Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Desiderius Erasmus

Desiderius Erasmus

MU KISEERA kye, Desiderius Erasmus (a. 1469-1536) mu kusooka yali omu ku bayivu abantu be baali beenyumiririzaamu ennyo mu Bulaaya, naye oluvannyuma erinnya lye ne lisiigibwa enziro nga kigambibwa nti yali mutiitiizi era kyewaggula. Erasmus yagezaako okwanika enjigiriza n’ebikolwa ebibi ebyali mu ddiini y’Ekikatuliki. Leero, Erasmus atwalibwa okuba nga yakola kinene mu nkyukakyuka ez’amaanyi ezaaliwo mu by’eddiini mu Bulaaya mu kiseera kye. Lwaki?

BYE YASOMA NE BYE YALI AKKIRIRIZAAMU

Olw’okuba Erasmus yali amanyi bulungi Oluyonaani n’Olulattini, yasobola okugeraageranya enzivuunula za Bayibuli ez’Olulattini gamba nga Vulgate ey’Olulattini n’ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani oba Endagaano Empya. Erasmus yakiraba nti obubaka obuli mu Bayibuli bukulu nnyo, era yayagala Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bivvuunulwe mu nnimi abantu aba bulijjo abaaliwo mu kiseera kye ze baali bategeera obulungi.

Okuva bwe kiri nti Erasmus yali akkiriza nti Omukristaayo owa nnamaddala alina okutambuliza obulamu bwe ku njigiriza za Kristo so si ku bulombolombo obw’amadiini, yali ayagala wabeewo enkyukakyuka ezikolebwa mu ddiini y’Ekikatuliki. Era n’abantu abalala baasaba wabeewo enkyukakyuka ezikolebwa mu ddiini y’Ekikatuliki. Kyokka ekyo tekyasanyusa bakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki, era olunwe baalusonga mu Erasmus.

Erasmus yafuba okwanika enjigiriza n’ebikolwa ebibi ebyali mu ddiini y’Ekikatuliki

Mu bye yawandiika, Erasmus yayanika ebikolwa ebibi eby’abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki era yavumirira bappaapa olw’okwetwala nti ba waggulu ku balala n’olw’okuwagira entalo. Era yavumirira bannaddiini olw’okunyigiriza bantu nga bayitira mu bintu gamba ng’okwejjusa, okusinza abatukuvu, okusiiba, n’okulamaga. Era yawakanya enkola y’Ekkereziya ey’okusasuza abantu ssente basobole okusonyiyibwa ebibi n’okugaana abantu okuwasa oba okufumbirwa.

ENDAGAANO EMPYA MU LUYONAANI

Mu 1516, Erasmus yafulumya enkyusa ye eyasooka ey’Ebyawandiikibwa eby’Endagaano Empya, nga bino bye Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka okukubibwa mu kyapa. Mu Bayibuli eyo Erasmus yateekamu ebifaananyi awamu n’ennyiriri zonna ez’Endagaano Empya ng’azivvuunudde mu Lulattini, ng’ezimu ku zo zaawukana ku ngeri gye zaali zivvuunuddwamu mu Vulgate ey’Olulattini. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yeeyongera okukola enkyukakyuka mu nkyusa ye. N’ekyavaamu, waaliwo enjawulo nnene wakati w’enkyusa ye ne Vulgate ey’Olulattini.

Enzivvuunula ya Erasmus ey’Endagaano Empya

Enjawulo emu yali mu 1 Yokaana 5:7. Okusobola okuwagira enjigiriza eteri mu Byawandiikibwa egamba nti Katonda ali mu busatu, waliwo ebigambo ebiyitibwa comma Johanneum ebyali byagattibwa mu Vulgate. Ebigambo ebyo byali bigamba nti: “Mu ggulu waliyo Kitaffe, Kigambo, ne Mwoyo Mutukuvu: era abo abasatu be bamu.” Naye Erasmus ebigambo ebyo teyabiteeka mu nzivuunula ze ebbiri ezaasooka ez’Endagaano Empya kubanga tebyali mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Oluyonaani eby’edda bye yali amaze okwekebejja. Kyokka oluvannyuma lw’okupikirizibwa Ekkereziya, ebigambo ebyo yabiteeka mu nzivuunula ye ey’okusatu.

Enzivuunula za Erasmus zaayamba nnyo abavvuunuzi abalala okuvvuunula Bayibuli mu nnimi ezitali zimu ezoogerwa mu Bulaaya. Martin Luther yazikozesa okuvvuunula Endagaano Empya mu Lugirimaani, William Tyndale mu Lungereza, Antonio Brucioli mu Luyitale, ate Francisco de Enzinas n’azikozesa okugivvuunula mu Lusipeyini.

Erasmus yaliwo mu kiseera we waabeererawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu ddiini y’Ekikatuliki, era abantu bangi abeekutula ku ddiini y’Ekikatuliki ne bafuuka Abapolotesitante bettanira nnyo enzivuunula ye. Abantu abamu baali bakitwala nti Erasmus yali yeekutula dda ku ddiini ey’Ekikatuliki, nga n’ekiseera abantu abasinga obungi we beekutulira ku ddiini eyo tekinnatuuka. Erasmus yeewala okwenyigira mu mpaka z’amadiini ezaaliwo mu kiseera kye. Tekyewuunyisa nti emyaka nga 100 emabega, munnabyafaayo ayitibwa David Schaff yawandiika nti Erasmus “yafa nga talina ddiini gy’alimu. Abakatuliki baali tebasobola kugamba nti Mukatuliki ate n’Abapolotesitante nabo baali tebasobola kugamba nti Mupolotesitante.”