BEERA BULINDAALA!
Abantu Bayinza Okulekera Awo Okusosolagana?—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Eri abantu bangi, abantu ab’amawanga ag’enjawulo okulekera awo okusosolagana kirooto bulooto.
“Obusosoze bweyongera okusensera ebitongole n’ebibiina by’abantu era bweyolekera ne mu mbeera zaffe eza bulijjo. Obusosoze bwe buviirako okuyisa abalala obubi.”—António Guterres, Ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte.
Ekiseera kirituuka abantu ab’amawanga ag’enjawulo ne balekera awo okusosolagana? Bayibuli ekyogerako ki?
Endowooza ya Katonda ku busosoze
Bayibuli etubuulira engeri Katonda gy’atunuuliramu abantu ab’amawanga ag’enjawulo.
“[Katonda] yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna.”—Ebikolwa 17:26.
“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”—Ebikolwa 10:34, 35.
Bayibuli eraga nti abantu bonna basibuka mu muntu omu era nti Katonda akkiriza abantu ab’amawanga gonna.
Engeri obusosoze gye bunaggibwawo
Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu, bwe bujja okuggyawo obusosoze. Gavumenti eyo ejja kuyigiriza abantu engeri y’okuyisaamu obulungi abantu abalala. Abantu bajja kuyiga engeri gye bayinza okweggyamu obusosoze.
‘Ababeera mu nsi baliyiga ebikwata ku butuukirivu.’—Isaaya 26:9.
“Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe, era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.”—Isaaya 32:17.
Leero, Bayibuli eyamba abantu bukadde na bukadde okuyiga engeri y’okussa ekitiibwa mu balala.
Okumanya ebisingawo, soma magaziini ya Zuukuka! erina omutwe, “Waliwo Ekiyinza Okumalawo Obusosoze?”
Soma ekitundu ekirina omutwe, “Talking to Children About Racism” okumanya engeri abazadde gye bayinza okwogerako n’abaana baabwe awaka ku nsonga eyo.