OMUTWE OGULI KUNGULU
Ddala Yesu Yaliyo?
YESU teyali mugagga era n’amaka ge yazaalibwamu tegaali magagga. Mu butuufu teyalina nnyumba yiye ku bubwe. Kyokka ebyo bye yayigiriza bikutte ku bantu bukadde na bukadde. Naye ddala Yesu yaliyo? Waliwo obukakafu bwonna obulaga nti ddala yaliyo?
-
Munnabyafaayo ayitibwa Michael Grant yagamba nti: “Singa Endagaano Empya tugitwala nga bwe tutwala ebitabo ebirala ebyogera ku byafaayo eby’edda, tetusobola kuba na kubuusabuusa kwonna nti ddala Yesu yaliyo. Ekyo kiri kityo, kubanga abantu be tusomako mu bitabo ebitali bimu ebyogera ku byafaayo eby’edda tetubuusabuusa nti ddala baaliyo.”
-
Profesa Rudolf Bultmann, eyeekenneenya Endagaano Empya yagamba nti: ‘Abo ababuusabuusa nti Yesu yaliyo tebalina bukakafu bwonna bulaga nti teyaliiyo. Tewali muntu mutegeevu asobola kukiwakanya nti Yesu ye yatandikawo Ekibiina Ekikristaayo, ekyatandikira mu Palesitayini.’
-
Munnabyafaayo omulala ayitibwa Will Durant yagamba nti: “Bwe kiba nti ddala Yesu teyaliiyo, kyokka abasajja abatono bwe batyo [Abawandiisi b’ebitabo by’Enjiri] ne basobola okuwandiika ebimukwatako ne bikwata ku bantu bangi nnyo mu nsi, kiba kyamagero ekisinga ebyamagero byonna ebiri mu bitabo by’Enjiri.”
-
Munnasayansi Omuyudaaya ayitibwa Albert Einstein eyazaalibwa mu Bugirimaani yagamba nti: “Ndi Muyudaaya, naye ebyo ebyogerwa ku [Yesu] Omunazaaleesi binkwatako nnyo.” Bwe yabuuzibwa obanga yali akkiriza nti Yesu yaliyo, yagamba nti: “Tewali kubuusabuusa yaliyo! Tewali muntu asobola kusoma ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri n’atakiraba nti ddala Yesu yaliyo. Engeri za Yesu zeeyolekera bulungi mu ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri. Ebitabo by’enfumo obufumo si bwe bityo bwe biba.”
“Tewali muntu asobola kusoma ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri n’atakiraba nti ddala Yesu yaliyo.”
—Albert Einstein
EBYAFAAYO BIRAGA KI?
Ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe okusingira ddala bisangibwa mu bitabo by’Enjiri ebiri mu Bayibuli. Ebitabo ebyo bye bino: Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana, ebyatuumibwa amannya g’abo abaabiwandiika. Waliwo n’ebitabo ebirala bingi ebitaawaandiikibwa Bakristaayo ebyogera ku Yesu.
-
TACITUS
(a. 56-120 E.E., oba Embala Eno) Tacitus y’omu ku bannabyafaayo Abaruumi abaatutumuka ennyo. Yawandiika ku bintu ebikwata ku bwakabaka bwa Rooma ebyaliwo okuva mu mwaka gwa 14 E.E. okutuuka mu mwaka gwa 68 E.E. (Yesu yafa mu mwaka gwa 33 E.E.) Tacitus yawandiika nti: ‘Empula Nero, abantu gwe baavunaana olw’omuliro ogw’amaanyi ogwatta abantu mu Rooma mu mwaka gwa 64 E.E. Kyokka okusobola okukomya oluvuuvuumo olwo, Nero omusango ogwo yasalawo okuguteeka ku Bakristaayo.’ Era Tacitus yagamba nti: “Kristo, erinnya [Abakristaayo] mwe liva, yattibwa ku mulembe gwa Tiberiyo, oluvannyuma lwa Pontiyo Piraato okumusalira omusango.”
—Annals, XV, 44. -
SUETONIUS
(a. 69–v. 122 E.E.) Mu kitabo kye ekiyitibwa Lives of the Caesars, munnabyafaayo ono Omuruumi yawandiika ku bintu ebyaliwo mu bufuzi bwa ba empula ba Rooma 11 abaasooka. Mu kitundu ekyogera ku Empula Kulawudiyo, Suetonius yawandiika ku bwegugungo obwaliwo mu Bayudaaya obuteeberezebwa okuba nga bwali buvudde ku butakkaanya bwe baalina ku bikwata ku Yesu. (Ebikolwa 18:2) Suetonius yawandiika nti: “Okuva bwe kiri nti Chrestus [Kristo] ye yali aleetera Abayudaaya okwegugunga, [Kulawudiyo] yagoba Abayudaaya mu Rooma.” (The Deified Claudius, XXV, 4) Wadde nga Suetonius teyali mutuufu kugamba nti Yesu ye yali aleetera Abayudaaya okwegugunga, ebyo Suetonius bye yawandiika biraga nti yali tabuusabuusa nti ddala Yesu yaliyo.
-
PLINY THE YOUNGER
(a. 61-113 E.E.) Omuwandiisi w’ebitabo ono omuruumi eyali afuga ebitundu by’omu Bisuniya (kati ekiyitibwa Turkey) yawandiikira empula Omuruumi ayitibwa Trajan n’amubuulira engeri gy’asaanidde okuyisaamu Abakristaayo abaali mu matwale ge. Pliny yagamba nti yafuba nnyo okuleetera Abakristaayo okwekkiriranya, era n’atta abo abaali bagaanye okukikola. Yagamba Trajan nti: “Abo . . . abaakiraga nti bakkiririza mu bakatonda baffe, ne bawaayo omwenge n’eby’akaloosa eri ekifaananyi kyo, . . . era ne beegaana Kristo . . . , saabakolako kabi konna.”
—Pliny— Letters, Book X, XCVI. -
FLAVIUS JOSEPHUS
(a. 37-100 E.E.) Kabona ono Omuyudaaya era munnabyafaayo yagamba nti: “Anaasi, kabona w’Abayudaaya asinga obukulu, yakuŋŋaanya abalamuzi b’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya n’aleeta omusajja ayitibwa Yakobo, muganda wa Yesu eyali ayitibwa Kristo, mu maaso gaabwe.”
—Jewish Antiquities, XX, 200. -
TALMUD
Ekitabo kino ekirimu ebiwandiiko bya balabbi ebyawandiikibwa wakati w’ekyasa eky’okusatu n’eky’omukaaga E.E., kiraga nti n’abalabe ba Yesu baakakasa nti ddala yaliyo. Ekimu ku biwandiiko ebyo kigamba nti: “Yeshu [Yesu] Omunnazaaleesi yattibwa ku lunaku olw’Embaga ey’Okuyitako.” Ekyo kikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. (Babylonian Talmud, Sanhedrin 43a, Munich Codex; laba Yokaana 19:14-16.) Ekiwandiiko ekirala kigamba nti: “Kikafuuwe okuzaala omwana ne yeeweebuula ng’Omunnazaaleesi.” Mu Bayibuli Yesu ayogerwako ng’Omunnazaaleesi.
—Babylonian Talmud, Berakoth 17b, obugambo obuli wansi, Munich Codex; laba Lukka 18:37.
OBUKAKAFU OKUVA MU BAYIBULI
Ebitabo by’Enjiri bitubuulira bingi ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, nga muno mwe muli abantu abaaliwo mu kiseera kye, ebifo bye yatuukamu, n’ekiseera we yakolera ebintu ebitali bimu. Obwo bukakafu bwa maanyi obulaga nti ebimwogerwako byesigika. Ng’ekyokulabirako, Lukka 3:1, 2, watuyamba okumanya ekiseera kyennyini Yokaana omubatiza, eyateekerateekera Yesu ekkubo, we yatandikira okukola omulimu gwe.
Lukka yawandiika nti: “Mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bwa Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, nga Kerode ye w’essaza ly’e Ggaliraaya, nga Firipo muganda we ye w’essaza ly’e Ituliya ne Tirakoniti, era nga Lusaniya ye w’essaza ly’e Abireeni, mu biseera bya Anaasi kabona omukulu n’ebya Kayaafa, ekigambo kya Katonda [kyajjira] Yokaana mutabani wa Zekkaliya ng’ali mu ddungu.”
Kalonda oyo yenna atuyamba okukimanya nti ‘ekigambo kya Katonda kyajjira Yokaana’ mu mwaka gwa 29 E.E.Abasajja abo omusanvu Lukka b’ayogerako bamanyiddwa bulungi mu byafaayo. Kyokka okumala ekiseera waaliwo abantu abamu abaali bawakanya ebyo ebiri mu Bayibuli nga bagamba nti Pontiyo Piraato ne Lusaniya tebaaliyo. Naye abantu abo tebaasooka kunoonyereza. Nga wayise ekiseera, ebiwandiiko eby’edda okuli amannya ga Pontiyo Piraato ne Lusaniya byazuulibwa, era ekyo ne kyongera okukakasa nti ebyo Lukka bye yawandiika bituufu. *
LWAKI ENSONGA ENO NKULU?
Kikulu okukakasa nti Yesu yaliyo kubanga ebyo bye yayigiriza bikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yalaga engeri abantu gye basobola okufuna essanyu erya nnamaddala. * Ate era yayogera ku kiseera abantu bonna lwe balibeera mu mirembe era nga balina obukuumi, nga bafugibwa gavumenti emu yokka eyitibwa “Obwakabaka bwa Katonda.”
Gavumenti eyo eyitibwa “Obwakabaka bwa Katonda” kubanga okuyitira mu gavumenti eyo, Katonda ajja kufuga ensi yonna. (Okubikkulirwa 11:15) Ekyo Yesu yakiraga bulungi bwe yali ayigiriza abantu okusaba. Yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, . . . Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.” (Matayo 6:9, 10) Kiki Obwakabaka obwo kye bujja okukolera abantu? Ebimu ku byo bye bino:
-
Bujja kumalawo entalo.
—Zabbuli 46:8-11. -
Ebikolwa ebibi, nga muno mwe muli omululu n’okulya enguzi, bijja kumalibwawo, kubanga abantu ababi bonna bajja kuzikirizibwa.
—Zabbuli 37:10, 11. -
Abantu abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kukola emirimu egibaleetera essanyu.
—Isaaya 65:21, 22. -
Ensi ejja kubaamu emmere nnyingi era abantu bajja kweyongera okumanya ebikwata ku Katonda.
—Zabbuli 72:16; Isaaya 11:9.
Abantu abamu bagamba nti okukkiririza mu bisuubizo ebyo kuba kwerimba. Naye ekituufu kiri nti abo abatadde essuubi lyabwe mu bufuzi bw’abantu be beerimba. Lowooza ku kino: Wadde leero ensi ekulaakulanye nnyo mu by’enjigiriza, mu bya ssaayansi, ne mu tekinologiya, abantu bukadde na bukadde bawulira nti tebalina bukuumi era beeraliikirivu ku bikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso. Abantu bangi leero baavu era banyigirizibwa bannabyabufuzi ne bannaddiini abalya enguzi era ab’omululu. Mu butuufu, obufuzi bw’abantu bulemereddwa!
Kikulu nnyo buli muntu okukakasa nti ddala Yesu yaliyo. * Lwaki? Kubanga 2 Abakkolinso 1:19, 20 wagamba nti: “Ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse ‘yee’ okuyitira mu [Kristo].”
^ lup. 23 Ekiwandiiko ekiriko erinnya ly’ow’essaza ayitibwa Lusaniya kyazuulibwa. (Lukka 3:1) Lusaniya ye yali afuga essaza ly’e Abireeni mu kiseera kyennyini Lukka kye yayogerako.
^ lup. 25 Ebimu ku bintu Yesu bye yayigiriza biri mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7, era biyitibwa Okuyigiriza kwa Yesu okw’oku Lusozi.
^ lup. 32 Okumanya ebisingawo ebikwata ku Yesu n’ebyo bye yayigiriza, genda ku www.mt1130.com/lg wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU.