emu ng’oyo anaasoma Olungereza.”
Abantu ababa ku ttiimu bakola batya omulimu gwabwe?
“Tuba twagala omuntu ategeererewo ebyo by’asoma. N’olwekyo, enfunda n’enfunda, tusoma mu ddoboozi eriwulikika buli katundu ke tumala okuvvuunula.
“Bwe tuba tuvvuunula, omuvvuunuzi asooka n’avvuunula akatundu, ng’abalala ababiri amaaso bagatadde ku kompyuta. Tukebera okulaba nti amakulu tegakyuse. Ate era twetegereza okulaba nti ebivvuunuddwa bivvuunuddwa mu ngeri olulimi gye lwogerwamu, nti ebigambo tebiriimu nsobi, era nti n’amateeka g’olulimi gagobereddwa. Oluvannyuma omu ku ffe asoma akatundu konna mu ddoboozi eriwulikika. Bw’asikattiramu ng’asoma, twebuuza ensonga lwaki asikattidde. Ekitundu kyonna bwe kimala okuvvuunulwa, omu ku ffe akisoma kyonna ng’abalala bawuliriza
era nga balaba aweetaaga okutereeza.”Ogwo nga mulimu gwa maanyi!
“Yee! Era we tunnyukira, tuba tukooye. N’olwekyo, ebyo bye tuba tuvvuunudde tuddamu okubisomamu enkeera ku makya ng’obwongo tebukooye. Oluvannyuma lw’ekiseera, Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika kitusindikira enkyukakyuka ze kiba kikoze mu ebyo bye kyasooka okutusindikira. Bwe tumala okuzikola, tuddamu okusoma mu bye tuba twavvuunula ne twongera okutereeza we kyetaagisa.”
Bintu ki ebiba ku kompyuta ebibayamba?
“Kya lwatu nti kompyuta tezisobola kukola bintu byonna abantu bye bakola. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bayiiyizza ebintu ebitali bimu ku kompyuta ebibayamba okwanguyirwa okukukola omulimu gw’okuvvuunula. Ekimu ku byo ye nkuluze mwe tuteeka ebigambo ebitali bimu bye tutera okukozesa. Ekintu ekirala ye programu etusobozesa okukebera ebitabo byonna eby’olulimi lwaffe ebyavvuunulwa emabega ne kituyamba okulaba engeri ebintu ebimu ebizibu gye byavvuunulwamu.”
Owulira otya bw’olowooza ku mulimu gwe mukola?
“Omulimu gwe tukola tugutwala ng’ekirabo eri abantu. Era tufuba nnyo okulaba nga tugukola bulungi abantu basobole okunyumirwa bye basoma. Kitusanyusa nnyo buli lwe tulowooza ku ky’okuba nti ekitundu ekimu mu magazini oba ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti kisobola okukwata ku mutima gw’omuntu ne
kimuyamba okuba n’obulamu obulungi.”Emiganyulo egy’Olubeerera
Okwetooloola ensi yonna, abantu bukadde na bukadde baganyulwa mu kusoma ebitabo mu lulimi lwabwe ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Amagezi agali mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, mu vidiyo zaabwe, ne ku mukutu gwabwe jw.org, geesigamiziddwa ku Bayibuli. Ekyo kiri kityo kubanga mu Bayibuli, Katonda ow’amazima ayitibwa Yakuwa atugamba okutegeeza abantu mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi” ebimukwatako.
^ lup. 4 Ebitabo bisooka kuwandiikibwa mu Lungereza.
^ lup. 25 Osobola okugenda ku www.mt1130.com/lg n’olaba ebitabo ne vidiyo mu lulimi lwo ne mu nnimi endala nnyingi.