EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE
Obulumi Omuntu bw’Afuna ng’Afiiriddwa
“Mukyala wange Sophia a yakwatibwa obulwadde obwamulumira ebbanga oluvannyuma ne bumutta, era we yafiira twali twakamala emyaka egisukka mu 39 mu bufumbo. Mikwano gyange gyannyamba nnyo mu kiseera ekyo era nange nnafuba okulaba nga mba n’eby’okukola bingi. Naye okumala omwaka mulamba nnasigala mpulira obulumi obw’amaanyi. Enneewulira yange yakyukakyukanga buli kiseera. Wadde nga kati wayise emyaka ng’esatu bukya afa, oluusi n’oluusi ndabira awo nga nfunye obulumi obw’amaanyi.”—Kostas.
Wali ofiiriddwako omuntu wo? Bwe kiba kityo, otegeera bulungi engeri Kostas gy’awuliramu. Ekimu ku bintu ebisingayo okuleeta obulumi obw’amaanyi kwe kufiirwa munno mu bufumbo, omu ku b’eŋŋanda zo, oba omu ku mikwano gyo. Bangi ku abo abanoonyereza ku bulumi omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa bakkiriziganya n’ensonga eyo. Magazini eyitibwa The American Journal of Psychiatry egamba nti “Bangi bwe bafiirwa omuntu waabwe tebaba na ssuubi lyonna nti baliddamu okumulaba era ekyo kibaleetera obulumi obw’amaanyi.” Omuntu bw’aba mu bulumi obwo, ayinza okwebuuza: ‘Obulumi buno ndibuwona ddi? Ndiddamu okuba omusanyufu? Nnyinza ntya okufuna obuweerero?’
Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu magazini ya Zuukuka! eno. Ekitundu ekiddako kigenda kulaga ebimu ku bintu by’oyinza okusuubira bw’oba nga waafiirwa omuntu wo gye buvuddeko awo. Ebitundu ebirala ebiddako bijja kulaga ebintu ebisobola okukuyamba okukendeeza ku bulumi bw’owulira.
Tusuubira nti amagezi agali mu magazini eno gajja kuyamba oyo yenna alina ennaku ey’okufiirwa omuntu we.
a Amannya agamu gakyusiddwa.