Laga Okwagala
Obuzibu
Obusosoze tebwanguwa kuggwa mu muntu. Nga bwe kitwala ekiseera okulwanyisa akawuka akaleeta obulwadde, kitwala ekiseera okweggyamu obusosoze. Kiki ky’osobola okukola okweggyamu obusosoze?
Amagezi Okuva mu Bayibuli
“Mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” —ABAKKOLOSAAYI 3:14.
Kitegeeza ki? Okukolera abalala ebirungi kigatta wamu abantu. Gy’okoma okulaga abalala okwagala gy’okoma obutabasosola. Bwe weeyongera okwagala abalala kikuyamba okulekera awo okubalowoozaako obubi.
Ky’Oyinza Okukola
Lowooza ku ngeri gy’oyinza okulaga okwagala eri abantu ab’ekiti ekimu be walinako endowooza embi. Ebyo by’obakolera tebirina kuba binene nnyo. Gezaako okukola kimu oba bibiri ku bintu bino wammanga:
Buli lw’obaako ekintu ekyoleka okwagala ky’obakolera, weeyongera okuggwaamu obusosoze
Faayo ku bantu abo ng’obakwatira oluggi bayitewo oba ng’obaleka batuule mu kifo w’obadde otudde.
Gezaako okunyumyako nabo wadde nga tebamanyi bulungi lulimi lwo.
Bwe beeyisa mu ngeri gy’ototegeera, ba mugumiikiriza.
Bwe bakubuulira ku bizibu byabwe balumirirwe.