Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekibuga Astana

ENSI N’ABANTU

Ka Tugendeko e Kazakhstan

Ka Tugendeko e Kazakhstan

EDDA abantu b’omu Kazakhstan baali balunzi ba bisolo era nga batambula okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala. N’okutuusa leero, abamu ku bo bakyatambula n’ensolo zaabwe okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala nga banoonya omuddo. Mu biseera eby’ebbugumu, ebisolo byabwe babirundira mu nsozi. Ate mu biseera by’obutiti, babirundira mu bifo ebya wansi ebibaamu akabugumu.

Abantu b’omu Kazakhstan abamu babeera mu bibuga. Naye bungi ku buwangwa bwabwe, emmere yaabwe, n’eby’emikono bye bakola, birina akakwate n’obulamu bwa bajjajjaabwe obw’okutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Abantu b’omu Kazakhstan balina ebitontome n’ennyimba nnyingi ze bakubira ku bivuga bye beekolera.

Abantu b’omu Kazakhstan bafuba obutoonoona butonde era ekyo kyeyolekera ku buyumba bwe bazimba obuyitibwa yurt obulinga obusiisira. Abalunzi bettanira nnyo obuyumba obwo era n’abantu ababeera mu bibuga emirundi mingi babukozesa ku mikolo. Obuyumba obwo era busuzibwamu abalambuzi. Ate era munda mu buyumba obwo mubaamu ebintu ebirabika obulungi abakazi bye baluka, gamba ng’ebiwempe.

Munda mu yurt

Abantu b’omu Kazakhstan ababeera mu byalo baagala nnyo embalaasi zaabwe. Olulimi Olukazaaki olwogerwa mu Kazakhstan, lulina ebigambo 21 ebitegeeza embalaasi era lulina ebigambo ebisukka mu 30 ebikozesebwa okunnyonnyola langi z’embalaasi. Mu Kazakhstan omuntu okukuwa embalaasi aba akuwadde ekirabo eky’omuwendo ennyo. Mu byalo, abaana abalenzi bayiga okuvuga embalaasi nga bakyali bato.

Emmere y’omu Kazakhstan ebaako ennyama era tetera kubaamu birungo. Ebimu ku by’okunywa abantu b’omu Kazakhstan bye basinga okuwoomerwa ye koumiss ne shubat. Koumiss akolebwa mu mata g’embalaasi era kigambibwa nti alimu emigaso mingi. Ate shubat gwe bakola mu mata g’eŋŋamira, naye alimu ekiriisa kingi era atuŋŋununamu katono.

Abajulirwa ba Yakuwa baaniriza abantu okugenda okulambula ofiisi yaabwe ey’ettabi eri mu Almaty.

Engo ez’ekika kino, mu biseera eby’ebbugumu zibeera mu nsozi za Kazakhstan