Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU

Owulira ng’Eby’Okukola Bikuyitiriddeko?

Owulira ng’Eby’Okukola Bikuyitiriddeko?

Owulira ng’olina eby’okukola bingi nnyo? Bwe kiba kityo, toli wekka. Magazini eyitibwa Economist egamba nti: “Kirabika abantu buli wamu balina eby’okukola bingi nnyo.”

MU KUNOONYEREZA okwakolebwa mu nsi munaana mu 2015 ku bantu abakola emirimu egy’ekiseera kyonna, bangi ku bo baagamba nti bakisanze nga kizibu okukwataganya emirimu gyabwe n’obuvunaanyizibwa bwe balina awaka. Kino kivudde ku kuba nti beeyongedde okuba n’eby’okukola bingi ku mirimu gyabwe n’awaka, ku kuba nti ebbeeyi y’ebintu erinnye, ne ku kuba nti bamala ebiseera biwanvu ku mirimu gyabwe. Ng’ekyokulabirako, mu Amerika, abantu abakola emirimu egy’ekiseera kyonna bakola essaawa nga 47 buli wiiki. Era omuntu 1 ku buli bantu 5 agamba nti akola essaawa 60 n’okusingawo buli wiiki!

Mu kunoonyereza okulala okwakolebwa mu nsi 36, kimu kya kuna eky’abantu abaabuuzibwa baagamba nti ne bwe baba mu biseera byabwe eby’eddembe baba ku bunkenke. Abaana nabo bakosebwa bwe baba n’eby’okukola ebiyitiridde.

Buli kiseera bwe tugeezaako okokola ebintu bingi kyokka ng’ebiseera bye tulina tebimala kiyinza okutumalako emirembe. Naye waliwo kye tuyinza okukolawo okutereeza embeera eyo? Ebyo bye tukkiririzaamu, bye tusalawo, n’ebiruubirirwa byaffe birina kakwate ki n’ensonga eyo? Ka tusooke tulabe ebintu bina ebiviirako abantu abamu okukola ekisukkiridde.

OKWAGALA OKUTUUSA EBIRUNGI KU B’OMU MAKA GAABWE

Taata omu ayitibwa Gary yagamba nti: “Nnali nkola ennaku musanvu buli wiiki. Ekyo nnakikola kubanga buli kiseera nnalabangayo ekintu ekirungi kye nnali njagala okutuusa ku baana bange. Nnali njagala bafune ebintu nze bye saasobola kufuna nga ndi muto.” Wadde ng’abazadde baba baagaliza abaana baabwe ebirungi, basaanidde okumanya ebintu ebisinga obukulu. Okunoonyereza kulaga nti abantu abakulu n’abato abatassa nnyo ssira ku kufuna ssente n’ebintu baba basanyufu era baba balamu okusinga abo abassa ennyo essira ku kufuna ssente n’ebintu.

Abaana abakulira mu maka ng’essira liteekebwa nnyo ku kufuna ebintu tebatera kuba basanyufu

Abazadde abamu bafuba okulaba nti abaana baabwe baba n’eby’okukola bingi nnyo era nabo bafuba okuba n’eby’okukola bingi nnyo nga balowooza nti ekyo kye kijja okuyamba abaana baabwe okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Naye ekitabo ekiyitibwa Putting Family First kigamba nti: “Ekyo kikosa abaana n’abazadde.”

OKULOWOOZA NTI GY’OKOMA OKUBA N’EBINTU EBINGI GY’OKOMA OKUBA OMUSANYUFU

Abalanga eby’amaguzi bagezaako okutuleetera okulowooza nti bwe tutagula buli kintu ekiri ku mulembe, wabaawo kye tuba tufiirwa. Magazini eyitibwa Economist egamba nti: “Okuba nti waliwo ebintu bingi ebiri ku katale, nakyo kiviiriddeko abantu okuwulira nga tebakyalina budde bumala, kubanga kibatwalira ebiseera bingi okusalawo biki eby’okugula, eby’okulaba, oba eby’okulya” mu budde obutono bwe balina.

Mu 1930, omuyivu omu yagamba nti enkulaakulana mu bya tekinologiya ejja kusobozesa abantu okwongera okufuna ebiseera eby’okuwummula. Naye ekyo si bwe kibadde! Omu ku bawandiisi ba magazini eyitibwa New Yorker ayitibwa Elizabeth Kolbert yagamba nti: “Mu kifo ky’okuva amangu ku mulimu, abantu bangi leero bakola nnyo kubanga balaba nga balina ebintu bingi ebipya bye beetaaga,” ate nga kyetaagisa ssente n’ebiseera bingi okubigula.

OKWAGALA OKUSANYUSA ABALALA

Abakozi abamu bamala ebiseera bingi nnyo ku mulimu olw’okwagala okusanyusa bakama baabwe. Ate abalala bawalirizibwa okumala ebiseera bingi nnyo ku mulimu olw’okuba bakozi bannaabwe bamala ebiseera bingi nnyo ku mulimu. Ate olw’okuba embeera y’eby’enfuna ekyukakyuka buli kiseera, kiviiriddeko abantu abamu okumala ebiseera bingi nnyo ku mulimu oba okuba abeetegefu okugenda ku mulimu essaawa yonna.

Ate era abazadde abamu bawalirizibwa okukola ennyo olw’okwagala okuba ng’abazadde abalala abakola ekisukkiridde. Bwe batakola batyo, kibaleetera okuwulira nti balina bye bafiiriza abaana baabwe.

OKUNOONYA EBITIIBWA

Tim, abeera mu Amerika agamba nti: “Nnali njagala nnyo omulimu gwange era nga ngumalirako ebiseera bingi nnyo. Nnali ndowooza nti ekyo kye kyandibadde kiraga nti ndi wa buvunaanyizibwa.”

Okufaananako Tim, abantu bangi balowooza nti bwe bakola ekisukkiridde, ekyo kye kibafuula okuba ab’obuvunaanyizibwa. Biki ebivuddemu? Elizabeth Kolbert ayogeddwako waggulu agamba nti: “Leero, omuntu gy’akoma okuba n’eby’okukola ebiyitiridde gy’akoma okutwalibwa nti wa kitiibwa.”

BA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

Bayibuli etukubiriza okuba abakozi abanyiikivu. (Engero 13:4) Wadde kiri kityo, tetusaanidde kugwa lubege. Omubuulizi 4:6 wagamba nti: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”

Obutakola kisukkiridde kituyamba okuba abalamu obulungi. Naye ddala kisoboka okukendeeza ku bye tukola? Yee kisoboka. Lowooza ku magezi gano wammanga:

MANYA EBINTU EBISINGA OBUKULU

Ssente ku bwazo si mbi. Naye ssente mmeka ezimala? Kiki ekireetera omuntu essanyu mu bulamu? Essanyu lisinziira ku ssente n’ebintu omuntu by’aba alina? Kyokka era kikulu okukijjukira nti okuwummula ekisukkiridde oba okwesanyusaamu ekisukkiridde nakyo kisobola okuleetera omuntu obutaba na biseera bimumala kukola bintu by’alina okukola.

Tim, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nze ne mukyala wange twatuula ne tulaba ebintu bye twali tusobola okweggyako. Twakola ekipande ekyali kiraga embeera gye twalimu n’ebiruubirirwa ebipya bye twali tweteereddewo. Twayogera ku byali bivudde mu bintu bye twali tusazeewo mu biseera eby’emabega n’ebyo bye twalina okukola okusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe ebipya.”

WEEWALE OKUNOONYEZA ESSANYU MU KUGULA EBINTU

Bayibuli etukubiriza okwewala “okwegomba kw’amaaso.” (1 Yokaana 2:15-17) Obulango obulanga eby’amaguzi busobola okuleetera omuntu okufuna okwegomba okwo ne kimuviirako okukola ekisukkiridde oba okumalira ssente n’ebiseera bingi mu by’okwesanyusaamu. Kyo kituufu nti tosobola kwewalira ddala bulango obwo. Naye osobola okukendeeza ku muwendo gw’obulango bw’olaba oba bw’owulira. Era kikulu okumanyira ddala ebyo bye weetaaga.

Ate era kijjukire nti mikwano gyo girina kinene nnyo kye gisobola okukukolako. Bwe baba nga beemalira nnyo mu kunoonya ebintu oba nga balowooza nti okubeera n’ebintu ebingi kye kireetera omuntu essanyu, kiba kya magezi okubeggyako n’ofuna abo abalina endowooza entuufu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.”​—Engero 13:20.

SSA EKKOMO KU BY’OKOLA

Yogerako ne mukama wo ebikwata ku mulimu gwo ne ku ebyo by’okulembeza mu bulamu. Era bw’oba ng’onnyuse ku mulimu oba ng’ogenze okuwummulako, weewale okweraliikirira nti w’otali emirimu gijja kugootaana. Ekitabo ekiyitibwa Work to Live kigamba nti: “Abo abatagattika mirimu na bya waka oba abafunayo ekiseera ne bagenda ne bawummulako bakirabye nti emirimu giba gisobola okugenda mu maaso ne bwe baba nga tebaliiwo.”

Gary eyayogeddwako waggulu, yali bulungi mu by’enfuna era yasalawo okukendeeza ku ssaawa ze yali amala ku mulimu. Agamba nti: “Nnayogerako n’ab’omu maka gange ne mbagamba nti twali tulina okubaako ebintu bye twerekereza. Tulina bye twakolawo okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Era nnayogerako ne mukama wange ku mulimu ne mmusaba ankendeereze ku nnaku ze nkola mu wiiki era ekyo yakikkiriza.”

KITWALE NGA KIKULU OKUBEERAKO N’AB’OMU MAKA GO

Kikulu omwami n’omukyala okufunangayo akadde okubeerako awamu era n’abaana beetaaga okubeerako awamu ne bazadde baabwe. N’olwekyo, mwewale okugezaako okukoppa abazadde abalala abakola ekisukkiridde. Gary agamba nti: “Musseewo ekiseera eky’okubeerangako awo nga munyumya nga temulina kirala kye mukola era mukendeeze ku by’okukola nga mulekayo ebintu ebitali bikulu.”

Bwe mubaako awamu ng’amaka, temukkiriza bintu gamba nga ttivi, amasimu, n’ebirala ebiri ng’ebyo kubalemesa kunyumya. Buli lunaku muliirengako wamu waakiri ekijjulo kimu era obudde obwo mubukozese okunyumya. Abazadde bwe bakolera ku magezi ago, abaana baabwe baba basanyufu era bakola bulungi ku ssomero.

Ekiseera eky’okulya mukikozese okunyumya

Kati weebuuze: ‘Kiki kye njagala mu bulamu? Kiki kye njagaliza ab’omu maka gange?’ Bw’oba oyagala okufuna essanyu erya nnamaddala era n’ab’omu maka go babe basanyufu, kolera ku magezi agali mu Bayibuli ng’olina by’osalawo.