Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekijja Okumalirawo Ddala Obusosoze

Ekijja Okumalirawo Ddala Obusosoze

Abantu bukadde na bukadde bakoledde ku magezi agalagiddwa mu magazini eno ne kibayamba okweggyamu obusosoze. Naye ekituufu kiri nti ku lwaffe tetusobola kweggiramu ddala busosoze. Ekyo kitegeeza nti obusosoze tebuliggwaawo?

Gavumenti Etuukiridde

Gavumenti z’abantu tezisobodde kumalawo busosoze mu bantu. Ekyo kitegeeza nti tewali gavumenti esobola kumalawo busosoze?

Gavumenti esobola okumalawo obusosoze erina okuba

  1. 1. Ng’esobola okuleetera abantu okukyusa endowooza n’enneewulira gye balina ku balala.

  2. 2. Ng’esobola okumalawo ebintu ebiviirako abantu okusosola bannaabwe.

  3. 3. Ng’erina abafuzi abalungi abataliimu busosoze.

  4. 4. Ng’esobola okugatta awamu abantu b’amawanga gonna.

Bayibuli eraga nti Katonda yassaawo gavumenti ng’eyo. Eyitibwa “Obwakabaka bwa Katonda.”​—Lukka 4:43.

Weetegereze ebyo gavumenti eyo by’egenda okukola.

1. Obuyigirize Obusingayo Obulungi

Ababeera mu nsi [baliyiga] ebikwata ku butuukirivu.”​—ISAAYA 26:9.

“Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe, era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.”​—ISAAYA 32:17.

Kitegeeza ki? Obwakabaka bwa Katonda bujja kuyigiriza abantu ekituufu. Abantu bwe bayiga okwawula ekituufu ku kikyamu, kwe kugamba, okwawula obwenkanya ku butali bwenkanya, endowooza gye balina ku balala ekyuka. Abantu bonna bajja kuyiga nti ekintu ekituufu kye balina okukola kwe kwagala abantu aba buli ngeri.

2. Okumalawo Obulumi

Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—OKUBIKKULIRWA 21:4.

Kitegeeza ki? Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo obulumi bwonna obuleetebwa obutali bwenkanya. Abantu abaliba baayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya tebajja kuddamu kuba na kiruyi ku mutima.

3. Obukulembeze Obulungi

“Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba, so talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira. Aliramula abanaku mu bwenkanya, era alinenya abantu abalala mu bugolokofu ku lw’abawombeefu ab’omu nsi.”​—ISAAYA 11:3, 4.

Kitegeeza ki? Yesu Kristo, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ajja kufuga ensi mu bwenkanya. Yesu tasosola mu mawanga era ajja kukakasa nti abantu bonna bagondera amateeka ag’obutuukirivu.

4. Obumu

Obwakabaka bwa Katonda buyigiriza abantu okuba ‘n’endowooza y’emu, okwagala kwe kumu, era n’okuba obumu nga balowooza bumu.’​—ABAFIRIPI 2:2.

Kitegeeza ki? Abantu abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda tebajja kulabika bulabisi nti bali bumu. ‘Bajja kuba bumu ddala’ olw’okuba bajja kuba balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala.